bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 13
Acts 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
1
Mu Ekleziya y'omu Antiyokiya mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simewoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kureni, Maneeni munnabbeere wa Erode omufuzi atwala ekitundu, ne Sawulo.
2
Bwe baali nga basinza Omukama nga bwe basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo olw'omulimu gwe mbalondedde.”
3
Bwe baamala okusiiba n'okwegayirira, ne babassaako emikono ne babasiibula.
4
Mwoyo Mutuukirivu bwe yamala okubatuma, ne bagenda e Selewukiya; ate bwe baava eyo, ne basaabala ne balaga e Kupuro.
5
Bwe baagoba e Salami, ne babuulira ekigambo kya Katonda mu sinaagooga z'Abayudaaya. Baalina ne Yowanna ng'ababayambako.
6
Bwe baamala okulambula ekizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne basanga omusajja omulaguzi, omulanzi w'obulimba Omuyudaaya, erinnya lye nga ye Bariyezu.
7
Yali wamu n'owessaza Serugiyo Pawulo, omusajja omugezi, eyatumya Barunaba ne Sawulo nga yeegomba okuwulira ekigambo kya Katonda.
8
Naye Elima omulaguzi, anti ge makulu g'erinnya eryo, n'abawakanya ng'ayagala okuwugula owessaza ku kukkiriza.
9
Naye Sawulo, era ayitibwa Pawulo, n'ajjula Mwoyo Mutuukirivu, n'amwekaliriza,
10
n'amugamba nti: “Ggwe kali bukuusa, kalimbira, omwana wa Sitaani, omulabe wa buli butuukirivu, ajjudde obukuusa n'obugwenyufu, onootuusa wa okugootaanya amakubo ga Mukama gonna amagolokofu?
11
Kale nno laba, kati Omukama akutaddeko omukono gwe; ojja kubeera muzibe okumala akabanga nga tolaba njuba.” Amangu ago ekifu n'ekizikiza ne bimugwira, n'awammanta ng'anoonya abanaamukwata ku mukono.
12
Owessaza bwe yalaba ekyali kikoleddwa, n'awuniikirira olw'enjigiriza y'Omukama, n'akkiriza.
13
Pawulo n'abaali naye ne basaabala okuva e Pafo, ne bagoba e Peruga mu Pamfiliya. Yowanna n'abaawukanako, n'addayo e Yeruzaalemu.
14
Bo ne bayita mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'omu Pisidiya. Ku lwa Sabbaato ne bayingira mu sinaagooga, ne batuula.
15
Etteeka n'Abalanzi bwe byamala okusomebwa, abakulu b'omu sinaagooga ne babatumira nga bagamba nti: “Basajja abooluganda, obanga mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”
16
Pawulo n'asituka n'abawenyaako n'omukono, n'abagamba nti: “Mmwe abasajja Abayisirayeli, mmwe abatya Katonda, muwulire;
17
Katonda w'abantu bano Yisirayeli, yalonda bajjajjaffe, abantu baffe n'abafuula ba kitalo nga bakyali mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogw'amaanyi.
18
Yabalabirira mu ddungu ebbanga nga lya myaka amakumi ana.
19
Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu mu nsi y'e Kanaani, n'abagabira ensi yaabwe ng'obusika ebbanga nga lya myaka ebikumi bina mu ataano.
20
Oluvannyuma lw'ekyo, n'assaawo abalamuzi okutuusa ku Samweli omulanzi.
21
Ate oluvannyuma ne basaba kabaka, Katonda n'abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, omusajja ow'omu kika kya Benyamiini okumala emyaka amakumi ana.
22
Oyo bwe yamuggyawo, n'abawa Dawudi abeere kabaka waabwe; oyo gwe yayogerako n'agamba nti: ‘Nzudde Dawudi mutabani wa Yesse, omusajja omutima gwange gwe gusiimye, alikola byonna bye njagala.’
23
Mu zzadde ly'oyo Katonda mwe yaggyira Yisirayeli Omulokozi, Yezu, nga bwe yali asuubizza.
24
Oyo nga tannajja, Yowanna yali ayigirizza abantu bonna aba Yisirayeli batismu ey'okubonerera.
25
Yowanna bwe yali ng'anaatera okumaliriza ekisanja kye, n'agamba nti: ‘Nze mundowooza kubeera ani? Si ye nze, wabula waliwo omulala anvaako emabega gwe sisaanira na kusumulula ngatto za bigere bye.’
26
“Basajja abooluganda, mmwe abaana b'olulyo lwa Yiburayimu, n'abalala mu mmwe abatya Katonda, ekigambo ky'okulokoka kuno ffe kyatumirwa.
27
Abaali mu Yeruzaalemu n'abakulu baabwe olw'obutamanya Yezu, n'obutategeera bigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato, bino baabituukiriza nga bamusalira omusango.
28
Nandibadde tebaamusangamu nsonga emussisa, era baasaba Pilato attibwe.
29
Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikibwako, ne bamuwanula ku muti, ne bamussa mu ntaana.
30
Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu;
31
n'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abaali bambuse naye e Yeruzaalemu okuva mu Galilaaya, kati abamujulira mu bantu.
32
Kale nno tubabuulira amawulire ag'essanyu nti ekyali kisuubiziddwa bajjajjaffe,
33
kino akituukirizza eri abaana baabwe ng'azuukiza Yezu mu bafu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: “ ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’
34
“Ate okuba nti ddala yamuzuukiza mu bafu era nga takyaddayo mu kuvunda, kyeyava agamba nti: “ ‘Nzija kubawa ebitukuvu era eby'amazima bye nasuubiza Dawudi.’
35
Era kyava agamba awalala nti: “ ‘N'omutuukirivu wo tolimuleka kuvunda.’
36
Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza ezzadde ly'omu budde bwe nga Katonda bw'ayagala, n'aziikibwa kumpi ne bajjajjaabe, n'avunda.
37
Sso oyo Katonda gwe yazuukiza mu bafu teyavunda.
38
Awo nno, basajja abooluganda, mutegeere ng'okusonyiyibwa kw'ebibi mu oyo mwe kubabuulirwa;
39
mu ye buli akkiriza asumululwa mu byonna bye mwali mutasobola kusumululwamu tteeka lya Musa.
40
Awo nno mwekuume muleme kujjirwa ekyo ekyalangwa mu balanzi nti:
41
“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi, mwewuunye, musaanewo, kubanga nkola ekikolwa mu budde bwammwe, ekikolwa kye mutalikkiriza nga wabaddewo akibabuulira.’ ”
42
Bwe baafuluma, abantu ne babeegayirira ebigambo ebyo bibabuulirwe ne ku Sabbaato eddirira.
43
Sinaagooga bwe yayabuka, Abayudaaya bangi n'ab'amawanga abasomi abasoma ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba; nabo ne boogera nabo, ne babakuutira banywerere mu neema ya Katonda.
44
Ku Sabbaato eyaddirira kyenkana ekibuga kyonna ne kikuŋŋaana okuwulira ekigambo kya Katonda.
45
Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina by'abantu, ne bakwatibwa obuggya, ne bawakanya Pawulo bye yali ayogera, ne bamuvuma.
46
Pawulo ne Barunaba ne boogera nga bavumu nti: “Ekigambo kya Katonda mmwe kyali kiteekwa okusooka okubuulirwa, naye kubanga mukyesammudde, ne mwesalirawo mwennyini nga temusaanidde bulamu obutaggwaawo, kale naffe ka tudde eri ab'amawanga.
47
Anti Omukama bwe yatulagira bw'atyo nti: “ ‘Nkutaddewo obeere ekitangaala ky'ab'amawanga, obeere obulokofu okutuusa ensi gy'ekoma.’ ”
48
Ab'amawanga bwe baakiwulira, ne basanyuka, ne bagulumiza ekigambo kya Katonda; bonna abaali baawuliddwa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bakkiriza.
49
Bwe kityo ekigambo ky'Omukama ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.
50
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abasomi ate ab'ekitiibwa, n'abakulu b'ekibuga, ne bawakulira Pawulo ne Barunaba ekiyigganyizo, ne babagoba mu kitundu ekyo.
51
Bo ne babakunkumulira enfuufu y'omu bigere byabwe, ne balaga e Yikoniyo.
52
Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutuukirivu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28