bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 29
2 Chronicles 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
1
Kezekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Abiya, muwala wa Zakariya.
2
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yali akoze.
3
Mu mwezi ogusooka ogw'omwaka ogusooka ogw'obwakabaka bwe yaggulawo enzigi z'Ekiggwa ky'Omukama, n'aziddaabiriza.
4
N'akomyawo bakabona n'Abaleevi, n'abakuŋŋaanyiza mu luggya olw'ebuvanjuba,
5
n'abagamba nti: “Abaleevi, mumpulirize. Kati mwetukuze, mutukuze n'Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa bajjajjammwe. Mu kitukuvu muggyemu buli kyonna ekikijaajamya.
6
Bakitaffe tebaali beesigwa, baakola ebitasanyusa mu maaso g'Omukama Katonda waffe; baamwabulira, ne baggya amaaso ku Kisulo ky'Omukama, ne bakikuba amabega.
7
Baagattako n'okuggala emiryango egy'omu Kisasi, ne bazikiza ettawaaza. Tebanyookeza bubaani yadde okuweeereza ebitambiro ebyokye mu kitukuvu kya Katonda wa Yisirayeli.
8
Obusungu bw'Omukama kyebwava busitukira ku Yuda ne ku Yeruzaalemu n'abafuula ekyesisiwaza, ekyentiisa era ekinyoomebwa, nga nammwe mwennyini bwe mulaba n'amaaso gammwe.
9
Olw'ekyo bakitaffe kyebaava bafa ebitala, abaana baffe abalenzi n'abawala ne bakazi baffe ne batwalibwa mu busibe.
10
Kale nno nze njagala nkole endagaano n'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, obusungu bwe obwesera bukyukire eri butuveeko. 1
11
Baana bange, muleke kugayaala; kubanga Omukama yabalonda mmwe mumuyimirirenga mu maaso, mumuweerezenga, mumutendenga, mumunyookezenga obubaani.”
12
Abaleevi ne basitukiramu: Okuva mu ssiga lya Kewati: Makati mutabani wa Amasayi ne Yoweli mutabani wa Azariya; okuva mu ssiga lya Merari: Kisi mutabani wa Abudi ne Azariya mutabani wa Yalleleli; okuva mu ssiga lya Gerusoni: Yowa mutabani wa Zimma ne Edeni mutabani wa Yowa;
13
okuva mu bazzukulu ba Elizafani: Simuri, ne Yeyeli; okuva mu bazzukulu ba Asafu: Zakariya ne Mattaniya;
14
okuva mu bazzukulu ba Emani: Yekiyeli ne Simeyi; okuva mu bazzukulu ba Yedutuni: Semaaya ne Wuzziyeli.
15
Baakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza, ne bayingira ne baddaabiriza Ekiggwa kya Katonda, nga kabaka bwe yabalagira n'ekiragiro ky'Omukama nga bwe kiri.
16
Ne bakabona ne bayingira munda mu Kiggwa ky'Omukama bakitukuze; byonna ebitali birongoofu bye baazuula mu Kiggwa ky'Omukama baabiggyamu ne babitwala mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduroni.
17
Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogusooka baatandika okutukuza; ku lunaku olwomunaana olw'omwezi ogwo ne batuuka ku Kisasi ky'Ekiggwa ky'Omukama. Baamala ennaku endala munaana nga batukuza Ekiggwa ky'Omukama. Ne bamaliriza byonna ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogusooka.
18
Ne bagenda ewa kabaka Kezekiya ne bamugamba nti: “Tulongoosezza Ekiggwa ky'Omukama kyonna, n'omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye n'ebyakwo byonna, n'emmeeza ey'Emigaati egy'Okwolesebwa, na byonna ebigenderako.
19
Tutukuzizza ne tutereeza eby'omu Kiggwa kabaka Akazi bwe yali ng'afuga bye yaggyamu mu bwonoonefu bwe. Byonna biri kati mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama.”
20
Enkeera ku makya kabaka Kezekiya yakuŋŋaanya abakungu b'ekibuga, n'ayambuka ku nnyumba y'Omukama.
21
Ne baleeta ente ennume musanvu, endiga ennume musanvu, obuliga obulume musanvu, n'embuzi ennume musanvu ez'ekitambiro olw'ekibi olw'okubeera obwakabaka, olw'Ekiggwa n'olwa Yuda. Kabaka n'alagira bakabona, batabani ba Aroni, babiweereze ku mwaliiro gw'Omukama.
22
Ente ennume ne bazitta, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku mwaliiro. Endiga ennume nazo ne bazitta, omusaayi gwazo ne bagumansira ku mwaliiro; n'obuliga obulume nabwo ne babutta, omusaayi gwabwo ne bagumansira ku mwaliiro.
23
Ne baleeta mu maaso ga kabaka embuzi ez'ekitambiro olw'ekibi ekibiina kyonna ne kizissaako emikono.
24
Bakabona ne bazitta, omusaayi gwazo ne bagussa ku mwaliiro ng'ekitambiro olw'ekibi okuddaabiriza olwa Yisirayeli yenna, kubanga kabaka yali alagidde ekitambiro ekyokye n'ekitambiro olw'ekibi biweerezebwe olwa Yisirayeli yenna.
25
Yassa Abaleevi mu nnyumba y'Omukama nga balina ensaazo, ennanga n'entongooli nga Dawudi bwe yalagira ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Natani omulanzi; kino Omukama yali akiragidde ng'ayita mu balanzi be.
26
Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi ne bakabona nga bakutte amakondeere.
27
Kezekiya n'alagira baweereze ku mwaliiro ekitambiro ekyokye. Okutambira bwe kwatandika kuti, n'okuyimbira Omukama ne kutandika, wamu n'okunyaanyaagiza amakondeere nga biwerekerwako ebivuga bya Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
28
Ekibiina kyonna ne kisinza, eno abayimbi nga bwe bayimba, n'ab'amakondeere nga bwe bagafuuwa, okutuusa okuweereza ekitambiro ekyokye lwe kwamalirizibwa.
29
Okutambira bwe kwaggwa, kabaka na bonna abaali naye ne bavunnama, ne basinza.
30
Kabaka Kezekiya n'abakungu be ne balagira Abaleevi batendereze Omukama mu luyimba lwa Dawudi ne Asafu omulabi; ne batendereza n'essanyu lingi, ne bavunnama ne basinza.
31
Kezekiya n'ayongera n'agamba nti: “Mumaze okwewongera Omukama, musembere muweereze mu Kiggwa ky'Omukama ebitambiro n'ebitone olw'okwebaza.” Ekibiina kyonna ne kireeta ebitambiro n'ebitone olw'okwebaza, ate abeeyagalidde ne baleeta ebitone eby'ebitambiro ebyokye.
32
Omuwendo gw'ebitone olw'ebitambiro ebyokye ekibiina bye kyaleeta gwali: Ente ennume nsanvu, endiga ennume kikumi, n'obuliga obulume ebikumi bibiri; ebyo byonna nga bye bitone olw'ebitambiro ebyokye eby'Omukama.
33
Ebitone ebyawongerwa Omukama byali ente lukaaga n'endiga n'embuzi enkumi ssatu.
34
Bakabona baali batono, nga tebamala kubaaga bitone bya kitambiro ekyokye; baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayambako okutuusa omulimu lwe gwaggwa, n'okutuusa nga bakabona abalala bamaze okwetukuza, anti bo Abaleevi baali beesimbu ku ky'okwetukuza okusinga bakabona.
35
Ebitone eby'ebitambiro ebyokye byali bingi, era n'amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu n'ebitone eby'okuyiwa ebigendera ku byokye. Bw'etyo entendereza y'omu nnyumba y'Omukama n'eddamu buto.
36
Kezekiya n'abantu bonna ne basanyuka olw'Omukama bye yali akoledde abantu be, kubanga byakolwa mangu.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36