bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 7
2 Chronicles 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Solomoni bwe yamala okwegayirira, omuliro ne guva mu ggulu, ne gusenkenya ebitambiro ebyokye n'ebitone, ekitiibwa ky'Omukama ne kijjuza Ekiggwa.
2
Bakabona nga tebakyasobola kuyingira Kiggwa kya Mukama, kubanga ekitiibwa ky'Omukama kyali kikijjuzizza.
3
Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa ky'Omukama ku Kiggwa, ne bagwa nga beevuunise ku ttaka ku mwaliiro ogw'amayinja, ne basinza, ne batendereza Omukama nga bagamba nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
4
Awo kabaka wamu ne Yisirayeli yenna ne baweereza ebitambiro mu maaso g'Omukama.
5
Kabaka Solomoni yaweereza ebitambiro eby'okussa ekimu: ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga n'embuzi kasiriivu kamu mu emitwalo ebiri. Kabaka n'Abayisirayeli bonna ne batukuza Ekiggwa ky'Omukama.
6
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo bwe batyo, nga bakutte ebivuga by'Omukama kabaka Dawudi bye yali akoze okugulumiza Omukama buli Dawudi lwe yaweererezanga ettendo ku bivuga ebyo nti: “kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Mu maaso gaabwe waali wayimiriddewo bakabona nga bafuuwa amakondeere; ne Yisirayeli yenna yali ayimiridde.
7
Solomoni yatukuza ekitundu ky'oluggya eky'omu makkati mu maaso g'Ekiggwa ky'Omukama, n'aweerereza awo ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga, n'amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu, kubanga omwaliiro ogw'ekikomo ogwali mu maaso g'Omukama gwe yali akoze gwali tegyako bitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga n'ebitundu eby'amasavu.
8
Mu budde obwo Solomoni n'amala ennaku musanvu ng'akuza embaga enkulu, nga ne Yisirayeli yenna ali naye, ekibiina ekinene ennyo omwali abaava ku Lebo-Kamati okutuuka ku Kiwonvu Misiri.
9
Ku lunaku olwomunaana baakola olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, kubanga baali bamaze ennaku omusanvu nga batukuza omwaliiro n'embaga enkulu ne bagikuliza ennaku endala musanvu.
10
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogwomusanvu, n'asiibula abantu, ne bagenda buli omu mu maka ge nga basanyufu, emitima gijaganya, olw'ebirungi Omukama bye yali akoledde Dawudi, Solomoni ne Yisirayeli abantu be.
11
Solomoni bwe yamaliriza okuzimba Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, nga buli kimu kye yali ayagadde okukola ku Kiggwa ky'Omukama ne ku lubiri lwe kimulamidde,
12
Omukama n'alabikira Solomoni ekiro, n'amugamba nti: “Mpulidde essaala yo era neerondedde ekifo kino kibeere ennyumba y'ebitambiro.
13
Bwe ndiggalanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba ne mpa ekiragiro enzige ne zirya ensi, oba ne nsindika kawumpuli mu bantu bange,
14
abantu bange abo abaatuumibwa erinnya lyange bamala beetoowaza, ne banneegayirira, ne banoonya amaaso gange, ne bava mu makubo gaabwe amabi, olwo ndiyima mu ggulu ne mpulira, ndibasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe.
15
Olwo amaaso gange galizibulirwa essaala y'omu kifo kino n'amatu gange ne gagiwuliriza.
16
Kale nnonze ne neetukuliza ekifo kino erinnya lyange we liba libeera emirembe gyonna; amaaso gange n'omutima gwange biribeera awo bulijjo.
17
“Naawe bw'oliba otambulidde mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n'okola byonna bye nkulagira, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange,
18
nnamulondo y'obwakabaka bwo nzija kugitebenkeza ku Yisirayeli, nga bwe nalagaanya Dawudi kitaawo nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli.’
19
Naye mmwe bwe mulikuba amabega, ne mwabulira amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbateereddewo, ne mumala mugenda ne muweereza balubaale, ne mubasinza,
20
Yisirayeli ŋŋenda kumusimbula mu nsi gye nabawa, n'ekiggwa kye natukuliza erinnya lyange ndikikasuka kinve mu maaso. Ekiggwa ŋŋenda kukifuula lufumo, kifuuke eky'okusekerera mu mawanga gonna.
21
Newandibadde Ekiggwa kino kya kitiibwa, buli yenna aliba ayise wano kirimuwuniikiriza n'abuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno n'Ekiggwa?’
22
Balimwanukula nti: ‘Kubanga baaleka Omukama Katonda wa bajjajjaabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera balubaale, ne babasinza, ne babaweereza, kyeyava abaleetera akabi kano konna.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36