bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 12
2 Chronicles 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
1
Obwakabaka bwa Rekobowamu bwe bwamala okunywera, ng'afunye amaanyi, n'aleka etteeka ly'Omukama, ne Yisirayeli yenna n'agoberera.
2
Mu mwaka ogwokutaano ogw'obwakabaka bwa Rekobowamu, Sisaki kabaka w'e Misiri yalumba Yeruzaalemu, kubanga tebaali beesigwa eri Omukama.
3
Yalumba n'ebigaali lukumi mu bibiri, abeebagazi emitwalo mukaaga, n'abatabaazi butabalika okuva mu Balibiya, Abasukki n'Abakuusi.
4
Yawamba ebibuga okuli ebigo ebigumu mu Yuda, n'ajja okutuukira ddala e Yeruzaalemu.
5
Semaaya omulanzi n'ajja eri Rekobowamu n'abakungu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yeruzaalemu nga badduse Sisaki, n'abagamba nti: “Omukama agamba bino: ‘Mmwe mwanjabulira, nange mbalese mu mikono gya Sisaki.’ ”
6
Abakungu mu Yisirayeli ne kabaka ne beetoowaza, ne bagamba nti: “Omukama mutuukirivu.”
7
Omukama bwe yalaba beetoowazizza ekigambo ky'Omukama ne kijjira Semaaya nti: “Kubanga beetoowazizza, sijja kubasaanyaawo, nzija kubawa mangu obuwonero, obusungu bwange tebujja kumalirwa ku Yeruzaalemu nga buyita mu mukono gwa Sisaki.
8
Kyokka bajja kumuweereza, bamanye enjawulo eri mu kuweereza nze ne mu kuweereza bakabaka b'ensi endala.”
9
Sisaki kabaka wa Misiri bwe yalumba Yeruzaalemu, n'atwala amakula g'Ekiggwa ky'Omukama n'amakula ga kabaka, na byonna omwali n'engabo eza zaabu Solomoni ze yali akoze.
10
Mu kifo kyazo kabaka Rekobowamu n'akola engabo ez'ekikomo, n'azikwasa abaduumira abakuumi abaakuumanga mu maaso g'olubiri lwa kabaka.
11
Kabaka bwe yabanga agenda mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi bajjanga ne baambalira engabo; oluvannyuma baazizzangayo mu buzigo bw'abakuumi.
12
Naye kubanga yeetoowaza, obusungu bwa Katonda ne bulekeraawo okumuwondera n'ataasanyizibwawo ddala; kituufu mu Yuda mwalimu ebirungi.
13
Rekobowamu yagundiira mu Yeruzaalemu, n'ayongera okufuga. Rekobowamu yafuuka kabaka nga wa myaka ana mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yeruzaalemu, ekibuga Omukama kye yalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli gy'aba ateeka erinnya lye. Nnyina yali ayitibwa Naama, nga Mwammoni.
14
Yakola ekibi kubanga omutima gwe teyagussa ku kunoonya Mukama.
15
Ebirala mu bifaayo bya Rekobowamu, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Semaaya Omulanzi ne Yiddo Omulabi nga bwe kiri mu kitabo ky'endyo. Entalo tezaatanga wakati wa Rekobowamu ne Yerobowamu bulijjo.
16
Rekobowamu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Abiya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36