bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 26
Acts 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
1
Agrippa n'agamba Pawulo nti: “Okkirizibwa okweyogerera.” Awo Pawulo n'agolola omukono n'awa empoza ye nti:
2
“Kabaka Agrippa, neesiimye okuba nga ŋŋenda kuwoleza mu maaso go olwa leero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana,
3
kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya zonna n'empaka zaabwe; kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
4
“Engeri gye nayisangamu okuva mu buvubuka olubereberye mu ggwanga lyange ne mu Yeruzaalemu emanyiddwa Abayudaaya bonna.
5
Singa baagala, bandinjulidde, bamanyidde ddala nti okuva edda mbadde neeyisa ng'Omufarisaayo, nga ngoberera ekibiina ekisinga obukakali mu ddiini yaffe.
6
Kaakano nnyimiridde wano okuwoza olw'okubeera okusuubira mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe;
7
ebyo ebika byaffe ekkumi n'ebibiri bye bisuubira okufuna, kyebiva binyiikira okwegayirira ekiro n'emisana. Olw'okusuubira okwo, ayi Kabaka, Abayudaaya kwe basinzidde okumpawaabira.
8
Lwaki muzibuwalirwa okukkiriza nti Katonda azuukiza abafu?
9
“Wamma ggwe nange nasooka kulowooza nga nteekwa okukola ebingi okuwakanya erinnya lya Yezu ow'e Nazareti.
10
Ekyo nakikola e Yeruzaalemu, ne nzisa bangi abatuukirivu mu kkomera n'obuyinza okuva eri bakabona abakulu. Ate bwe baabanga battibwa, nange nga nkisemba.
11
Nababonerezanga mu sinaagooga zonna emirundi mingi, ne mbawaliriza okuvuma Katonda, ate bwe neeyongera okubakwatirwa obusungu, ne mbayigganya ne mu bibuga eby'ebweru.
12
“Bwe ntyo ne ŋŋenda e Damasiko nga nnina obuyinza n'olukusa okuva eri bakabona abakulu.
13
Mu ttuntu, ayi Kabaka, mu kkubo ne ndaba ekitangaala ekiva mu ggulu nga kyakaayakana n'okusinga enjuba, ne kyaka okunneetooloola n'abaali nange.
14
Ffenna ne tugwa ku ttaka; ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu Lwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Ozibuwalirwa okusamba ekikato?’
15
Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani, Mukama?’ Omukama n'addamu nti: ‘Nze Yezu gw'oyigganya.
16
Kale golokoka, oyimirire ku bigere byo, kubanga nkulabikidde lwa nsonga eno, nkufuule omubaka n'omujulirwa w'ebyo by'olabye n'ebyo bye nnaakulaga.
17
Nzija kukutaasa ku b'eggwanga lyo ne ku b'amawanga gye nkutuma,
18
ozibule amaaso gaabwe, balyoke bave mu kizikiza badde mu kitangaala; bave mu buyinza bwa Sitaani badde mu bwa Katonda, bafune ekisonyiwo ky'ebibi byabwe n'omugabo wamu n'abo abatukuzibwa olw'okunzikiriza.’
19
“Awo nno, ayi Kabaka Agrippa, saatenguwa kulabikirwa okwava mu ggulu.
20
Nasooka kuyigiriza ba mu Damasiko, ne nzizaako ab'omu Yeruzaalemu, ne mu Buyudaaya wonna, ne mu b'amawanga, babonerere, badde eri Katonda nga bakola ebikolwa ebigya mu kubonerera kwabwe.
21
Olw'ensonga eyo Abayudaaya kyebaava bankwatira mu Kiggwa, ne baagala okunzita.
22
Naye Katonda yambeera n'okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe ntyo nkyayigiriza bonna, omuto n'omukulu, nga sibabuulira kirala wabula ebyo abalanzi ne Musa bye baagamba nti birituukirira:
23
nti Kristu yali wa kubonaabona, ate olw'okubeera omubereberye mu kuzuukira mu bafu, alirangirira ekitangaala eri abantu n'eri ab'amawanga.”
24
Yali akyawoza, Festo n'ayogera mu ddoboozi ekkangufu nti: “Pawulo, olaluse. Okuyiga ebingi kukusudde eddalu.”
25
Naye Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, sinnalaluka. Bye njogera ge mazima era bigambo bya magezi.
26
Kabaka bino abimanyi; mbimubuulira nga sitya; nkakasa nga mu ebyo tewali ky'amukisibwa, kino tekyakolebwa mu nkiso.
27
Kabaka Agrippa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'okkiriza.”
28
Agrippa n'agamba Pawulo nti: “Mu kabanga akatono ompooyawooya onfuule Omukristu!”
29
Pawulo n'addamu nti: “Oba akabanga katono, oba kanene, si nsonga; kino kye nsaba Katonda nti: si ggwe wekka, naye n'abo bonna abampuliriza olwa leero, bafuuke nga nze bwe ndi, mpozzi okuggyako enjegere zino.”
30
Awo kabaka n'ayimuka, n'owessaza ne Berunike, era n'abalala bonna abaali batudde nabo.
31
Bwe badda ebbali, ne bagambagana nti: “Omusajja oyo tewali ky'akola kimugwanyiza kufa oba kusibibwa.”
32
Agrippa n'agamba Festo nti: “Omusajja ono yanditeereddwa taba kubeera nga yajulira ewa Kayisari.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28