bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 6
Acts 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
1
Mu budde obwo, omuwendo gw'abayigirizwa bwe gwagenda gweyongera, Abagereeki ne batandika okwemulugunyiza Abeebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaafibwangako mu kugabana okwa bulijjo.
2
Awo Ekkumi n'Ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abayigirizwa, ne babagamba nti: “Si kituufu ffe okulekayo okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne tudda mu kugaba emmere.
3
Kale nno, abooluganda, mwelondemu abasajja musanvu aboogerwako obulungi, abajjudde Mwoyo n'amagezi, be tuba tussa ku mulimu ogwo.
4
Ffe tujja kwemalira ku kwegayirira ne ku kuweereza ekigambo.”
5
Abantu bonna ne basiima kye baagamba, ne balonda Stefano omusajja ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutuukirivu, ne Filippo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Temoni, ne Parumena, ne Nikolawo ow'e Antiyokiya eyali asomye ekiyudaaya,
6
ne babaleeta mu maaso g'Abatume; nga bamaze okwegayirira, ne babassaako emikono.
7
Ekigambo ky'Omukama ne kyeyongera okubuna, n'omuwendo gw'abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yeruzaalemu; era ne bakabona bangi ne bagondera okukkiriza.
8
Stefano yajjula eneema n'amaanyi, n'akola ebyewuunyisa ebinene n'obubonero mu bantu.
9
Awo abamu mu sinaagooga eyayitibwanga ey'Abaateebwa mu Buddu, n'ey'Abakureni, n'ey'ab'e Alekisanduriya, n'abamu ab'omu Silisiya n'e Aziya, ne basituka ne bawakana ne Stefano.
10
Naye ne batasobola kuwakanya magezi na Mwoyo bye yayogezanga.
11
Awo ne bafukuutirira abantu, abaagamba nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo ebivuma Musa ne Katonda.”
12
Ne basiikuula abantu, n'abakadde, n'abawandiisi, ne bamuzinda, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko.
13
Ne bassaawo abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omusajja ono tata kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu ne ku Tteeka;
14
twamuwulira ng'agamba nti: ‘Yezu ow'e Nazareti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yaleka atuwadde.’ ”
15
Bonna abaali mu lukiiko bwe baamutunuulira, ne balaba ng'amaaso ge gali ng'amaaso ga malayika.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28