bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 15
2 Chronicles 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Mwoyo wa Katonda yajja ku Azariya mutabani wa Odedi,
2
n'agenda okusisinkana Asa, n'amugamba nti: “Mumpulirize, ggwe Asa ne Yisirayeli yenna ko ne Benyamiini. Omukama ali nammwe bwe mubeera naye. Bwe munaamunoonya, ajja kubawa mumuzuule, naye bwe munaamwabulira naye ajja kubaabulira.
3
Ennaku zaayita nnyingi nga mu Yisirayeli temuli Katonda omutuufu, nga temuli kabona ayigiriza, nga temuli tteeka.
4
Mu buyinike bwabwe baakyukira eri Omukama, Katonda wa Yisirayeli, ne bamunoonya, ne bamuzuula.
5
Mu budde obwo nga kizibu omuntu okubaako ky'akola awatali kutya, kubanga abantu bonna mu nsi baali batabanguse nnyo.
6
Eggwanga nga likontana n'eggwanga linnaalyo, ekibuga n'ekibuga kinnaakyo, kubanga Omukama yali abatabulatabula n'obuyinike obwa buli ngeri.
7
Mmwe nno mwenyweze, emikono gyammwe gireme kubalagaya; kye mukola kigenda kusasulibwa.”
8
Asa bwe yawulira obubaka bwa Azariya omulanzi mutabani wa Odedi, n'aguma. Yaggya ebifaananyi bya balubaale ebyenyinyalwa mu Yuda mwonna ne mu Benyamiini, ne mu bibuga by'omu nsozi za Efurayimu bye yali akutte, n'addaabiriza omwaliiro gw'Omukama ogwali mu maaso g'ekisasi ky'Omukama.
9
N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamiini, n'abasenze abaali bavudde mu Efurayimu, Manasse ne Simewoni, anti bangi baali baddukidde gy'ali nga bavudde mu Yisirayeli nga balabye Omukama Katonda we ali naye.
10
Baakuŋŋaanira mu Yeruzaalemu mu mwezi ogwokusatu ogw'omwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obwakabaka bwa Asa.
11
Ku olwo ne batambirira Omukama ente lusanvu n'endiga kasanvu ku by'omunyago bye baali baleese.
12
Ne bakola endagaano okunoonya Omukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna.
13
Ataali wa kunoonya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, abeere mutene oba mukulu, abeere musajja oba mukazi, yali wa kuttibwa.
14
Ne balayira ew'Omukama mu maloboozi amaamufu n'emizira wamu n'amakondeere n'eŋŋombe.
15
Bonna abaali mu Yuda ne basanyukira endagaano kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna. Ne banoonya Omukama nga baagalira ddala, naye n'abawa ne bamuzuula. N'Omukama n'abawa obuweerero ku njuyi zonna.
16
Kabaka Asa n'aggya nnyina Maaka ku bwannamasole, kubanga yali akoze ekyenyinyalwa eky'empagi ya Asera. Asa yasigulawo ekyenyinyalwa ky'empagi n'agyokera mu Kiwonvu Kiduroni.
17
Ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, naye kwo okuba omutima gwa Asa gwemaliza Omukama ennaku ze zonna.
18
Yaleeta mu Kiggwa ky'Omukama ffeeza, zaabu n'ebintu ebikozesebwa ye ne kitaawe bye baali bawonzeeyo.
19
Tewaaliwo lutalo lulala okutuusa ku mwaka ogw'amakumi asatu mu etaano ogw'obwakabaka bwa Asa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36