bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 28
2 Chronicles 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
1
Akazi yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka kkumi na mukaaga. Teyakola kituufu mu maaso g'Omukama nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola,
2
wabula yagoberera amakubo ga bakabaka ba Yisirayeli. Yakola ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse okusinza Babaali.
3
Yaweereza ebitambiro eby'obubaani mu kiwonvu Beni-Yinnomu; yawonga ne batabani be mu muliro ng'agoberera ebyenyinyalwa by'amawanga bye baakolanga, abo Omukama be yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli.
4
Yatambiranga n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu ne ku busozi na buli wansi wa muti oguggumizza.
5
Omukama Katonda we n'amuwaayo mu mikono gya kabaka wa Aramu; Abaaramu ne bamuwangula ne bamuwambako bangi mu bantu be, ne baabatwala e Damasiko. N'aweebwayo mu mikono gya kabaka wa Yisirayeli, n'amukuba bubi.
6
Olumu Peka mutabani wa Remaliya yatta mu Yuda abasajja abeesobola akasiriivu kamu mu emitwalo ebiri mu lunaku lumu, kubanga Yuda yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7
Zikuri omusajja omutabaazi ow'omu Efurayimu yatta Maaseeya mutabani wa kabaka, ne Azurikamu omukulu w'olubiri ne Elukana eyali addirira kabaka.
8
Abantu ba Yisirayeli ne bawamba mu baganda baabwe abantu obusiriivu bubiri, omwali ne bakazi baabwe, batabani ne bawala baabwe, ne babatwala wamu n'omunyago munene mu Samariya.
9
Eyo waaliyo omulanzi w'Omukama, erinnya lye Odedi; yagenda n'asisinkana eggye nga likomawo mu Samariya, n'abagamba nti: “Kituufu: Omukama Katonda wa bajjajjammwe abadde asunguwalidde Yuda, kyavudde amuwaayo mu mikono gyammwe, naye mmwe mubasanjaze n'obukambwe obwetuumye n'okutuuka ku ggulu.
10
Wuuno abantu ba Yuda ne Yeruzaalemu mwagala kubafuula baddu bammwe na bazaana. Muba nammwe temuzzizza musango mu maaso g'Omukama Katonda wammwe?
11
Mumpulirize. Muzzeeyo abasibe, be baganda bammwe be mwawambye, kubanga obusungu bw'Omukama obwesera buli ku mmwe.”
12
Abamu mu bakungu b'abazzukulu b'Abeefurayimu: Azariya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesillemoti, Yekizukiya mutabani wa Sallumu ne Amasa mutabani wa Kadulayi ne basituka ne bawakanya abaali bava mu lutalo,
13
ne babagamba nti: “Abasibe temubaleeta wano kubanga twazzizza dda omusango ew'Omukama. Mwagala kwongera ku bibi byaffe na ku musango gwaffe ate nga guugwo munene, n'obusungu bw'Omukama obwesera bubwo buli ku Yisirayeli?”
14
Abasajja abatabaazi ne baleka mu maaso g'abakungu n'abantu bonna, abasibe na byonna bye baali baggyeyo.
15
Abasajja abatongozebwa linnya ku linnya ne basituka ne batwala abasibe. Ne bayambaza abaali obwereere n'ezimu ku ngoye okuva ku munyago. Ne babawa engoye, engatto, emmere, ebyokunywa n'omuzigo ogw'okwesiiga, ne bassa ku ndogoyi bonna abaali bayenjebuse, ne babatwala eri baganda baabwe e Yeriko, Ekibuga eky'Enkindu, bo ne baddayo mu Samariya.
16
Mu budde obwo kabaka Akazi n'atuma ewa kabaka wa Aramu ajje amuyambe.
17
Abeedomu baali bazzeemu okulumba Yuda ne batwala n'abasibe.
18
Ate Abafilisitiini nga bazinze ebibuga mu Sefela ne Negevu ebya Yuda. Baali bawambye Beti-Semesi, Ayijaloni, Gederoti, Soko n'ebyalo byakyo, Timuna n'ebyalo byakyo ne Gimuzo n'ebyalo byakyo, ne basenga omwo.
19
Omukama yali atoowazizza Yuda olw'okubeera Akazi kabaka wa Yisirayeli, kubanga yali aleetedde Yuda okusobya, ate nga si mwesigwa n'akamu eri Omukama.
20
Tilugati-Piluneseri kabaka wa Assuri n'ajja gy'ali, naye yabonyaabonya mubonyeebonye teyamuyamba.
21
Akazi n'atoola ebimu ku bintu mu Kiggwa ky'Omukama ne mu mbiri za kabaka, n'okuva mu bintu by'abalangira, n'abiwa kabaka wa Assuri; naye era tekirina kye kyamuyamba.
22
Ne bwe yali mu buyinike, yayongera bwongezi butaba mwesigwa eri Omukama.
23
Yatambirira balubaale b'e Damasiko abaali bamuwangudde, ng'agamba nti: “Balubaale ba bakabaka ba Aramu nga bwe babayambye, nange bwe nnaabatambirira bajja kunnyamba,” naye baaleetera buleetezi ye ne Yisirayeli yenna kuzikirira.
24
Akazi yaddira byonna ebikozesebwa mu Kiggwa kya Katonda n'abimenyaamenya, emiryango gy'Ekiggwa kya Katonda n'agisiba, n'azimba emyaliiro mu bunyomero bwonna mu Yeruzaalemu.
25
Mu buli kibuga mu Yuda yazimbamu ebifo ebigulumivu aw'okunyookereza balubaale ab'abalala obubaani, bw'atyo n'anyiiza Omukama Katonda wa bajjajjaabe.
26
Ebirala mu bifaayo bye, n'amakubo ge, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda ne Yisirayeli.
27
Akazi n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga Yeruzaalemu; kyokka tebaamuteeka mu biggya bya bakabaka ba Yisirayeli. Kezekiya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36