bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 18
Acts 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Oluvannyuma, n'ava e Atena n'alaga e Korinti.
2
Eyo gye yasanga Omuyudaaya omu, erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, nga ky'ajje ave mu Yitale ne mukazi we Prisilla, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Roma. N'agenda abalabe.
3
Kubanga baali ba mulimu gumu, anti baali balusi ba weema, n'abeeranga nabo nga bakola.
4
N'akaayananga mu sinaagooga buli Sabbaato, n'akkirizisa Abayudaaya n'Abagereeki.
5
Sila ne Timotewo bwe baatuuka nga bava mu Masedoniya, Pawulo ne yeemalira ku kuyigiriza, ng'akakasa eri Abayudaaya nti Yezu ye Kristu.
6
Naye bwe baamuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula ebyambalo bye, n'abagamba nti: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze siriiko musango; n'okuva kati nzija kulaga mu b'amawanga.”
7
N'avaayo n'alaga mu nnyumba y'omusajja ayitibwa Titiyo Yusito, omusajja eyali asinza Katonda; ennyumba ye yali eriranaganye ne sinaagooga.
8
Kurisipo omukulu wa sinaagooga n'akkiriza Omukama, wamu n'ab'omu maka ge bonna. Era ab'omu Korinti bangi bwe baawulira, ne bakkiriza, ne babatizibwa.
9
Omukama n'agamba Pawulo olumu ng'amulabikidde ekiro nti: “Totya, yogera, tosirika;
10
kubanga ndi naawe, ate tewali n'omu ajja kukulumba kukukolera bubi; kubanga nnina abantu bangi mu kibuga kino.”
11
Eyo Pawulo n'amalayo omwaka gumu n'emyezi mukaaga ng'ayigiriza mu bo ekigambo kya Katonda.
12
Galliyo bwe yali nga ye wessaza e Akayiya, Abayudaaya ne balumbira wamu Pawulo, ne bamukuba mu mbuga,
13
ne bagamba nti: “Omusajja ono afukuutirira abantu basinzenga mu ngeri emenya amateeka.”
14
Pawulo yali agenda okwasamya akamwa ati, Galliyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa ensonga eyo ebadde ku kweyisa obubi oba ku buzzi bwa misango, nandibawulirizza, mmwe Abayudaaya;
15
naye oba empaka zammwe ziri ku bigambo na mannya na ku mateeka gammwe, mmwe muba mulaba. Sandyagadde kubeera mulamuzi mu nsonga zino.”
16
N'abagoba mu mbuga.
17
Naye bonna ne bakwata Sostene omukulu wa sinaagooga, ne bamukubira mu maaso g'embuga. Ye Galliyo teyabyefiirako.
18
Naye ye Pawulo n'ayongera okusigalayo ennaku nnyingi, n'alyoka asiibula abooluganda, n'asaabala n'agenda mu Siriya wamu ne Prisilla ne Akwila. E Cenkureya n'amwako enviiri ze olw'obweyamo bwe yali akubye.
19
Ne batuuka mu Efezi, n'abaleka awo, ye n'ayingira mu sinaagooga, n'awakana n'Abayudaaya.
20
Ne bamwegayirira ayongere okusigala nabo, naye ye n'ataganya;
21
n'asiibula ng'agamba nti: “Katonda ng'ayagadde ndikomawo gye muli.” N'asaabala okuva mu Efezi.
22
N'aserengeta e Kayisariya, n'ayambuka, n'alamusa Ekleziya, n'akkirira mu Antiyokiya.
23
Eyo ng'amazeeyo akabanga, n'asitula, n'agenda ng'ayitaayita mu nsi y'e Galasiya ne Firugiya ng'anyweza abayigirizwa bonna.
24
Awo Omuyudaaya omu erinnya lye Apollo, omuzaaliranwa w'omu Alekisanduriya, n'ajja mu Efezi. Yali mwogezi mulungi, era nga mukugu mu Biwandiiko ebitukuvu.
25
Yali ayigiriziddwako ekkubo ly'Omukama; yali abugujja mu mwoyo, ng'ayigiriza mu butuufu ebifa ku Yezu, sso yali amanyi batismu ya Yowanna yokka.
26
Awo n'asooka okwogera mu sinaagooga n'obuvumu; Prisilla ne Akwila bwe baamuwulira, ne bamutwala ewaabwe, ne bongera okumunnyonnyola mu ngeri esingawo obutuufu ekkubo ly'Omukama.
27
Ate bwe yali ayagala okuwunguka alage mu Akayiya, abooluganda ne bamuwagira, ne bawandiikira abayigirizwa bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'agasa nnyo abo abaali bakkirizza olw'eneema,
28
kubanga mu lujjudde yawakananga n'amaanyi n'asinga Abayudaaya nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu okukasa nga Yezu ye Kristu.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28