bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 34
2 Chronicles 34
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Yosiya yafuuka kabaka nga wa myaka munaana; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka amakumi asatu mu gumu.
2
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, n'atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe; teyawunjukako kudda ku ddyo oba ku kkono.
3
Mu mwaka ogwomunaana ogw'obwakabaka bwe, ng'akyali muvubuka muto, yatandika okunoonya Katonda wa jjajjaawe Dawudi. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri yatandika okugogola mu Yuda ne mu Yeruzaalemu ebifo ebigulumivu, empagi za Asera, ebifaananyi bya balubaale ebibajje n'ebisaanuuse.
4
Yalagira emyaliiro gya Baali ne bagizikiriza; emyaliiro gy'obubaani gye baali bazimbyeko yagimenyaamenya; empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale ebibumbe n'ebisaanuuse yabimenyaamenya n'abimansamansa ku malaalo gaabo abaali babitambirira.
5
Yayokya amagumba ga bakabona abaatambiriranga ku myaliiro gyabwe; bw'atyo n'agogola Yuda ne Yeruzaalemu.
6
Era ne mu bibuga bya Manasse, Efurayimu, Simewoni n'okutuuka ku Nafutali, ne mu byalo ebibyetoolodde,
7
yamenyawo emyaliiro n'empagi za Asera, n'ebifaananyi bya balubaale n'abisekula n'abifuula vvu; emyaliiro gy'obubaani n'agitemaatema wonna mu Yisirayeli, olwo n'adda mu Yeruzaalemu.
8
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwe, olw'okugogola ensi n'Ekiggwa, yatuma Safani mutabani wa Azaliya, Maaseeya omukulu w'ekibuga, ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Yowakazi, baddaabirize Ekiggwa ky'Omukama Katonda we.
9
Ne bajja ewa Kilukiya kabona omukulu, ne bamuwa ssente ezaali zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama Abaleevi abakuumi b'oku mulyango ze baakuŋŋaanya mu Manasse, Efurayimu n'awalala wonna mu Yisirayeli, mu Yuda wonna, mu Benyamiini ne mu b'omu Yeruzaalemu.
10
Ne babikwasa bannampala abaakuliranga omulimu gw'okulongoosa Ekiggwa ky'Omukama; bano ne baziwa abakozi b'omulimu abaali bakola mu Kiggwa ky'Omukama okuddaabiriza n'okuzzaawo Ekiggwa.
11
Era baawanga ssente ababazzi n'abazimbi, bagule amayinja amayole n'emiti egy'emirabba n'eŋŋanzikizo eby'amayumba bakabaka ba Yuda ge baaleka ne gagwa.
12
Baffundi omulimu baagukola n'omutima gwabwe gwonna. Bannampala abaalabiriranga omulimu baali: Yakati, Obadiya, Abaleevi ab'omu ssiga lya Merari, Zakariya ne Mesullamu, ow'omu ssiga lya Kewati. Abaleevi bonna, nga bakugu mu kukuba ebivuga,
13
be baalabiriranga abeetissi n'okulambikanga abakozi aba buli mulimu. Abaleevi abamu baalinga bawandiisi, bakuumi ba bitabo oba baggazi.
14
Bwe baali baggya ssente ezaali zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama, Kilukiya kabona n'agwikiriza Ekitabo ky'Etteeka ly'Omukama eryaweebwa nga liyita mu Musa
15
Kilukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Etteeka mu Kiggwa ky'Omukama.” Ekitabo Kilukiya n'akiwa Safani.
16
Safani ekitabo n'akireeta ewa kabaka, n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo bakola byonna nga bwe wabatuma.
17
Ssente ezibadde mu Kiggwa ky'Omukama baziwaddeyo ne bazikwasa bannampala ne baffundi.”
18
Safani omuwandiisi n'ategeeza kabaka nti: “Kilukiya kabona yampadde ekitabo.” Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
19
Kabaka bwe yawulira ebigambo by'Ekitabo ky'Etteeka, n'ayuza ebyambalo bye.
20
N'alagira Kilukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, Abudoni mutabani wa Mika, Safani omuwandiisi ne Asaaya omuweereza wa kabaka, n'abagamba nti:
21
“Mugende mwebuuze ku Mukama ku lwange, ku lw'abalala bonna mu Yisirayeli ne mu Yuda yenna ku bigambo by'ekitabo ekyo ekyazuuliddwa, kubanga obusungu bw'Omukama bungi obutwesereddeko, kubanga bajjajjaffe tebaawulira kigambo kya Mukama; tebaakola nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo kino.”
22
Kilukiya n'abo kabaka be yali amusindise nabo ne bagenda ewa Kuluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokuwati mutabani wa Kasura, eyali akuuma ebyambalo. Yali asula mu Yeruzaalemu mu Gombolola ey'Okubiri. Ne bamwanjulira ensonga zaabwe,
23
n'abaddamu nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mugambe omusajja abasindise gye ndi nti:
24
Omukama kino ky'agamba: “Ŋŋenda kuzikiriza ekifo kino na bonna abakirimu ng'ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ekisomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.
25
Kubanga nze banvaako ne banyookeza balubaale obubaani, ne bannyiiza na byonna emikono gyabwe bye gyakola; obusungu bwange bujja kweserera ku kifo kino era tewaliba abuzikiriza.” ’
26
Kabaka wa Yuda eyabasindise okwebuuza ku Mukama mumugambe nti: Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku bigambo by'Ekitabo bye wawulidde:
27
‘Kubanga omutima gwo gutengedde ne weetoowaliza Omukama ng'owulidde bye nayogeredde ekifo kino n'abakisulamu, n'oyuza ebyambalo byo, ne weetoowaza, n'okaaba mu maaso gange, nange nkuwulidde,’ Omukama bw'agamba.
28
‘Kale nzija kukugatta ku bajjajjaabo, oliziikibwa mu ddembe, amaaso go tegaliraba kabenje ke nnaaleetera kifo kino n'abo abakisulamu.’ ” Ne bazzaayo ewa kabaka kye yali agambye.
29
Kabaka n'atumya n'akuŋŋaanya abakadde bonna mu Yuda ne mu Yeruzaalemu.
30
N'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama wamu n'abasajja bonna ab'omu Yuda, abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu, bakabona, Abaleevi n'abantu bonna okuva kw'asooka okutuuka kw'asembayo, n'asoma bonna nga bawulira ebigambo byonna eby'Ekitabo ky'Endagaano ekyali kizuuliddwa mu Kiggwa ky'Omukama.
31
Kabaka n'ayimirira ku mpagi ye, n'addamu endagaano mu maaso g'Omukama: okugoberera Omukama, okukwatanga ebiragiro bye, empisa ze n'amateeka ge n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'okutuukiriza ebigambo by'Endagaano eyo ebyali biwandiikiddwa mu kitabo kino.
32
N'alagaanyisa bonna abaali mu Yeruzaalemu ne Benyamiini. Ab'omu Yeruzaalemu ne bakolanga ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw'egamba.
33
Yosiya n'aggya ebifaananyi bya balubaale ebyenyinyalwa byonna mu nsi y'Abayisirayeli wonna; bonna abaali mu Yisirayeli n'abalagaanyisa okuweereza Omukama Katonda waabwe. Mu budde bwe bwonna nga mulamu tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36