bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 4
2 Chronicles 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Kuramu yakola omwaliiro gw'ekikomo gwa mikono amakumi abiri obuwanvu, emikono amakumi abiri obugazi, n'emikono kkumi obusimba.
2
Yaweesa Ennyanja mu kyuma ekisaanuuse, nga neekulungirivu; okuva ku mugo okutuuka ku mugo nga ya mikono kkumi obugazi. Obugulumivu nga ya mikono etaano; okugyetoolooza olukoba olupima nga luba lwa mikono asatu obuwanvu.
3
Ate wansi w'omugo Ennyanja yali esibiddwako ebifaananyi by'ente ennume kkumi buli mukono okwetooloola wonna. Ente zaali ziweeseddwa mu nnyiriri bbiri, nga zonna n'Ennyanja biri ekintu kimu.
4
Ennyanja yali etuuziddwa ku nte ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunudde mambuka, essatu buvanjuba, essatu maserengeta, n'essatu bugwanjuba. Ennyanja okwo kwe yali etudde, ng'ebyensuti byazo bitunuulidde entobo y'Ennyanja.
5
Omubiri gw'Ennyanja nga gwenkana obugazi bw'ekibatu; omugo gwayo nga guli ng'omugo gw'ekikopo, era nga guli ng'omugo gw'ekimuli ky'eddanga ekyanyizza. Yali egendamu bati z'amazzi enkumi ssatu.
6
Yakolayo ebinaabirwamu kkumi eby'okwolezaamu; ebitaano n'abissa ku ddyo n'ebitaano ku kkono, bye byali eby'okwolezangamu byonna ebyabanga eby'okuweereza mu kitambiro ekyokye; bakabona bo baali ba kunaabiranga mu Nnyanja.
7
Yakolayo n'ebikondo by'ettawaaza kkumi ng'etteeka bwe lyali ligamba ku byo, n'abissa mu Kiggwa: bitaano ku ddyo, bitaano ku kkono.
8
Yakola emmeeza kkumi n'azissa mu Kiggwa, ettaano ku ddyo n'ettaano endala ku kkono. Era yakola ne ebibya eby'okumansira kikumi ebya zaabu.
9
Yakola n'oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene n'emiryango gy'oluggya, emiryango n'agibikka n'ekikomo.
10
Ennyanja yagissa ku ludda olw'emaserengeta, ebuvanjuba, wammangako.
11
Kuramu yakola ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebimansira. Kuramu bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna ogwa kabaka Solomoni mu Kiggwa ky'Omukama:
12
empagi bbiri, enkata ezaakula ng'ebibya, ku ntwe z'empagi ebbiri; obutimba obubiri obutimbiddwa ku nkata ebbiri ezaakula ng'ebibya ezaali ku ntwe z'empagi;
13
ennyiriri bbiri ez'amakomamawanga ku buli katimba akatimbiddwa ku nkata ezaakula ng'ebibya ezaali ku ntwe z'empagi;
14
obutandaalo n'ebinaabirwamu byakwo;
15
Ennyanja n'ente ennume ekkumi n'ebbiri wansi waayo;
16
ensuwa, ebitiiyo, n'entoozo. Ebintu byonna Kuramu-Abi bye yakolera kabaka Solomoni olw'Ekiggwa ky'Omukama yabikola mu kikomo ekizigule.
17
Kabaka yabikozeseza mu butiba obw'ebbumba mu lusenyi lwa Yorudani, wakati wa Sukkoti ne Zareda.
18
Solomoni ebintu byonna bye yakozesa byali bingi nnyo; obuzito bw'ekikomo tebwamanyika.
19
Solomoni yakola byonna eby'okukozesa mu Kiggwa ky'Omukama: Omwaliiro ogwa zaabu; emmeeza eya zaabu okw'okuteekebwa Emigaati egy'Okwolesebwa;
20
ebikondo by'ettawaaza mu zaabu atatabuddwamu kirala, n'ettawaaza zaabyo, zaakire mu maaso g'Awatukuvu Ennyo ng'etteeka bwe ligamba;
21
ebimuli, ettawaaza ne magalo byonna nga bikole mu zaabu omugumu;
22
makansi, ebibya eby'okumansira, ebijiiko n'ebyoterezo, nga bya zaabu atatabuddwamu kirala; enzigi ensiige zaabu ez'Ekiggwa: enzigi ez'omunda ez'Awatukuvu Ennyo n'enzigi ez'Eddiiro nga nazo za zaabu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36