bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 24
2 Chronicles 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Yowasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu; yafugira emyaka amakumi ana mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Zibiya ng'ava Beeriseba.
2
Yowasi yakola ekituufu mu maaso g'Omukama ebbanga lyonna Yoyada nga ye kabona.
3
Yoyada yamufunira abakazi babiri; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4
Oluvannyumako Yowasi yayagala okuddaabiriza Ekiggwa ky'Omukama.
5
Yakuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti: “Mugende mu bibuga byonna ebya Yuda musolooze ku Yisirayeli yenna ssente ze balina okuwa buli mwaka okuddaabiriza Ekiggwa kya Katonda wammwe. Mukikole mangu nno.” Naye Abaleevi tebaayanguyirawo kukikola.
6
Kabaka n'ayita Yoyada kabona n'amugamba nti: “Lwaki tewafaayo kukubiriza Baleevi kusolooza mu Yuda na mu Yeruzaalemu musolo, Musa omuweereza w'Omukama n'ekibiina kya Yisirayeli gwe bassaawo olwa Weema y'Endagaano?”
7
Anti Ataliya, omukazi omubi, ne batabani be baali bamenye Ekiggwa kya Katonda ne baggya ku byali byawuliddwa Ekiggwa ky'Omukama ne babiwa Baali.
8
Kabaka kwe kulagira ne bakola ssanduuku ne bagissa ebweru ku mulyango gw'Ekiggwa ky'Omukama.
9
Ekirangiriro ne kiyita wonna mu Yuda n'e Yeruzaalemu buli omu aleetere Omukama omusolo, Musa omuweereza w'Omukama gwe yassa ku Yisirayeli ng'ali mu ddungu.
10
Abakungu bonna n'abantu bonna baaleetanga n'essanyu, ne basuula mu ssanduuku okutuusa lwe yajjula.
11
Abaleevi bwe baaleetanga ssanduuku eri omukungu wa kabaka ne musangibwamu ssente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n'oyo eyabanga atumiddwa kabona nga bajja nga ssanduuku bagibundula ate ne bagizzaayo mu kifo kyayo. Baakolanga batyo bulijjo, ne bakuŋŋaanya ssente nnyingi.
12
Olwo kabaka ne Yoyada ne baziwa abaali bakulira omulimu gw'Ekiggwa ky'Omukama. Nabo baaziddiranga ne bapangisa abakozi, abakomozi b'amayinja n'ababazzi baddaabirize Ekiggwa ky'Omukama. Era baapangisanga n'abaweesi b'ekyuma n'ekikomo Ekiggwa ky'Omukama kizzibwewo buggya.
13
Abakozi ne bakola na maanyi, omulimu ne bagukola bulungi, ne bazzaawo Ekiggwa ky'Omukama nga bwe kyali kifaanana mu kusooka, ne bakinyweza n'okukinyweza.
14
Bwe baamaliriza ebyo, ssente ezaafikkawo ne bazireetera kabaka ne Yoyada, ne zikozesebwa okukola ebyeyambisibwa mu kuweereza mu Kiggwa ky'Omukama: eby'okukozesa mu kwegayirira ne mu kuweereza ebitambiro ebyokye, ebijiiko, n'ebintu n'ebirala byonna ebya zaabu ne ffeeza. Ebitambiro ebyokye byaweerezebwanga mu nnyumba y'Omukama awatali kusalawo ebbanga lyonna Yoyada ng'akyaliwo.
15
Yoyada yakaddiwa n'agundiira mu myaka, n'afa nga wa myaka kikumi mu asatu.
16
Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi wamu ne bakabaka, kubanga yali aweerezza bulungi Katonda n'Ekiggwa kye mu Yisirayeli.
17
Yoyada bwe yamala okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne balanya ewa kabaka, naye n'abawuliriza.
18
Baaleka Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne badda ku kuweereza empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale. Obusungu bw'Omukama ne busitukira ku Yuda ne ku Yeruzaalemu olw'emisango gyabwe egyo.
19
Omukama yabasindikiranga abalanzi babakomyewo gy'ali; baabalaganga ensobi zaabwe, naye era tebaabawuliriza.
20
Mwoyo w'Omukama n'ajja ku Zakariya mutabani wa Yoyada kabona. Zakariya n'ayimirira mu maaso g'abantu n'abagamba nti: “Kino Katonda ky'agamba: ‘Lwaki mumenya ebiragiro by'Omukama? Ebintu tebijja kubalamira. Kubanga mwabulidde Omukama, naye abaabulidde.’ ”
21
Kyokka ne bamwekobera, kabaka n'alagira ne bamukuba amayinja awo mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama.
22
Kabaka Yowasi teyajjukira kisa Yoyada kitaawe wa Zakariya kye yali amugiridde, n'atta mutabani we. Bwe yali afa n'agamba nti: “Omukama alabe asalewo.”
23
Ng'omwaka gutandika, eggye lya Aramu ne lirumba Yowasi. Lyazinda Yuda ne Yeruzaalemu, ne basaanyaawo abakulembeze b'abantu bonna. Omunyago gwonna ne baguweereza kabaka mu Damasiko.
24
Newandibadde Abaaramu bajja n'abantu batono ddala, Katonda yabawa mu mikono gyabwe eggye eddene ennyo, kubanga Yuda yali alese Omukama Katonda wa bajjajjaabwe; bwe batyo ne babonereza Yowasi.
25
Abaaramu okugenda, baamuleka n'obuvune obw'amaanyi. Abaweereza be ne bamwekobera okuwoolera omusaayi gwa mutabani wa Yoyada kabona, ne bamuttira mu kitanda kye, n'afa. Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi, naye si mu biggya bya bakabaka.
26
Abaamwekobera ye Zabadi mutabani wa Simewati omukazi Omwammoni, ne Yozabadi mutabani wa Simuriti omukazi Omumowabu.
27
Ebifa ku batabani be, omusolo ogwamubinikibwa, n'omulimu gwe ogw'okuddaabiriza Ekiggwa kya Katonda, byawandiikibwa mu kitabo Ennyinyonnyola y'Ekitabo kya Bakabaka. Amaziya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36