bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 19
Acts 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
1
Apollo yali akyali mu Korinti, Pawulo n'ayita mu masaza ag'engulu, n'atuuka mu Efezi, eyo n'asangayo abayigirizwa abamu.
2
N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza, mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamugamba nti: “Tetuwuliranganako nti oba waliyo ne Mwoyo Mutuukirivu.”
3
N'abagamba nti: “Kale mwabatizibwa mu ki?” Ne bamugamba nti: “Mu batismu ya Yowanna.”
4
Pawulo n'agamba nti: “Yowanna yabatizanga na batismu ya kubonerera, ng'agamba abantu okukkiriza oyo eyali ow'okumuddirira, kwe kugamba nti Yezu.”
5
Bwe baamala okuwulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya ly'Omukama Yezu.
6
Pawulo bwe yabassaako emikono, Mwoyo Mutuukirivu n'abajjamu, ne boogera ennimi, ne balanga n'okulanga.
7
Bonna wamu baali bawera abasajja nga kkumi na babiri.
8
Awo n'ayingira mu sinaagooga, n'ayigiririzaayo emyezi esatu n'obuvumu, ng'awakana ate ng'afuba okukkirizisa obwakabaka bwa Katonda.
9
Naye kubanga abamu baali bakakanyavu, ate nga n'okukkiriza tebakkiriza, era nga bavuma Ekkubo mu maaso g'ekibiina, ye kwe kubavaako; n'agenda n'abayigirizwa, n'awakaniranga buli lunaku mu kigango kya Turanno.
10
Kino yakikolera emyaka ebiri; bonna abaali mu Aziya, Abayudaaya n'Abagereeki, ne bawulira bwe batyo ekigambo kya Katonda.
11
Katonda n'akola ebyewuunyo ebyenjawulo n'omukono gwa Pawulo:
12
Obutambaala n'ebiremba byaggyibwanga ku mubiri gwe ne bitwalibwa ku balwadde, endwadde ne zibata n'emyoyo emibi ne gibamaamukako.
13
Abamu mu Bayudaaya abagobi b'emyoyo emibi abaagendanga bayitaayita, ne beetumiikiriza okwatula erinnya ly'Omukama Yezu ku abo abaaliko emyoyo emibi nga bagamba nti: “Mbalagira ku lwa Yezu Pawulo gw'ayigiriza.”
14
Batabani ba Sikeva musanvu, omukulu wa bakabona, baakolanga batyo.
15
Naye olumu omwoyo omubi ne gubagamba nti: “Yezu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe mwe baani?”
16
Awo omuntu eyalimu omwoyo omubi n'ababuukira, n'abanyweza bonna n'abamala amaanyi, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, ate nga baliko n'ebiwundu.
17
Kino ne kimanyibwa bonna abaali mu Efezi, Abayudaaya n'Abagereeki; bonna ne bakwatibwa entiisa, erinnya ly'Omukama ne ligulumizibwa.
18
Bangi mu abo abaali bakkirizza ne bajja, ne baatula, ne boogera bye baakolanga.
19
Bangi mu bo abaakolanga eby'obulaguzi ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokera awo mu maaso ga bonna. Bwe baabalirira omuwendo gwabyo nga gukunukkiriza eyo mu bitundu bya ffeeza emitwalo etaano.
20
Ekigambo kya Katonda ne kigenda nga kyeyongera n'amaanyi okubuna n'okunywera.
21
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa mu Mwoyo Mutuukirivu okuyita mu Masedoniya, ne Akayiya agende e Yeruzaalemu, ng'agamba nti: “Bwe ndimala okubeera eyo, nteekwa okulaba Roma.”
22
N'atuma babiri ku bayambi be, Timotewo ne Erasto, mu Masedoniya, ye n'agira ng'asigala mu Aziya akabanga.
23
Mu bbanga eryo, ne wabaawo akeegugungo kanene nga bakaayana ku Kkubo.
24
Kubanga omusajja ayitibwa Demeturiyo, omuweesi wa ffeeza, eyakolanga obusabo bwa ffeeza obwa Aritemi, abafundi yali abafunidde omulimu munene.
25
Bano yabakuŋŋaanya wamu n'abalala abaakolanga omulimu ogw'engeri eyo, n'abagamba nti: “Bassebo, mumanyi nga mu mulimu guno mwe muva amagoba gaffe.
26
Sso mulaba, n'okuwulira muwulira nga Pawulo ono afukuutirira n'akyusa abantu nkumu, si mu Efezi mwokka, naye ne mu Aziya yonna, ng'agamba nti balubaale abakolebwa n'engalo si balubaale.
27
Awo nno si mulimu gwaffe gwokka gwe gunaafeeba, naye n'ekiggwa kya Aritemi kyennyini kijja kuggwaamu ensa, naye yennyini ajja kufiirwa ekitiibwa kye, sso nga Aziya yonna n'ensi yonna gwe bisinza.”
28
Bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne bayoogaana nga bagamba nti: “Aritemi ow'ab'omu Efezi mukulu!”
29
Ekibuga kyonna ne kijjula akajagalalo, abantu ne bafubutukira wamu nga balaga mu luggya lw'emizannyo, nga bawalaawala Gayiyo ne Aristariko, Abamasedoni, banne ba Pawulo abaamuwerekeranga.
30
Pawulo n'ayagala okugenda mu kibiina, naye abayigirizwa ne batamuganya.
31
Abamu ku bakungu ab'omu ttwale lya Aziya abaali mikwano gye ne bamutumira nga bamwegayirira aleme kwetantala luggya lwa mizannyo.
32
Ne bayoogaana, abamu kino, abalala kiri, kubanga ekibiina kyali kitabanguse, ate abasinga obungi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyisizza.
33
Abamu mu kibiina ne bawa Alekisanduro amagezi, anti Abayudaaya baali bamusindikirizza mu maaso. Alekisanduro n'abawenyaako n'omukono, ng'ayagala okubayitira mu nsonga.
34
Naye kyazira kumanya nga Muyudaaya, bonna ne bayoogaanira waggulu okumala ng'essaawa bbiri nti: “Aritemi ow'ab'omu Efezi mukulu!”
35
Omuwandiisi w'ekibuga bwe yamala okukkakkanya ekibiina, n'agamba nti: “Basajja ab'omu Efezi, muntu ki atamanyi ng'ekibuga ky'ab'omu Efezi kye kikuuma ekiggwa kya Aritemi n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu ne kigwa?
36
Awo nno obanga ebyo tebiwakanyizika, nammwe nno mukkakkane muleme kumala gagwira bigambo.
37
Kubanga muleese abasajja bano wano abatajaajaamizza kiggwa kya Aritemi, lubaale wammwe, wadde okumuvuma.
38
Obanga Demeturiyo n'abafundi abali naye baliko gwe bavunaana ekigambo, embuga gyeziri, n'abalamuzi nabo gyebali; bawozaŋŋanyize eyo.
39
Naye obanga muvunaana kirala, kijja kumalirwa mu lukiiko olutongole.
40
Kubanga naffe tuli mu kacwano, bayinza okutuvunaana olw'akajagalalo olwa leero, kubanga tewali nsonga gye tusobola kuwa olw'olukuŋŋaana luno.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'ayabula olukuŋŋaana.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28