bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 10
Acts 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
1
Waaliwo omusajja omu mu Kayisariya, erinnya lye Koruneliyo, senturiyo w'ekibinja ekyayitibwanga Ekiyitale,
2
nga muntu musomi, ng'atya Katonda, ye n'ennyumba ye yonna, nga yeegayirira butasalako, era ng'agabira nnyo abaavu.
3
Olumu n'alabikirwa ddala bulungi emisana nga ku ssaawa eyoomwenda, n'alaba malayika wa Katonda ng'ayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Koruneliyo.”
4
N'amwekaliriza ng'atidde, n'addamu nti: “Mukama, ate kiki?” Malayika n'amugamba nti: “Essaala zo ne by'ogabira abaavu byambuse mu maaso ga Katonda ng'ekitone eky'ekijjukizo.
5
Kale nno kati tuma abasajja mu Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero,
6
asula wa Simoni omuwazi w'amaliba, ennyumba ye eri kumpi n'ennyanja.”
7
Malayika w'Omukama eyayogera naye bwe yamala okugenda, n'ayita babiri ku b'omu nnyumba ye ko n'omuserikale omusomi omu ku abo be yali atwala.
8
Bwe yamala okubanyumiza byonna, n'abatuma mu Yoppa.
9
Olunaku olwaddirira, bwe baali bakyali mu kkubo, nga basemberera ekibuga, Petero n'alinnya waggulu ku nnyumba okwegayirira nga ku ssaawa mukaaga.
10
Enjala bwe yamuluma, n'ayagala okubaako k'alya. Baba bakyategeka, n'abulawo mu mwoyo;
11
n'alaba eggulu nga libikkuse, n'ekintu ekijja kikka nga kifaanana ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya.
12
Mwalimu ebisolo ebya buli kika, n'ebyewalula ku ttaka, n'ebinyonyi eby'omu bbanga.
13
Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Petero, situka; tta, olye.”
14
Petero n'addamu nti: “Nedda, Mukama; kubanga nze siryanga ku bibi oba ebitali birongoofu.”
15
Eddoboozi ne limuddira ogwokubiri nti: “Katonda kye yatukuza ggwe leka kukiyita kibi.”
16
Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu; amangu ago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu.
17
Petero yali akyasobeddwa nga yeebuuza ky'alabye kye kitegeeza, abasajja Koruneliyo be yali atumye ne batuuka ku luggi oluvannyuma lw'okubuuza ewa Simoni.
18
Ne bayita okubuuza obanga Simoni ayitibwa Petero omwo mwe yali asula.
19
Petero aba akyalowoolereza ku by'alabye, Mwoyo n'amugamba nti: “Laba, abasajja basatu bakunoonya;
20
situka okkirire, ogende nabo awatali kulonzalonza, kubanga nze mbatumye.”
21
Petero n'akkirira abasajja gye baali, n'abagamba nti: “Nze wuuyo gwe munoonya; nsonga ki ebaleese?”
22
Bo ne bagamba nti: “Koruneliyo, senturiyo, omusajja omutuukirivu era atya Katonda, ate ng'ayogerwako bulungi eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamubagulizaako okukuyita ogende ewuwe awulire by'ogamba.”
23
N'abayingiza, n'abasuza. Ku lunaku olwaddako, n'asitula n'agenda nabo, n'abamu ku booluganda mu Yoppa ne bamuwerekereko.
24
Olunaku olwaddako n'atuuka e Kayisariya. Koruneliyo yali abalindiridde, ng'akuŋŋaanyizza eŋŋanda ze ne banywanyi be.
25
Petero bwe yayingira, Koruneliyo n'ajja okumwaniriza, n'agwa ku bigere bye n'amusinza.
26
Petero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.”
27
Eno nga bw'ayogera naye, nayingira, n'asangamu abantu bangi abakuŋŋaanye,
28
n'abagamba nti: “Nammwe mumanyi bwe kitakkirizibwa Omuyudaaya okutabagana ne munnaggwanga, oba okumukyalira, naye Katonda y'andaze nga bwe sandiyise muntu n'omu mubi oba atali mulongoofu.
29
Olw'ekyo nange bwe bampise, kwe kujja awatali kulonzalonza. Naye kati mbuuza ensonga empisizza.”
30
Koruneliyo n'agamba nti: “Ennaku nnya emabega, mu kabanga kano kennyini, nali mu nnyumba yange nga neegayirira ku ssaawa eyoomwenda, omusajja n'annyimirira mu maaso ng'ayambadde engoye ezitemagana,
31
n'agamba nti: ‘Koruneliyo, essaala zo ziwuliddwa, ne by'ogabira abaavu bijjukiddwa mu maaso ga Katonda.
32
Tuma nno e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, asula mu nnyumba ya Simoni omuwazi w'amaliba okuliraana ennyanja.’
33
Kyennava nno nkutumira amangu. Era naawe okoze bulungi n'ojja. Kaakano tuutuno ffenna mu maaso ga Katonda okuwulira byonna Omukama bye yakulagira.”
34
Petero n'ayasamya akamwa ke, n'agamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu;
35
naye buli ggwanga, buli amutya n'akola ekituufu, amusiima.
36
Abayisirayeli Katonda yabatumira ekigambo ng'ababuulira amawulire amalungi ag'emirembe mu Yezu Kristu. Oyo ye Mukama wa byonna.
37
Nammwe mumanyi ekyabaawo mu Buyudaaya bwonna, okusookera ddala mu Galilaaya okuva ku batismu ya Yowanna gye yayigiriza,
38
nga Yezu ow'e Nazareti Katonda bwe yamusiiga ne Mwoyo Mutuukirivu n'amaanyi, nga bwe yayitaayita ng'agenda akolera bulungi abantu, era ng'awonya bonna Sitaani be yali adoobya, kubanga Katonda yali naye.
39
Ffe bajulirwa b'ebyo bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yeruzaalemu. Gwe batta nga bamuwanika ku muti,
40
Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu, n'amuwa okulabibwa
41
si buli muntu, wabula ffe Katonda be yali alondobyemu ng'abajulirwa; ffe twalya ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira mu bafu,
42
n'atulagira okuyigiriza abantu n'okutegeeza nti ye y'oyo Katonda gwe yassaawo okulamula abalamu n'abafu.
43
Ye wuuyo abalanzi bonna gwe baakakasa nti buli amukkiriza afuna ekisonyiwo ky'ebibi mu linnya lye.”
44
Petero yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bawulira ekigambo.
45
Abakkiriza abaava mu batayirire abaali bazze ne Petero ne basamaalirira olw'okulaba ng'ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu kiyiiriddwa ne ku b'amawanga.
46
Anti baali bawulira nga boogera ennimi endala, nga bagulumiza Katonda. Petero n'agamba nti:
47
“Waliwo ayinza okugaana bano amazzi okubatizibwa, bano abafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe?”
48
N'abalagira okubatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu. Ne bamusaba agira asigala nabo ennaku nga ziizo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28