bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 6
2 Chronicles 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Awo Solomoni n'agamba nti: “Omukama agambye okusula mu kire ekikwafu.
2
Mazima, nkuzimbidde ennyumba amakula, ekifo w'onoosula emirembe gyonna.”
3
Ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kyali kiyimiridde awo, Kabaka n'akyuka n'awa omukisa ekibiina.
4
N'agamba nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe, atuukirizza n'emikono gye bye yasuubiza n'akamwa ke Dawudi kitange. Anti yagamba nti:
5
‘Okuva lwe naggya abantu bange Yisirayeli mu Misiri, sirondanga kibuga mu bika byonna ebya Yisirayeli muzimbibwemu ekiggwa, erinnya lyange libeerenga omwo, era sirondanga muntu abeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
6
Wabula nnonze Yeruzaalemu erinnya lyange libeerenga omwo, era nnonze Dawudi afugenga abantu bange Yisirayeli.’
7
Kitange Dawudi yayagala okuzimbira erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ekiggwa,
8
naye Omukama n'agamba kitange Dawudi nti: ‘Wayagala okuzimbira erinnya lyange ekiggwa, wakola bulungi okulowooza bw'otyo.
9
Kyokka si ggwe onoozimba ekiggwa, wabula mutabani wo, asibuka mu ggwe; oyo yalizimbira erinnya lyange ekiggwa.’
10
Omukama akakasizza kye yayogera. Nasikira kitange Dawudi era kati ntudde ku nnamulondo ya Yisirayeli ng'Omukama bwe yayogera, nzimbidde n'erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ekiggwa.
11
Ntaddemu Ssanduuku omuli Endagaano y'Omukama gye yakola n'Abayisirayeli.”
12
Awo Solomoni n'ayimirira mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, n'agololera emikono gye waggulu.
13
Solomoni yali akoze ekituuti eky'ekikomo nga kya buwanvu bwa mikono etaano, obugazi bwa mikono etaano n'obusimba bwa mikono etaano, ng'akisimbye mu makkati g'oluggya olw'ebweru. Yalinnya ku kituuti n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli n'agololera emikono gye waggulu,
14
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne ku nsi teri Katonda akufaanana, ggwe akuumira endagaano n'ekisa kyo abaweereza bo abatambula mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
15
Wakuuma bye wagamba omuweereza wo kitange Dawudi; wabisuubiza n'akamwa ko, n'obituukiriza n'emikono gyo olwa leero.
16
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuumira omuweereza wo kitange Dawudi bye wamusuubiza bwe wagamba nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli mu maaso gange, singa abaana bo baneegenderezanga mu makubo gaabwe ne batambuliranga mu etteeka lyange nga ggwe bw'okoze.’
17
Kale nno, Mukama, Katonda wa Yisirayeli, leka bye wasuubiza omuweereza wo Dawudi bituukirire.
18
Naye ddala Katonda anaasula ku nsi n'abantu? Oba kale eggulu na liri eggulu erisukkulumidde ddala tebikumala kugyamu, leero alabisa ekiggwa kino kye nzimbye.
19
Kyokka tunuulira essaala y'omuweereza wo n'okuwanjaga kwe, ayi Mukama Katonda wange. Wulira omulanga n'essaala y'omuweereza wo by'aweerezza nga yeegayirira mu maaso go.
20
Amaaso go gabeere ku Kiggwa kino ekiro n'emisana, ekifo mwe wagamba okussa erinnya lyo, owulire essaala omuweereza wo gy'asabira mu kifo kino.
21
“Wulira okuwanjaga kw'omuweereza wo n'abantu bo Yisirayeli bwe beegayirira mu kifo kino. Wulira, ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, ng'owulidde, saasira.
22
“Omuntu bw'alisobya eri munne, n'aba ng'alina okulayira, n'ajja n'alayira mu maaso g'omwaliiro gwo mu Kiggwa kino,
23
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'obaako ky'okola. Olamulanga wakati w'abaweereza bo n'osingisa omubi omusango, n'omuwa ekibonerezo olw'ensobi ye; n'ossa ekisobyo kye ku mutwe gwe; omutuukirivu n'omwejjeerezza, n'aweerwa okusinziira ku butuukirivu bwe.
24
“Abantu bo Yisirayeli bwe bagobebwanga abalabe baabwe kubanga baakola ekibi gy'oli, bamala badda gy'oli, ne beetondera erinnya lyo, ne basaba n'okuwanjaga mu maso go mu Kiggwa kino,
25
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Yisirayeli, n'obazzaayo mu nsi gye wawa bo ne bajjajjaabwe.
26
“Eggulu bwe liggalibwanga, enkuba n'etetonnya kubanga abantu bo basobezza gy'oli, abantu bamala basabira mu kifo kino ne beetondera erinnya lyo, ne bava ku bibi byabwe olw'obuyinike bw'obataddemu,
27
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo n'eby'abantu bo Yisirayeli. Oboolekanga ekkubo eddungi mwe baba batambulira; otonnyesanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo ng'obusika.
28
“Enjala bw'egwanga mu nsi, oba kawumpuli, oba nnabbambula, oba ebimera okugengewala, oba enzige, oba amayanzi, oba omulabe waabwe n'abazingiza mu kimu ku bibuga byabwe, oba ekibonoobono ekya buli ngeri, oba ekirwadde kyonna,
29
ne wabaawo essaala yonna oba okuwanjaga kwonna okuva mu omu ku bantu bo Yisirayeli, nga buli muntu ategedde obuyinike n'obulumi by'alimu, n'agololera emikono gye eri Ekiggwa,
30
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula. Osonyiwanga era buli omu n'omuyisa nga bwasaanidde, kubanga ggwe omanyi buli mutima - anti ggwe wekka ggwe omanyi emitima gy'abantu -
31
olwo bakutyenga era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze balibeera mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32
“Newandibadde omugwira, atali wa mu bantu bo Yisirayeli, avudde mu nsi ewala olw'okubeera erinnya lyo n'omukono gwo ogw'amaanyi n'omukono gwo omugolole, bw'abanga azze n'asabira mu Kiggwa kino
33
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, n'okola kyonna omugwira ky'akusaba, abantu bonna mu nsi balyoke bamanye erinnya lyo, bakutye ng'abantu bo Yisirayeli bwe bakola, bakakase nti ennyumba eno gye nzimbye eyitibwa linnya lyo.
34
“Abantu bo bwe bagendanga okutabaala abalabe baabwe, yonna gy'oliba obatumye, bamala beegayirira nga bakoowoola eri ekibuga kye weerondera n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
35
ng'oyima mu ggulu owuliranga essaala yaabwe n'okuwanjaga kwabwe n'okola ku nsonga zaabwe.
36
“Bwe babanga basobezza gy'oli - anti tewali muntu atayonoona - n'obasunguwalira, n'obawaayo eri omulabe waabwe, abaabawamba, ne babatwala mu busibe mu nsi ey'ewala oba okumpi,
37
nga bali eyo mu kifo gye basibiddwa, bamala beddamu muli mu mutima, ne beenenya ne bakuwanjagira eyo mu nsi gye baasibirwa nti: ‘Twayonoona, twasobya, twakola bubi,’
38
bamala badda gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna, eyo mu nsi eyo mu nsi abalabe baabwe gye baabatwala mu busibe, bamala bakwegayirira nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye walonda, n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
39
ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, owuliranga essaala zaabwe n'okuwanjaga kwabwe n'okola ku nsonga zaabwe. Osaasiranga abantu bo abaasobya gy'oli.
40
“Kale nno, Katonda wange, nkwegayiridde, amaaso go gazibulirwe essaala y'omu kifo kino n'amatu go gagiwulirize.
41
“Kale nno, Mukama Katonda situka, genda mu kifo kyo w'onoowummulira, ggwe n'Essanduuku y'amaanyi go. Bakabona bo, ayi Mukama Katonda, baambale obulokofu; n'abatuukirivu bo basanyukire mu bulungi.
42
Ayi Mukama Katonda, togobaganya maaso ga musiige wo; jjukira omukwano gwa Dawudi omuweereza wo.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36