bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 11
2 Chronicles 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Rekobowamu bwe yajja e Yeruzaalemu n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda, n'ekika kya Benyamiini, abasajja abatabaazi abalondobe akasiriivu kamu mu emitwalo munaana, agende alwanyise ennyumba ya Yisirayeli, obwakabaka abukomyewo ewa Rekobowamu.
2
Naye ekigambo ky'Omukama ne kijjira Semaaya omuntu wa Katonda nti:
3
“Gamba Rekobowamu mutabani wa Solomoni kabaka wa Yuda, ne Yisirayeli yenna mu Yuda, Benyamiini, n'abantu abalala bonna nti:
4
‘Omukama bwati bw'agamba: Temugenda kulwanyisa baganda bammwe abantu ba Yisirayeli; buli musajja addeyo ewuwe, kubanga kino nze nkikoze.’ ” Baawulira ekigambo ky'Omukama ne baddayo, ne bava ku by'okulumba Yerobowamu.
5
Rekobowamu yabeeranga mu Yeruzaalemu; yazimba ebibuga okuli ebigo mu Yuda okwerinda.
6
Yazimba Beteleemu, Etamu, Tekowa,
7
Beti-Zuru, Soko, Adullamu
8
Gasi, Maresa, Zifu,
9
Adorayimu, Lakisi, Azeka,
10
Zora, Ayijaloni ne Keburoni. Bino byali bibuga okuli ebigo mu Yuda ne mu Benyamiini.
11
Yanyweza ebigo ebyo, n'abissaamu abagabe, n'abiwa n'amawanika g'emmere, omuzigo gw'oliva n'evviini.
12
Ne mu buli kibuga yassaamu engabo n'amafumu, n'abifuula by'amaanyi nnyo. Awo Yuda ne Benyamiini ne biba bibye.
13
Bakabona n'Abaleevi wonna mu Yisirayeli bajja gy'ali okuva mu bitundu gye baali ne bamwegattako.
14
Abaleevi baaleka n'amalundiro gaabwe n'obutaka bwabwe ne basengukira mu Yuda e Yeruzaalemu, kubanga Yerobowamu ne batabani be baabagaana okukola nga bakabona b'Omukama.
15
Ye ne yessizaawo bakabona ku lw'ebifo ebigulumivu ne ku lw'ebifaananyi by'embuzi n'obuyana bye yali akoze.
16
Bonna mu bika byonna ebya Yisirayeli abaali beemalizza ku kunoonya Omukama, Katonda wa Yisirayeli baabagoberera ne bajja mu Yeruzaalemu okuweereza ebitambiro Omukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17
Bano baayongera amaanyi mu bwakabaka bwa Yuda, ne banyweza Rekobowamu mutabani wa Solomoni okumala emyaka esatu, kubanga mu bbanga eryo baatambuliranga mu makubo ga Dawudi ne Solomoni.
18
Rekobowamu yawasa omukazi, Makalati muwala wa Yerimoti eyali mutabani wa Dawudi, ne Abiwayili muwala wa Eliyabu mutabani wa Yesse.
19
Makalati yamuzaalira batabani be: Yewusi, Semariya ne Zaamu.
20
Oluvannyuma lw'oyo yawasa Maaka muwala wa Abusalomu. Oyo yamuzaalira Abiya, Attayi, Ziza ne Selomiti.
21
Rekobowamu yaganza Maaka muwala wa Abusalomu okusinga bakazi be abalala bonna n'abasebeyi be. Yalina abakazi kkumi na munaana n'abasebeyi nkaaga. Yazaala abaana ab'obulenzi makumi abiri mu munaana, n'ab'obuwala nkaaga.
22
Rekobowamu yalonda Abiya mutabani wa Maaka abeere omukulu mu baganda be, nga gw'ayagala okusikiza obwakabaka.
23
Yasala amagezi batabani be n'abasaasaanya mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamiini mu bibuga okuli ebigo, n'abawa emmere nnyingi n'abawasiza abakazi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36