bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 15
Acts 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
1
Naye ne wajjawo abamu abakkirira nga bava mu Buyudaaya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutatayirirwa ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.”
2
Oluvannyuma lw'okusitukawo obutakkaanya n'empaka, bano bombi, Pawulo ne Barunaba n'abamu ku balala ne batumibwa bambuke e Yeruzaalemu eri Abatume n'abakadde ku kigambo kino.
3
Ekleziya n'ebasiibula, ne basalira mu Fenisiya ne Samariya, nga bwe battottola ng'ab'amawanga bwe bakyuse, ne basanyusa nnyo abooluganda.
4
Bwe baatuuka e Yeruzaalemu, Ekleziya n'abatume n'abakadde ne babaaniriza; ne bano ne babanyumiza byonna Katonda bye yali akoze wamu nabo.
5
Naye abamu ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo abaali bakkiriza, ne basituka, ne bagamba nti: “Nabo bateekwa okutayirirwa n'okukuutirwa okukwata amateeka ga Musa.”
6
Awo Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwekkaanya ekigambo ekyo.
7
Oluvannyuma lw'okukubaganya ennyo ebirowoozo, Petero n'ayimuka, n'abagamba nti: “Abasajja abooluganda, mumanyi nga mu nnaku ezaayita, Katonda yalonda mu mmwe, ab'amawanga bawulire ekigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa kange, bakikkirize.
8
Katonda amanyi emitima yawa okujulirwa ku bo, n'abawa ne Mwoyo Mutuukirivu nga naffe bwe yatukola.
9
Teyalaga njawulo wakati waffe nabo, wabula yatukuza emyoyo gyabwe n'okukkiriza.
10
Kale nno lwaki kati mukema Katonda nga musiba abayigirizwa ekikoligo mu bulago bajjajjaffe kye bataasobola naffe ffennyini kye tutayinza kwetikka?
11
Olw'eneema ya Yezu tukkiriza nga tulirokoka nga nabo bwe balirokoka.”
12
Olukiiko lwonna ne lusiriikirira; ne bawuliriza Barunaba ne Pawulo nga bateetula obubonero n'ebyewuunyo Katonda bye yabakoza mu b'amawanga.
13
Bwe baasirissa ebyo, Yakobo n'addamu, n'agamba nti: “Basajja abooluganda, mumpulire.
14
Simewoni anyumizza nga Katonda bwe yasooka okukyalira ab'amawanga alondemu abantu olw'erinnya lye.
15
Ebigambo by'abalanzi bituukana bulungi na kino nga bwe byawandiikibwa nti:
16
“ ‘Oluvannyuma ndikomawo ne nzimba buggya weema ya Dawudi eyagwa; ndiddaabiriza ebifulukwa byayo, ndigizzaawo.
17
Abantu abalala balyoke banoonye Omukama, n'amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange, Omukama y'agamba akola bino,
18
okuva ddi na ddi ategeeza bino.’
19
Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya b'amawanga abo abazze eri Katonda,
20
wabula tubawandiikire, tubagambe beewale okwejaajaamya n'ebiwongere balubaale, n'eby'obukaba, n'ensolo entuge ko n'omusaayi.
21
Anti okutandika n'amazadde ag'edda, mu buli kibuga, Musa abadde n'abamuyigiriza; anti ku buli Sabbaato mu buli sinaagooga bamusoma.”
22
Abatume n'abakadde n'Ekleziya yenna ne basiima okulonda mu bo abasajja, babatume mu Antiyokiya, bagende ne Pawulo ne Barunaba. Ne batuma Yuda ayitibwa Barusabba ne Sila, abasajja abakulu mu booluganda,
23
ne babakwasa ebbaluwa eno, nti: “Abooluganda, Abatume n'abakadde, eri abooluganda Abaamawanga abali mu Antiyokiya, ne mu Siriya ne mu Silisiya, tubalamusa.
24
Twawulira ng'abamu mu ffe babeeraliikirizza olw'ebigambo bye baayogera, ne batabangula emitima gyammwe, sso nga tetubalagiranga.
25
Bwe tukuŋŋaanye, ne tulaba nga kirungi okulonda abasajja tubabasindikire wamu ne bannaffe abaagalwa Barunaba ne Pawulo,
26
abasajja abaawaayo obulamu bwabwe okubeera erinnya lya Mukama waffe Yezu Kristu.
27
Kyetuvudde era tubatumira Yuda ne Sila, abanaababuulira ebintu ebyo mu kamwa.
28
Kubanga Mwoyo Mutuukirivu wamu naffe tusiimye obutabatikka mugugu mulala wabula bino ebitalekeka:
29
Mwewale bye bawongedde balubaale, n'omusaayi, n'ensolo entuge, era n'obukaba. Ebyo bwe munaabyewala, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
30
Bo olwabasiibula, ne bakkirira mu Antiyokiya; bwe baamala okukuŋŋaanya ekibiina, ne bakikwasa ebbaluwa.
31
Abantu bwe baagisoma, ne basanyukira obubaka obubagumya.
32
Yuda ne Sila, kubanga nabo baali balanzi, ne bagumya n'okuzzaamu amaanyi abooluganda n'ebigambo bingi.
33
Nga bamazeeyo akabanga, abooluganda ne babasiibula mirembe, ne badda eri abaabatuma.
35
Pawulo ne Barunaba n'abalala bangi ne basigala mu Antiyokiya nga babayigiriza era nga basomesa ekigambo ky'Omukama.
36
Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Gira tuddeyo, tulambule ku booluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo ky'Omukama, tulabe nga bwe bali.”
37
Barunaba n'ayagala okutwala Yowanna ayitibwa Mariko.
38
Pawulo n'akalambira ku ky'obutagenda n'oyo eyabaawukanako nga bali e Pamfiliya n'atagenda kukola nabo.
39
Ne wasitukawo obutakkaanya, ekyabaviirako okwawukana; Barunaba n'akwata Mariko n'awunguka n'agenda mu Kupuro.
40
Naye Pawulo n'alonda Sila, n'asitula n'abooluganda nga bamukwasizza eneema ya Katonda.
41
N'ayitaayita mu Siriya ne mu Silisiya ng'anyweza Ekleziya.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28