bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 26
2 Chronicles 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Abantu bonna aba Yuda ne baddira Wuzziya, eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamussa ku nnamulondo asikire Amaziya kitaawe.
2
Ye oyo eyazimba Elati n'akiddiza Yuda Amaziya ng'amaze okugalamira ne bajjajjaabe.
3
Wuzziya yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na mukaaga; yafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya, ng'asibuka mu Yeruzaalemu.
4
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga kitaawe Amaziya bwe yakola.
5
Yanoonya Katonda mu budde bwa Zakariya eyamugunjula mu kutya Katonda; ebbanga lyonna ng'anoonya Omukama, Katonda yamuwanga ebintu ne bimulamira.
6
Yagenda okutabaala Abafilisitiini, n'amenya bbugwe w'e Gati, ow'e Yebune n'ow'e Asudodi. Yazimba n'ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu Bafilisitiini.
7
Katonda yamuyamba ng'alwana n'Abafilisitiini n'Abawarabu abaabeeranga mu Guri-Baali era n'Abamewuni.
8
Abammoni baawanga Wuzziya omusolo; erinnya lye ne livuga okutuuka ku nsalo za Misiri, kubanga yafuuka wa maanyi nnyo.
9
Wuzziya n'azimba eminaala mu Yeruzaalemu ku Mulyango gw'Ensonda ne ku Mulyango gw'Ekiwonvu ne ku nsonda ya bbugwe, n'abigumya.
10
Yazimba eminaala mu ddungu, n'asima n'enzizi nnyingi kubanga yalina amagana mangi mu Sefela ne mu museetwe; mu nsozi yalinayo abalimi mu nnimiro ne mu mizabbibu, ne mu bitundu ebigimu; kubanga yayagalanga okulima.
11
Wuzziya yalina eggye ettendeke eriri obulindaala okugenda mu lutalo, nga liri mu bibinja, mu miwendo gyabyo nga Yeyeli omuwandiisi ne Maaseeya omwami bwe baali bakunze nga bakubirizibwa Ananiya omu mu baami ba kabaka.
12
Abakulu b'ennyumba z'abatabaazi eza bajjajjaabwe baali awamu enkumi bbiri mu lukaaga.
13
Abo nga be batwala eggye lyonna ery'abantu obusiriivu obusatu mu akasanvu mu ebitaano, abeetegefu okugenda ku lutalo okutaasa kabaka abalabe.
14
Wuzziya yawa eggye lye lyonna engabo, amafumu, enkuufiira ez'ekyuma, ebizibawo eby'oku kifuba, obusaale, n'amayinja g'envuumuulo.
15
Mu Yeruzaalemu yakoleramu ebyuma ebikasuka enkonyogo ebyayiiyizibwa abakozi abakugu, n'abisimba ku minaala ne mu nsonda z'oku bbugwe bikasuke obusaale n'agayinja aganene; erinnya lye ne litutumuka, kubanga yaayambibwa mu ngeri ey'ekitalo okutuusa ng'afuuse w'amaanyi.
16
Naye bwe yamala okufuuka ow'amaanyi, omutima gwe ne gwewanika, ekyamutuusa ku kuzikirira. Teyali mwesigwa eri Omukama Katonda we; yayingira mu Kiggwa ky'Omukama n'ayagala okunyookeza obubaani ku mwaliiro gw'obubaani.
17
Amangu ago Azariya kabona n'amugenderako ng'ali ne bakabona b'Omukama kinaana abeesobola.
18
Ne beesimba mu maaso ga kabaka okumuziyiza, ne bamugamba nti: “Tokola kituufu, Wuzziya, okunyookeza Omukama obubaani. Ogwo mulimu gwa bakabona, batabani ba Aroni, abaatukuzibwa okunyookeza obubaani. Ekitukuvu kyamuke, kubanga tobadde mwesigwa, n'Omukama Katonda tajja kukutenda.”
19
Wuzziya yali akutte ekyoterezo anyookeze obubaani, n'anyiiga. Yali akyakalalira bakabona, ekigenge ne kimukwata mu kyenyi awo mu maaso ga bakabona mu nnyumba y'Omukama ku mwaliiro okunyookezebwa obubaani.
20
Azariya kabona ne bakabona bonna gye baakuba amaaso, nga balaba kigenge mu kyenyi kye, amangu ago ne bamufulumya ebweru; naye yennyini yali anoonya kufuluma, kubanga Omukama yali amubonerezza.
21
Kabaka Wuzziya yalina ekigenge ekyamusigalako okutuusa ku kufa; yasulanga mu nnyumba njawufu yekka, nga mugenge, takkirizibwa mu Kiggwa kya Mukama. Yotamu mutabani wa kabaka ye yafuganga olubiri, era ye yalamulanga n'abantu b'omu nsi.
22
Ebirala mu bifaayo bya Wuzziya, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi yabiwandiika.
23
Wuzziya yagalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika wamu nabo mu kirimiro ky'ekiggya kya bakabaka, kubanga baali bagamba nti: “Yali mugenge.” Yotamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36