bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 25
2 Chronicles 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Amaziya yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yowaddini, ng'asibuka Yeruzaalemu.
2
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, naye si n'omutima ogwemalizza.
3
Obwakabaka bwe bwamala okunywera mu mikono gye, n'atta mu bakungu be abo abaali basse kabaka kitaawe;
4
kyokka batabani b'abatemu teyabatta, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama w'aweerera ekiragiro nti: “Bakitaabwe ba baana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.”
5
Amaziya yakuŋŋaanya abantu ba Yuda n'agenda ng'abassa wansi w'abagabe b'enkumi n'ab'ebikumi ng'agoberera ennyumba za bajjajjaabwe, mu Yuda yenna ne mu Benyamiini. Yakunga n'abalala bonna abaali bawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, n'asangamu abavubuka obusiriivu busatu abatuuse okutabaala abasobola okukwata effumu n'engabo.
6
Yapangisa abasajja abatabaazi akasiriivu kamu okuva mu Yisirayeli; n'abasasulira talenta eza ffeeza kikumi.
7
Naye omuntu wa Katonda n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Ayi kabaka, eggye erivudde mu Yisirayeli terigenda naawe, kubanga Omukama tali na Yisirayeli, tali n'omu mu bazzukulu ba Efurayimu.
8
Ne bw'onoolwana n'obuzira butya mu lutalo, Katonda ajja kukufeebya abalabe bakugobe, kubanga Katonda y'alina obuyinza okuwanguza oba okufeebya.”
9
Amaziya n'abuuza omuntu wa Katonda nti: “Talenta ekikumi ze nawadde eggye lya Yisirayeli zinaaba zitya?” Omuntu wa Katonda n'amwanukula nti: “Omukama ayinza n'okukuwa ezisinga ezo obungi.”
10
Amaziya n'asiibula eggye eryali limwegasseeko nga liva mu Efurayimu, n'abagamba badde ewaabwe. Obusungu bwabwe ne bweserera nnyo ku Yuda, ne baddayo ewaabwe ng'obusungu bubeesera.
11
Amaziya ne yeekemba, n'atwala eggye lye mu Kiwonvu eky'Omunnyo, eyo nattirayo abantu b'e Seyiri mutwalo mulamba.
12
Eggye ly'abantu ba Yuda ne liwamba abasajja abalala omutwalo gumu, ne babatwala ku ntikko y'olwazi olumu ne babasindika wansi, bonna ne basesegguka obulele.
13
Lyo eggye Amaziya lye yali asiibudde lireme kugenda naye mu lutalo, ne lizinda ebibuga bya Yuda okuva ku Samariya okutuuka e Beti-Koroni, ne litta abantu enkumi ssatu, ne litwala n'omunyago munene.
14
Amaziya bwe yadda ng'ava okusanjaga Abeedomu, n'aleeta balubaale ba bantu b'e Seyiri; yabafuula balubaale be, n'abavunnamiranga, n'abanyookezanga n'obubaani.
15
Olw'ekyo obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Amaziya, n'amutumira omulanzi eyamugamba nti: “Lwaki onoonya balubaale b'abantu bano abataasobola kuwonya ggwanga lyabwe mu mikono gyo?”
16
Aba akyayogera ebyo, Amaziya n'amwanukula nti: “Twakufuula mubuulirizi wa kabaka? Sirika! Onoonya kufa?” Omulanzi n'asirika, oluvannyuma n'agamba nti: “Mmanyi nti Katonda ateesezza okukutta, kubanga okoze ekyo n'otowuliriza kye nkubuulirira.”
17
Awo Amaziya ng'amaze okwebuuza ku bawi b'amagezi, n'atuma ewa Yowasi mutabani wa Yowakazi, mutabani wa Yewu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu tugasimbagane.”
18
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti: “Ettovu ly'oku Lebanoni lyatuma eri entolookyo y'oku Lebanoni ne ligamba nti: ‘Muwala wo muwe mutabani wange abeere mukazi we.’ Ne wabaawo ekisolo eky'ettale ekyayitawo ne kirinnyirira ettovu.
19
Muli ogamba: ‘Laba mpangudde Edomu!’ omutima gwo kwe kwetumbula ne weekuza. Weesigalire mu nnyumba yo. Lwaki weewakulira emitawaana, ogwe ne Yuda naye agwe?”
20
Naye Amaziya teyawuliriza, kubanga Omukama yali akitegese bw'atyo, abaweeyo mu mikono gy'abalabe, kubanga baali banoonya balubaale ba Edomu.
21
Kabaka wa Yisirayeli n'akola olulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Beti-Semesi ekya Yuda.
22
Yuda n'afufuggazibwa Yisirayeli, ne badduka buli omu n'adda mu weema ye.
23
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowasi, mutabani wa Akaziya, e Beti-Semesi, n'amuleeta mu Yeruzaalemu. N'amenya bbugwe wa Yeruzaalemu okuva ku Mulyango Efurayimu okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, obuwanvu bwa mikono ebikumi bina.
24
N'atwala zaabu yenna ne ffeeza n'ebintu byonna ebyasangibwa mu Kiggwa ky'Omukama ebyali bikuumibwa Obedi-Edomu, wamu n'ebyali mu nkuluze ya kabaka n'abawambe, n'addayo mu Samariya.
25
Yowasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Yisirayeli bwe yamala okufa, Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda yawangaalayo emyaka kkumi n'etaano.
26
Ebirala mu bifaayo bya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda ne Yisirayeli.
27
Amaziya ng'avudde ku Mukama, mu Yeruzaalemu baamukolera olukwe, ye n'addukira e Lakisi; naye baasindika abasajja ne bamuwondera ne bamuttira eyo.
28
Yakomezebwawo ku mbalaasi, n'aziikibwa mu Yeruzaalemu wamu ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36