bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 36
2 Chronicles 36
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
1
Bannansi ne baddira Yowakazi mutabani wa Yosiya ne bamusiiga omuzigo, ne bamusikiza kitaawe ku bwakabaka.
2
Yowakazi yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu esatu; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu.
3
Kabaka wa Misiri yamuggya ku ntebe mu Yeruzaalemu, ensi n'agisalira engassi ya talenta za ffeeza kikumi, ne talenta emu eya zaabu.
4
Kabaka wa Misiri yafuula Eliyakimu, muganda wa Yowakazi, kabaka wa Yuda ne Yeruzaalemu, erinnya lye n'alikyusa n'amutuuma Yoyakimu. Yaddira Yowakazi muganda wa Eliyakimu n'amutwala mu Misiri.
5
Yoyakimu yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka kkumi na gumu mu Yeruzaalemu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda we.
6
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yamulumba n'amusiba n'enjegere z'ekikomo, n'amutwala e Babiloni.
7
Nebukadunezzari n'atwala n'ebimu ku bintu by'omu Kiggwa ky'Omukama n'abissa mu kiggwa kye mu Babiloni.
8
Ebirala mu bifaayo bya Yoyakimu, ebyenyinyalwa bye yakola, n'ebirala ebyamuzuulibwako byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli n'aba Yuda. Yoyakini mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
9
Yoyakini yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na munaana; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama.
10
Ku ntandikwa y'omwaka, kabaka Nebukadunezzari yamutumya n'amutwala e Babiloni, wamu n'ebintu eby'omuwendo kuva mu Kiggwa ky'Omukama. N'assaawo Zedekiya kitaawe omuto abeere kabaka wa Yuda ne Yeruzaalemu.
11
Zedekiya yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu gumu; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka kkumi na gumu.
12
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda we; teyeetoowaliza Yeremiya omulanzi eyayogeranga by'aggye mu kamwa ka Katonda.
13
Yajeemera ne kabaka Nebukadunezzari, eyali amulayizza mu Katonda. Yakakanyaza ensigo ye, n'agugubya omutima gwe, n'agaana okudda eri Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
14
Era n'abakulu bonna aba bakabona n'abantu baayongera bwongezi kumenya bwesigwa nga bagoberera empisa ezeenyinyalwa ez'amawanga, ne bajaajaamya Ekiggwa ky'Omukama kye yali yeetukulizza mu Yeruzaalemu.
15
Omukama Katonda wa bajjajjaabwe yabatumiranga buli olukedde ng'ayita mu babaka, kubanga yali akwatirwa ekisa abantu be n'ekisulo kye.
16
Naye bo ababaka ba Katonda baabaziimuula, ne banyooma ekigambo kye, ne bakinagga abalanzi be, okutuusa obusungu bw'Omukama lwe bwatumbukira ku bantu be, era tewaali kuwonyezebwa.
17
Omukama n'abaleetera kabaka w'Abakaludeya n'atta abavubuka baabwe n'ekitala mu Kiggwa kyabwe; teyasaasira muvubuka mulenzi na muwala, yadde omukulu newandibadde omukadde; bonna Katonda yabawaayo mu mikono gya Nebukadunezzari.
18
Byonna ebyeyambisibwa mu Kiggwa kya Katonda yabitwala e Babiloni, ebinene n'ebitono, n'eby'omuwendo eby'Ekiggwa, ebya kabaka n'eby'abakungu be.
19
Baateekera omuliro Ekiggwa kya Katonda, ne bamenya ne bbugwe wa Yeruzaalemu; baayokya embiri zonna, na buli kya muwendo kyonna ekyaliyo ne bakizikiriza.
20
Abaasumattuka ekitala Nebukadunezzari yabatwala e Babiloni ne bafuuka baweereza be na ba batabani be okutuusa kabaka wa Buperusi lwe yajja mu buyinza,
21
okutuukiriza Omukama kye yayogera mu kamwa ka Yeremiya nti: “Okutuusa ng'ensi ejagulizza mu Sabbaato zaayo, ejja kusigala ng'ewummudde ebbanga lyonna w'eneebeerera ng'eyabuliddwa, okutuusa ng'emyaka nsanvu giyiseewo.”
22
Mu mwaka ogusooka ogwa Kuuro kabaka wa Buperusi, okutuukiriza ekigambo ky'Omukama kye yali ayogedde ng'ayita mu Yeremiya, Omukama yasindika mu mutima gwa Kuuro kabaka wa Buperusi, n'ayisa ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, n'akiteeka mu buwandiike ng'agamba nti:
23
“Kino Kuuro kabaka wa Buperusi ky'agamba: ‘Omukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi; andagidde okumuzimbira ekiggwa mu Yeruzaalemu eky'omu Yuda. Buli yenna ow'omu ggwanga lye ali mu mmwe, Omukama Katonda we abeere naye; oyo ayambuke.’ ”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36