bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 35
2 Chronicles 35
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Yosiya yakuza Pasika y'Omukama mu Yeruzaalemu. Akaliga ka Pasika kattibwa ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka.
2
N'assa bakabona mu mirimu gyabwe n'abagumya mu kuweereza kwabwe mu Kiggwa ky'Omukama.
3
Abaleevi abaayigirizanga Yisirayeli yenna, ate nga bawongeddwa Omukama, n'abagamba nti: “Musse Ssanduuku entukuvu mu Kiggwa Solomoni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli kye yazimba. Si ya kuddamu kutwalirwa ku bibegabega byammwe. Kati muweereze Omukama Katonda wammwe n'abantu ba Yisirayeli.
4
Mwetegeke mu nnyumba za bajjajjaabwe ne mu bisanja byammwe, nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yabitereeza era ne Solomoni mutabani we.
5
Muweereze mu kitukuvu nga buli kibinja ky'Abaleevi kiriko ennyumba za bajjajja eza bannammwe, abantu aba bulijjo, be kikiikiridde.
6
Mutte obuliga bwa Pasika, mwetukuze, era mubuteeketeeke olwa baganda bammwe, nga mukola ng'Omukama bwe yagamba ng'ayita mu Musa.”
7
Yosiya abantu bonna abaaliwo yabawa obuliga n'embuzi emitwalo esatu ng'ebitone bya Pasika, n'ente enkumi ssatu, byonna ebyo nga kabaka abitodde mu bibye.
8
N'abakungu be baatonera abantu kyeyagalire, bakabona n'Abaleevi. Kilukiya, Zakariya ne Yekiyeli, abakulu b'Ekiggwa ky'Omukama, baawa bakabona, ku lw'ebitone bya Pasika, endiga enkumi bbiri mu lukaaga, n'ente ebikumi bisatu.
9
Konaniya ne baganda be Semaaya ne Netaneli, Kasabiya, Yeyeli ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, baawa Abaleevi abalala ebitone bya Pasika endiga enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano.
10
Omukolo gwategekebwa, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi mu bisanja byabwe, nga kabaka bwe yali alagidde.
11
Obuliga bwa Pasika ne buttibwa; bakabona ne bamansira omusaayi gwe baabakwasanga, Abaleevi bo nga babaagako ebisolo amaliba.
12
Ne bayawulako ebitone eby'ebitambiro ebyokye, ne babiwa abantu mu bibinja by'ennyumba za bajjajjaabwe babitambirire Omukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Ne ku nte era bwe baakola.
13
Ebitone bya Pasika bayokya byokye ku muliro ng'etteeka bwe ligamba; ebitone ebirala ebitukuvu ne babifumba mu ntamu, mu nsaka ne mu nsaniya, ne babitwalira bunnambiro abantu bonna.
14
Oluvannyuma bo ne beetegekera eyaabwe ne bakabona, kubanga bakabona, batabani ba Aroni, baali ku gwa kuweereza bitambiro byokye n'amasavu okutuusa ekiro. Abaleevi okwetegekera eyaabwe n'eya bakabona batabani ba Aroni kyebaava bakikola oluvannyuma.
15
Abayimbi ab'olunyiriri lw'Abaasafu baali mu kifo kyabwe ekyalagirwa Dawudi, Asafu, Emani ne Yedutuni omulabi wa kabaka. Abaggazi baali ku miryango gyonna, tebaaseguka kuva ku mulimu gwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabakolera entegeka.
16
Bwe gutyo omukolo gw'Omukama gwonna gwategekebwa bulungi okukuza Pasika, n'okutambira ebitone by'ebitambiro ebyokye ku mwaliiro gw'Omukama nga kabaka Yosiya bwe yali alagidde.
17
Abayisirayeli abaaliwo baakuza Pasika ku olwo, ne bakuza n'Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse okumala ennaku musanvu.
18
Okukuza Pasika mu ngeri eno kwali tekubangawo okuva mu biseera bya Samweli omulanzi. Ne mu bakabaka bonna aba Yisirayeli tewaali yakuza Pasika nga Yosiya bwe yakola wamu ne bakabona, Abaleevi, Yuda yenna, abaava mu Yisirayeli n'ab'omu Yeruzaalemu.
19
Pasika eno yakuzibwa mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwa Yosiya.
20
Yosiya bwe yamala okuddaabiriza Ekiggwa, Neko kabaka w'e Misiri n'ayambuka okutabaala mu Karucemisi ku Mugga Furaati; Yosiya n'agenda okumusisinkana.
21
Naye Neko n'amutumira ababaka n'amugamba nti: “Onfaako ki ggwe, kabaka wa Yuda? Si ggwe nnumbye kaakati, wabula ennyumba ennwanyisa. Katonda andagidde ŋŋende bunnambiro. Leka kuziyiza Katonda ali nange, sikulwa ng'akusanyaawo.”
22
Naye Yosiya teyamuleka, wabula yeefuusa okumulwanyisa, n'atagondera bw'atyo bigambo bya Neko ebyava mu kamwa ka Katonda. N'agenda okumulwanyisa mu museetwe gw'e Megiddo.
23
Ab'obusaale ne balasa kabaka Yosiya, n'agamba abagabe be nti: “Munzigye mu ddwaniro kubanga nfumitiddwa bubi nnyo.”
24
Abaweereza be ne bamuggya ku kigaali ne bamussa mu kigaali kye ekirala ne bamutwala e Yeruzaalemu, n'afa, n'aziikibwa mu biggya bya bajjajjaabe; Yuda yenna ne Yeruzaalemu ne bamukaabira.
25
Yeremiya n'afumba ennyimba ezikungubagira Yosiya; n'okutuusa ku lunaku lwa leero abayimbi abasajja n'abakazi bakyakungubagira Yosiya mu nnyimba ezo. Zaafuuka nga tteeka mu Yisirayeli; zaawandiikibwa mu kitabo ky'Ennyimba z'Okukungubaga.
26
Ebirala mu bifaayo bya Yosiya, omukwano gwe eri Omukama ebyali nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka ly'Omukama,
27
byonna bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli ne Yuda.
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36