bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 5
2 Chronicles 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
1
Omulimu gwonna Solomoni gwe yali akola ku Kiggwa ky'Omukama bwe gwamalirizibwa, n'ayingiza ebintu bya kitaawe Dawudi: ffeeza, zaabu n'eby'okuwoomesa, n'abissa mu nkuluze y'Ekiggwa kya Katonda.
2
Awo Solomoni n'atumya abakadde bonna mu Yisirayeli bajje gy'ali mu Yeruzaalemu, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli eza bajjajjaabwe, baggye Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu Siyoni, kwe kugamba nti mu Kibuga kya Dawudi.
3
Abasajja bonna aba Yisirayeli ne bakuŋŋaanira awali kabaka Solomoni ku mbaga enkulu mu mwezi ogwomusanvu.
4
Abakadde mu Yisirayeli bonna nga bamaze okutuuka, bakabona ne basitula Ssanduuku.
5
Ne bambusa Ssanduuku y'Omukama ne Weema ey'Ensisinkano, na byonna eby'okukozesa ebitukuvu, ebyabeeranga mu Weema; byonna bakabona n'Abaleevi ne babyambusa.
6
Ye kabaka Solomoni n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli abaali bakuŋŋaanidde w'ali, baali naye mu maaso g'Essanduuku nga batambira endiga n'ente; tezaabalibwa kubanga zaayitirira obungi.
7
Bakabona ne bayingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu kifo kyayo mu Kisenge eky'Omunda eky'omu Kiggwa, Awatukuvu Ennyo, ne bagissa wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
8
Bakerubi baali bayanjululizza ebiwaawaatiro ku kifo ky'Essanduuku, nga babikka Ssanduuku n'emisituliro gyayo.
9
Emisituliro gyali miwanvu, nga gisobola okulabika ebweru okuva ku Ssanduuku, naye nga tegirabika ng'oyimye ebweru w'Ekifo Ekitukuvu. Gikyaliyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
10
Mu Ssanduuku temwalimu kirala wabula ebipande ebibiri eby'amayinja Musa bye yateeramu ku Korebu, Omukama gye yakolera endagaano n'Abayisirayeli bwe baali baakava mu nsi y'e Misiri.
11
Bakabona ne bafuluma Ekifo Ekitukuvu, Bakabona bonna abaalimu baali beetukuzizza, nga tebafudde na ku bibinja byabwe,
12
Abaleevi abayimbi bonna: Asafu, Emani ne Yedutuni, batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde engoye ez'obufumbo, bakutte ensaazo, entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omwaliiro, bakabona kikumi mu abiri nga bali nabo bafuuwa amakondeere.
13
Bonna wamu, ab'amakondeere n'abayimbi ne basaakaanyiza wamu, mu ddoboozi limu, okutendereza n'okwebaza Omukama. Nga bawerekerwako amakondeere, ensaazo na buli kivuga kyonna ne basitulira wamu amaloboozi okutendereza Omukama nga bayimba nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Ekire ne kijjula Ekiggwa ky'Omukama.
14
Bakabona nga tebakyasobola kuyimirira kuweereza olw'okubeera ekire, anti ekitiibwa ky'Omukama kyali kijjuzizza Ekiggwa ky'Omukama.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36