bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 31
2 Chronicles 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Bino byonna bwe byaggwa, abantu ba Yisirayeli abaaliwo ne bafuluma ne bagenda mu bibuga bya Yuda ne bamenyaamenya amayinja amasimbe, ne batemawo empagi za Asera. Baasenda ebifo ebigulumivu, n'emyaliiro ne bagisaanyaawo wonna mu Yuda, mu Benyamiini, mu Efurayimu ne mu Manasse. Bwe baamala okubisaanyizaawo ddala, abantu ba Yisirayeli ne baddayo mu bibuga byabwe, na buli omu ku butaka bwe.
2
Kezekiya n'assaawo ebibinja bya bakabona n'Abaleevi mu bisanja byabwe, buli omu n'omulimu gwe nga kabona oba ng'Omuleevi, okuweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu, okuweereza, okwebaza n'okutendereza ku mulyango gw'Olusiisira lw'Omukama.
3
Kabaka yawanga emigabo ng'aggya ku bibye olw'ekitambiro ekyokye ekya buli nkya n'akawungeezi, eky'oku Sabbaato, eky'oku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, n'eky'oku mbaga enkulu eziragiddwa, nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama.
4
Yalagira abantu abasula mu Yeruzaalemu bawenga emigabo gya bakabona n'Abaleevi, bo basobole okwemalira ku tteeka ly'Omukama.
5
Ekiragiro olwalangirirwa, Abayisirayeli ne baleeta ebibala ebisooka eby'eŋŋano, evviini ensu, omuzigo, omubisi gw'enjuki, ne ku byonna ebikungulwa mu nnimiro; ne baleeta mu bungi ekyekkumi ku buli kimu.
6
N'abantu ba Yisirayeli n'abantu ba Yuda nga basula mu bibuga bya Yuda, ne baleeta ekyekkumi ku nte ne ku ndiga, n'ekyekkumi ky'ebintu ebisingiddwa Omukama Katonda waabwe; ne baleeta entuumu n'entuumu z'ebintu.
7
Baatandika okutuuma entuumu ezo mu mwezi ogwokusatu ne bamala mu mwezi ogwomusanvu.
8
Kezekiya n'abakungu bwe bajja, ne balaba entuumu ne bagulumiza Omukama n'abantu be Yisirayeli.
9
Kezekiya n'abuuza bakabona n'Abaleevi ku ntuumu.
10
Azariya kabona omukulu ow'omu ssiga lya Zadoki n'amwanukula nti: “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebitone mu nnyumba y'Omukama, tulya ne tukkuta, bingi ne bifikkirawo, kubanga Omukama yawa omukisa abantu be; enkumuliitu eyo yonna bye byalemawo.”
11
Kezekiya n'alagira bakolewo amaterekero mu Kiggwa ky'Omukama. Kino ne bakikola.
12
Ebitone, ekyekkumi n'ebintu ebiwongeddwa byonna ne babisombera omwo n'omutima ogufaayo ku kye bakola. Konaniya Omuleevi ye yali omukulu ku bintu bino, muganda we Simeyi nga y'amumyuka.
13
Wansi wa Konaniya ne Simeyi muganda we waaliyo abalabirizi Yekiyeli, Azaziya, Nakati, Asaweli, Yerimoti, Yozabadi, Eliyeli, Yisumakiya, Makati ne Benaaya nga balondeddwa kabaka Kezekiya ne Azariya eyali omukulu w'Ekiggwa kya Katonda.
14
Ye Kore mutabani wa Yimuna, omuggazi w'Omulyango ogw'Ebuvanjuba, ye yateekebwawo okukulira ebirabo ebyeyagalire ebyatonerwanga Katonda, era n'okugaba ebitone by'Omukama n'ebimuwongeddwa.
15
Abaamuyambangako mu bwesimbu, eyo mu bibuga bya bakabona okugabirira bakabona bannaabwe, abato n'abakulu, nga bagoberera ebibinja byabwe, baali: Edeni, Miniyamini, Yeswa, Semaaya, Amariya, ne Sekaniya.
16
Era baagabiranga n'abasajja bonna okuva ku w'emyaka esatu n'okwambuka abaali bawandiikiddwa mu bitabo by'endyo, bonna abaali bayingira mu Kiggwa ky'Omukama okutuukiriza ebisanja byabwe ebya buli lunaku n'okukola emirimu gyabwe emirala okusinziira ku mirimu gyabwe n'ebibinja byabwe.
17
Baagabiranga ne bakabona abaali mu bitabo by'endyo z'ennyumba za bajjajjaabwe, n'Abaleevi okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo nga bwe baali mu mirimu gyabwe n'ebisanja byabwe.
18
Baagabiranga n'abaali mu bitabo by'endyo: bonna abaana baabwe, bakazi baabwe, batabani baabwe, bawala baabwe ab'omu kibiina kyonna, kubanga bano baalinga beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
19
Bo bakabona, bazzukulu ba Aroni, abaasulanga ku malundiro agali ku bibuga byabwe oba ku bibuga ebirala byonna, bassibwako abasajja abatongole ab'okugabiranga emigabo buli musajja mu bo, ne mu bonna abaalinga mu bitabo by'endyo z'Abaleevi.
20
Kino Kezekiya kye yakola mu Yuda yenna; yakola kirungi, ekituufu era eky'obwesigwa mu maaso g'Omukama Katonda we.
21
Mu buli kyonna kye yessaako okukola olw'Ekiggwa kya Katonda, oba olw'okutuukiriza etteeka n'ebiragiro, yanoonyanga Katonda we n'omutima gwe gwonna, ebintu ne bimulamira.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36