bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 30
2 Chronicles 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
1
Kezekiya yatuma ababaka mu Yisirayeli yenna ne Yuda n'awandiikira Efurayimu ne Manasse ebbaluwa ng'abayita bajje mu nnyumba y'Omukama mu Yeruzaalemu bakuze Embaga ya Pasika olw'Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
2
Kabaka n'abakungu n'ekibiina kyonna ekiri mu Yeruzaalemu ne basalawo okukuza Pasika mu mwezi ogwokubiri.
3
Anti baali tebasobodde kugikuza mu budde bwayo, kubanga bakabona abandyetagiddwa baali tebanneetukuza, n'abantu nga tebanneekuŋŋaanya mu Yeruzaalemu.
4
Entereeza eyo n'esembebwa kabaka n'ekibiina kyonna.
5
Ne bateesa okulangirira wonna mu Yisirayeli yenna okuva e Beriseba okutuuka ku Daani, nga bayita abantu bajje mu Yeruzaalemu bakulize Omukama Katonda wa Yisirayeli, Pasika; baali tebagikuzangako nga bangi nga bwe kyawandiikibwa.
6
Abatumwa ne bagenda mu Yisirayeli yenna ne Yuda nga kabaka bwe yali abalagidde, ne batwala ebbaluwa kabaka n'abakungu be ze baali bawandiise nga zigamba nti: “Abantu ba Yisirayeli, mukomeewo eri Katonda wa Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, naye akomewo gye muli mmwe abaasigalawo, abaasumattuka omukono gwa bakabaka ba Assuri.
7
Muleke kufuuka nga bajjajjammwe ne baganda bammwe, abataali beesigwa eri Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abafuula matongo nga nammwe bwe mulaba.
8
Kale nno muleke kukakanyaza nsingo zammwe nga bakitammwe bwe baakola, wabula mugondere Omukama. Mujje eri Ekiggwa kye, kye yatukuza emirembe gyonna; muweereze Omukama Katonda wammwe, obusungu bwe obwesera bulyoke bubaveeko.
9
Mmwe bwe munaaba mukomyewo eri Omukama, baganda bammwe n'abaana bammwe bajja kugirirwa ekisa abaabawamba, bakomewo mu nsi eno, kubanga Omukama Katonda wammwe musaasizi era wa kisa; tajja kulekayo kubatunuulira, bwe munaaba nga mukyukidde gy'ali.”
10
Abatwala ebbaluwa ne bagenda kibuga ku kibuga mu nsi ya Efurayimu ne Manasse okutuuka ku Zebuluni, naye abantu ne babanyooma n'okubasekerera.
11
Kyokka abantu abamu mu Aseeri, Manasse ne Zebuluni beetoowaza ne bajja e Yeruzaalemu.
12
Ne mu Yuda omukono gw'Omukama gwali ku bantu, ne gubawa okussa ekimu bonna ne bakola nga kabaka n'abakungu bwe baali balagidde nga bagoberera ekigambo ky'Omukama.
13
Abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yeruzaalemu, okukuza Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse mu mwezi ogwokubiri; ekibiina kyali kinene nnyo.
14
Baasiguukulula emyaliiro egyali mu Yeruzaalemu, ne bamenyawo emyaliiro gy'obubaani, ne bagisuula mu Kiwonvu Kiduroni.
15
Batta akaliga ka Pasika ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwokubiri; bakabona n'Abaleevi bakwatibwa olufansonyi ne beetukuza, ne baleeta mu nnyumba y'Omukama ebitone by'ebitambiro ebyokye.
16
Baagenda mu bifo byabwe ebya bulijjo ng'etteeka lya Musa omuntu wa Katonda bwe ligamba ku bo, bakabona ne bamansira omusaayi Abaleevi gwe baabakwasanga.
17
Kubanga bangi mu kibiina baali tebeetukuzza, Abaleevi kyebaava batta obuliga bwa Pasika batambirire Omukama olw'abo abataali balongoofu basobole okugikuliza Omukama.
18
Ekitundu ekinene eky'abantu abaava mu Efurayimu, Manasse, Yissakari ne Zebuluni baali tebaneetukuza, naye baalya Embaga ya Pasika, newandibadde nga kino kikontana n'etteeka. Kyokka Kezekiya yabasabira, ng'agamba nti: “Omukama omulungi asaasire
19
buli muntu atadde omutima gwe ku kunoonya Omukama Katonda wa bajjajjaabe, newandibadde nga teyakola ng'amateeka g'Ekiggwa ku bulongoofu bwe gagamba.”
20
Omukama yawuliriza Kezekiya n'awonya abantu.
21
Abayisirayeli abaasangibwa mu Yeruzaalemu baakuza Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajaguza mu ssanyu lingi. Bo Abaleevi ne Bakabona buli lunaku baatenderezanga Omukama ku bivuga by'Omukama eby'okutendereza.
22
Kezekiya n'agumya Abaleevi bonna abaali bategeera obulungi okuweereza Omukama. Nga bamazeeko ennaku omusanvu ez'okujaguza, nga baweereza ebitambiro eby'okussa ekimu, n'okutendereza Omukama Katonda wa bajjajjaabwe,
23
ekibiina kyonna kyateesa bamale ennaku endala musanvu nga bakuza. Bwe batyo ne bongerayo okujaguza mu ssanyu okumala ennaku endala musanvu.
24
Kezekiya kabaka wa Yuda yawa ekibiina ente ennume lukumi, n'endiga n'embuzi kasanvu; ate abakungu baabawa ente ennume lukumi n'endiga n'embuzi mutwalo mulamba. Bakabona bangi ne beetukuza.
25
Ekibiina kyonna ekya Yuda kyajaguza, wamu ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna abaali bazze okuva mu Yisirayeli, n'abagwira abaali bavudde mu Yisirayeli n'abo abasenze mu Yuda.
26
Essanyu ne liba lingi mu Yeruzaalemu, kubanga ekyenkana awo kyali tekibangawo mu Yeruzaalemu okuva mu biseera bya Solomoni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
27
Bakabona Abaleevi ne basituka ne bawa abantu omukisa; eddoboozi lyabwe ne liwulirwa, esaala yaabwe n'etuuka mu kisulo kye ekitukuvu mu ggulu.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36