bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 32
2 Chronicles 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Oluvannyuma byonna, Kezekiya bye yali akoze n'omutima gwe gwonna, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba Yuda, n'azingiza ebibuga okuli ebigo ng'ayagala abiwambe abyezze.
2
Kezekiya yalaba Sennakeribu azze, olutalo ng'alwolekezza Yeruzaalemu,
3
n'ateesa n'abakungu ko n'abagabe b'eggye bazibe ensulo zonna ez'enzizi ezaali ebweru w'ekibuga; n'abantu bonna ne bamuyamba.
4
Abantu ne bakuŋŋaana bangi, ne baziba enzizi zonna n'omugga oguyita mu kitundu ekyo. Baali bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Assuri bandisanze amazzi amangi gati?”
5
Kezekiya yakola na maanyi okuzzaawo bbugwe we yali ayiise, n'amuzimbako eminaala waggulu. Yazimba ne bbugwe omulala ebweru w'oli, n'ayongera okugumya Millo w'Ekibuga kya Dawudi. Yaweesa obusaale n'engabo bingi.
6
N'alonda abagabe ab'okuduumira eggye, n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu luggya lw'omulyango gw'ekibuga, n'abagumya ng'agamba nti:
7
“Mube bagumu, bazira. Muleke kutya, yadde okutekemuka olwa kabaka wa Assuri, n'eggye lye eddene, kubanga ffe tuli ba maanyi okumusinga.
8
Ky'alina mukono gwa mubiri bubiri, naye ffe gwe tulina ye Mukama Katonda waffe, okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Kezekiya kabaka wa Yuda.
9
Oluvannyumako kabaka Sennakeribu owa Assuri n'eggye lye lyonna, bwe baali bakyazinze Lakisi, n'atuma abaweereza be e Yeruzaalemu batwalire Kezekiya kabaka wa Yuda n'abantu bonna aba Yuda obubaka buno nti:
10
“Kino Sennakeribu kabaka wa Assuri ky'agamba: ‘Mwesiga ki mmwe okusigala mu Yeruzaalemu nga kizindiddwa?
11
Ebyo Kezekiya by'abagamba nti: “Omukama Katonda waffe ajja kutuwonya mu mikono gya kabaka wa Assuri,” aba abalimba, ayagala kubassa njala na nnyonta.
12
Si y'oyo yennyini Kezekiya eyaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'emyaliiro gye, n'alagira Yuda ne Yeruzaalemu nti: “Musinzizanga ku mwaliiro gumu, okwo kwokka kwe mwokeranga ebitambiro”?
13
Mmwe mutamanyi nze ne bakitange kye tukoze abantu bonna mu mawanga amalala? Balubaale b'amawanga ago baasobola okuwonya ensi zaabwe mu mikono gyange?
14
Ani mu balubaale bonna ab'amawanga bakitange ge baazikiriza eyasobola okuggya abantu be mu mikono gyange, kwe muba musinziira okugamba nti Katonda wammwe anaasobola okubaggya mu mikono gyange?
15
Kezekiya aleme nno kubalimbira bwereere na kubawubisa bw'atyo. Temukkiriza, kubanga tewali lubaale n'omu ow'ensi oba obwakabaka eyali asobodde okuwonya abantu be mu mikono gya bakitange ne mu mikono gyange, leero alabisa ono Katonda wammwe! Y'anasobola okubawonya mu mukono gwange?’ ”
16
Abaweereza ba Sennakeribu baayogera n'ebirala bingi ebivuma Omukama Katonda n'ebivuma Kezekiya omuweereza we.
17
Sennakeribu yawandiika n'ebbaluwa ezivuma Omukama, Katonda wa Yisirayeli, n'okumwogerera nti: “Nga balubaale b'amawanga amalala bwe bataasobola kuwonya bantu baabwe mu mikono gyange, ne Katonda wa Kezekiya bw'atyo bw'ataasobole kubanzigya mu mikono.”
18
Ne baleekaanira waggulu mu Luyudaaya eri abatuuze b'omu Yeruzaalemu abaali batudde ku kigo, babatiise, babatabule, balyoke bakwate ekibuga.
19
Ne bayogera ku Katonda wa Yeruzaalemu nga bwe bandyogeredde ku balubaale b'amawanga g'ensi abaakolebwa emikono obukono egy'abantu.
20
Kezekiya kabaka ne Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi ne balaajana eri eggulu olw'ebyo.
21
Omukama n'atuma malayika, n'azikiriza buli musajja omutabaazi, abakulembeze n'abagabe mu lusiisira lwa kabaka wa Assuri. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Bwe yayingira mu kiggwa kya lubaale we, abamu ku batabani be ne bamutta n'ekitala.
22
Bw'atyo Omukama n'awonya Kezekiya n'ab'omu Yeruzaalemu okuva mu mikono gya Sennakeribu kabaka wa Assuri ne mu mikono gy'abalala bonna; Omukama n'abawa obuweerero ku njuyi zonna.
23
Bangi ne baleetanga ebirabo mu Yeruzaalemu ew'Omukama n'ebintu eby'omuwendo ewa Kezekiya kabaka wa Yuda. Okuva olwo amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa.
24
Mu nnaku ezo Kezekiya yalwala n'ajula okufa, ne yeegayirira Omukama; yamuwulira n'amuwa akabonero.
25
Naye omutima gwe gwekuza, Kezekiya n'atamuddiza kwenkanankana na birungi bye yali afunye. N'olw'ekyo obusungu bw'Omukama ne bumujjira, ne bujja ne ku Yuda ne Yeruzaalemu.
26
Oluvannyuma yejjusa olw'omutima gwe okwewanika, n'abantu ab'omu Yeruzaalemu ne beetoowaza. Olw'okubeera ekyo, obusungu bw'Omukama tebwabagwira mu budde bwa Kezekiya.
27
Kezekiya yali mugagga nga wa kitiibwa nnyo; yeezimbira amawanika olw'eby'obugagga bwe: ffeeza, zaabu, amayinja ag'omuwendo, eby'akaloosa, engabo, na buli ngeri ya bintu bya muwendo.
28
Yazimba amaterekero olw'envujjo ku ŋŋano, evviini ensu, n'omuzigo; yakola n'ebiraalo by'ente n'engo omukuumirwa amagana.
29
Yazimba n'ebyalo, n'ayongera ku bisibo n'amagana butabala, kubanga Omukama yali amuwadde eby'obugagga bingi nnyo.
30
Kezekiya ye yaziba engulu akagga Gikoni gye kafubutukira, amazzi n'agayisa mu mukutu n'agalaza ebugwanjuba bw'Ekibuga kya Dawudi. Byonna bye yakola byamulamira.
31
Kyokka abafuzi b'e Babiloni bwe baamutumira ababaka okumubuuza ku ky'ekyewuunyo ekyali kibaddewo mu nsi, Katonda n'asooka amuleka, amugeze, amanye byonna ebyamuli mu mutima.
32
Ebirala mu bifaayo bya Kezekiya ne bye yakola, omukwano gwe eri Omukama byawandiikibwa mu kitabo ky'Okulabikirwa kwa Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, ne mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda ne Yisirayeli.
33
Kezekiya n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika awo ku kasozi akambuka ku biggya by'abazzukulu ba Dawudi; Yuda yenna n'abantu b'omu Yeruzaalemu bonna baamukungubagira. Manasse mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36