bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 16
2 Chronicles 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Mu mwaka ogw'asatu mu omukaaga ogw'obwakabaka bwa Asa, Baasa kabaka wa Yisirayeli yalumba Yuda, n'azimba ekigo ku Rama wabulewo afuluma okugenda oba ayingira ng'ava ewa Asa kabaka wa Yuda.
2
Asa n'addira ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza ewa Beni-Adadi kabaka wa Aramu eyafugiranga e Damasiko, n'agamba nti:
3
“Tukole endagaano wakati wange naawe, ng'eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo; kyenvudde nkuweereza ffeeza ne zaabu. Nkusaba omenyewo endagaano gy'olina ne Baasa kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
4
Beni-Adadi n'akkiriza ebya Asa, n'asindika abagabe b'eggye mu bibuga bya Yisirayeli, ne bakuba Yiyoni, Daani, Abeli-Mayimu, n'ebibuga by'amawanika eby'omu Nafutali.
5
Baasa bwe yawulira bino, n'alekera awo okuzimba Rama, omulimu n'aguvaako.
6
Kabaka Asa n'aleeta Yuda yenna ne baggya e Rama amayinja n'emiti Baasa bye yali azimbisa, n'abyeyamba okuzimba Geba ne Mizupa.
7
Mu budde obwo Kanani omulabi yajja ewa Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti: “Kubanga weesize kabaka wa Aramu n'oteesiga Mukama Katonda wo, kale nno eggye lya kabaka wa Aramu lisumattuse mu mukono gwo.
8
Eggye ly'Abakuusi n'Abalibiya teryali ddene, nga lirina mu bungi nnyo ebigaali n'abeebagazi? Naye bwe weesiga Omukama, yabakuwa mu mikono gyo.
9
Anti amaaso g'Omukama gayitaayita ku nsi yonna okugumya abo abamwemalizza. Kino ky'okoze kya busiru, era n'okuva kati onoobanga mu ntalo.”
10
Asa n'anyiigira omulabi olw'ebigambo ebyo, n'olw'obusungu obungi n'alagira okumussa mu nvuba. Ate mu budde obwo Asa yali anyigiriza n'obukambwe abamu mu bantu.
11
Ebyafaayo bya Asa, bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n'aba Yisirayeli.
12
Asa, mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogw'obwakabaka bwe yalwala ebigere. Newandibadde mu bulwadde bwe yalumizibwa nnyo, naye teyanoonya buyambi bwa Mukama, yasinga kwesiga magezi ga basawo.
13
Mu mwaka ogw'ana mu ogumu ogw'obwakabaka bwe, Asa n'afa, n'agalamira ne bajjajjaabe.
14
Baamuziika mu ntaana ye gye yali yeesimidde mu Kibuga kya Dawudi; ne bamuteeka ku kitanda ekijjudde eby'akaloosa n'ebika by'emizigo ebitabule, ne bamukumira ekkoomi ddene nnyo.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36