bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 1
Acts 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
1
Ayi Tewofilo, mu kitabo ekyasooka nayogera ku byonna Yezu bye yatandika okukola n'okuyigiriza,
2
okutuusa ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu, Abatume be yalonda ng'amaze okubawa ebiragiro bye mu Mwoyo Mutuukirivu.
3
Abo, ng'amaze okubonaabona, yabeeyoleka mu ngeri nnyingi okubakakasa nga bw'ali omulamu; yabalabikiranga mu nnaku amakumi ana, n'ayogeranga nabo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda.
4
Bwe baali balya, n'abakuutira obutava mu Yeruzaalemu, wabula balindirire Taata kye yasuubiza, kye yayogerako nti: “Mwawulira mu kamwa kange, nti
5
ye Yowanna yabatizanga na mazzi, naye mmwe oluvannyuma lw'ennaku ezitali nnyingi mujja kubatizibwa mu Mwoyo Mutuukirivu.”
6
Bwe baali bakuŋŋaanye, kwe kumubuuza nti: “Mukama, kazzi mu bbanga eryo mw'oliddizaawo obwakabaka bwa Yisirayeli?”
7
Ye n'abaddamu nti: “Si kyammwe okumanya ebbanga n'akadde Taata bye yassaawo n'obuyinza bwe.
8
Kyokka mulifuna amaanyi Mwoyo Mutuukirivu bw'alibajjako; ate mulibeera bajulirwa bange mu Yeruzaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samariya, n'okutuusa ensi gy'ekoma.”
9
Awo, bwe yasirissa ebyo, bonna nga balaba, n'atwalibwa waggulu, ekire ne kimubaggya mu maaso.
10
Bwe baali bakyatunuulidde waggulu nga bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru ne bayimirira kumpi nabo,
11
ne babagamba nti: “Abasajja Abagalilaaya, ekibayimirizza wano nga mutunuulidde waggulu kiki? Yezu ono abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, bw'alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
12
Awo ne baddayo e Yeruzaalemu nga bava ku lusozi oluyitibwa olwa Oliva, oluli okumpi n'e Yeruzaalemu, olugendo nga lwa Sabbaato.
13
Bwe baayingira, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu mwe baabeeranga: Petero ne Yowanna ne Yakobo, ne Andureya, Filippo ne Tomasi, Barutolomaawo ne Matayo, Yakobo owa Alufayo ne Simoni Omutakabanyi, ne Yuda mutabani wa Yakobo.
14
Abo bonna n'omutima gumu ne bessa mu kwegayirira, awamu n'abakazi ne Mariya nnyina Yezu ne baganda be.
15
Mu nnaku ezo, Petero n'ayimirira wakati mu booluganda (ekibiina ky'abantu baali bawera nga kikumi mu abiri) n'abagamba nti:
16
“Basajja baganda bange, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yalanga ng'ayita mu Dawudi, ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yezu, kyali kiteekwa okutuukirira.
17
Yali amaze okubalirwa mu ffe, ng'agabanye n'ekitundu ku mulimu guno.
18
Naye ye yagula ennimiro mu mpeera ye ey'obwonoonefu, ne yesulinka ku ttaka, n'ayabikamu wakati, ebyenda bye ne biyiika byonna.
19
Ekyo ab'omu Yeruzaalemu bonna ne bakimanya, n'ennimiro eyo, mu lulimi lwabwe kwe kuyitibwa Akeridama, kwe kugamba nti ‘Ennimiro y'Omusaayi’.
20
Anti kyawandiikibwa mu Kitabo kya Zabbuli nti: “ ‘Ekisulo kye kifuuke matongo, wabulewo akisulamu;’ era nti: “ ‘n'omulimu gwe omulala agutwale.’
21
“Kale nno, mu basajja bano, abaabeeranga naffe ebbanga lyonna Omukama Yezu mw'abeeredde mu ffe ng'ajja ng'agenda,
22
okuva ku batismu ya Yowanna okutuusa ku lunaku lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu, omu ku bano ateekwa okuba omujulirwa wamu naffe ow'okuzuukira kwe.”
23
Ne bassaawo babiri: Yozefu, eyali amanyiddwa nga Barusabba era nga bamukazizzaako erya Yusito, ne Matiya.
24
Ne beegayirira, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe amanyi emitima gya bantu bonna, ku abo bombi laga omu gw'olonze,
25
atwale ekifo ky'omulimu n'obutume Yuda kye yaleka amale agende mu kifo kye.”
26
Ne babakubako akalulu; akalulu ne kagwa ku Matiya, n'abalirwa mu Batume ekkumi n'omu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28