bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 13
2 Chronicles 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwa Yerobowamu, Abiya n'afuuka kabaka wa Yuda.
2
Yafugira emyaka esatu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Mikaaya muwala wa Wuriyeli ow'e Gibewa. Olutalo lwabalukawo wakati wa Abiya ne Yerobowamu.
3
Abiya n'ajja mu ddwaniro n'abasajja abalondobe obusiriivu buna; ne Yerobowamu n'ataza eggye okumutabaala n'abatabaazi abalondobe obusiriivu munaana, abasajja abeesobola, abatabaazi abazira.
4
Abiya yayimirira ku lusozi Zemarayimu oluli mu nsozi za Efurayimu, n'agamba nti: “Yerobowamu naawe Yisirayeli mumpulirize.
5
Temumanyi nga Omukama, Katonda wa Yisirayeli obwakabaka bwa Yisirayeli yabuwa Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna n'endagaano ey'omunnyo?
6
Naye Yerobowamu mutabani wa Nebati omuweereza wa Solomoni mutabani wa Dawudi n'asituka n'ajeemera mukama we.
7
Yakuŋŋaanirwako abasajja omutali kantu, empongabyoya, bakine ku Rekobowamu mutabani wa Solomoni, kubanga Rekobowamu yali muto ng'akyalimu okutya, nga tasobola kubaziyiza.
8
Mmwe kati muteesa okwesimba mu bwakabaka bw'Omukama, obuli kati mu mikono gya batabani ba Dawudi, kubanga kati muli ggye ddene mulina n'obuyana obwa zaabu Yerobowamu bwe yabakolera bubeere balubaale bammwe.
9
Naye temwagoba bakabona b'Omukama, batabani ba Aroni n'Abaleevi, ne mwessizaawo bakabona, ng'abantu ab'ensi endala bwe bakola? Buli yenna ajja okwawulibwa bw'aleeta ente ennume ento n'endiga ennume omusanvu ng'afuuka kabona w'ebyo ebitali Katonda.
10
Ffe Katonda waffe ye Mukama waffe era tetumwabuliranga. Bakabona abaweereza Omukama batabani ba Aroni, n'Abaleevi nabo bali ku mirimu gyabwe.
11
Baweereza Omukama buli lunaku ku makya n'akawungeezi ebitambiro ebyokye n'obubaani, ne bassaawo n'Emigaati egy'Okwolesebwa ku mmeeza ennongoofu. Buli kawungeezi bakoleeza ettawaaza ez'oku kikondo ekya zaabu. Ffe tukwata ebiragiro by'Omukama Katonda waffe, naye mmwe mwabireka.
12
Awo nno Katonda ali naffe, ye mugabe waffe. Bakabona be bajja kufuuwa amakondeere gaabwe okubatemyako okubalumba. Batabani ba Yisirayeli, muleke kulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
13
Yerobowamu yali asindise eggye limwetooloole nga limufuluma emabega, ye bw'aba ng'ali eno mu maaso ga Yuda, abalala nga bali emabega.
14
Yuda bwe yakebuka n'alaba nga balumbiddwa mu maaso n'emabega, n'aleekaana ew'Omukama. Bakabona ne batandika okufuuwa amakondeere,
15
ne basajja ba Yuda bonna ne bakuba enduulu; bwe baaleekaana, Katonda n'asimbuliza Yerobowamu ne Yisirayeli mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16
Abantu ba Yisirayeli ne badduka Yuda, Katonda n'abawaayo mu mikono gyabwe.
17
Abiya n'abantu be ne babakuba, abaafa ne baba bangi; mu Yisirayeli abaafumitibwa ne bafa baawera emitwalo etaano mu basajja abalondobe abalina obusobozi.
18
Ku olwo abantu ba Yisirayeli ne batoowazibwa, bo abantu ba Yuda ne bawangula, kubanga baasuubira mu Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
19
Abiya n'awondera Yerobowamu ng'adduka, n'amuwambako ebibuga Beteli n'ebyalo byakyo, Yesana n'ebyalo byakyo, ne Efuroni n'ebyalo byakyo.
20
Yerobowamu teyaddayo kubeera wa maanyi mu budde bwa Abiya. Omukama yamukuba n'afa.
21
Abiya ye ne yeeyongera amaanyi; yawasa abakazi kkumi na bana, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'aboobuwala kkumi na mukaaga.
22
Ebirala mu bifaayo bya Abiya, bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu kitabo Ennyinyonnyola ya Yiddo Omulanzi.
23
Abiya n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi; Asa mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. Mu budde bwe ensi yamala emyaka kkumi ng'etebenkedde.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36