bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 12
Acts 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
1
Mu budde obwo, kabaka Erode n'akwata abamu mu Ekleziya, n'ababonyaabonya.
2
N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yowanna.
3
Bwe yalaba nga kisanyusizza Abayudaaya, n'agenda mu maaso akwate ne Petero. Kyokka ennaku ezo nga za Migaati Egitazimbulukuse.
4
Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amukwasa emigigi ena egy'abaserikale kinnabana okumukuuma, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'ekibiina nga Pasika ewedde.
5
Petero ne bamukuumira bwe batyo mu kkomera. Yo Ekleziya ne yeegayirira lutata Katonda ku lulwe.
6
Ekiro ekyo kyennyini Erode lw'agenda okumuggyayo, Petero yali yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa enjegere bbiri, n'abakuumi ku luggi nga bakuuma ekkomera,
7
malayika w'Omukama n'alabika, ekitangaala ne kibuna ekkomera, n'akuba Petero ku lukugunyu, n'amuzuukusa, n'agamba nti: “Situka mangu.” Awo enjegere ne zigwa okuva ku mikono gye.
8
Malayika n'amugamba nti: “Weesibe, onaanike n'engatto zo.” Naye n'akola atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo ongoberere.”
9
N'afuluma n'amugoberera; naye n'atategeera nti malayika kye yali akola kyali bwe kiri; yali alowooza nti alabikiddwa.
10
Bwe baayita ku mugigi ogw'abakuumi ogusooka n'ogwokubiri, ne batuuka ku luggi olw'ekyuma olutwala mu kibuga, nalwo ne lubeggulirawo lwokka. Ne bafuluma ne batambulako akabanga mu luguudo; amangu ago Malayika n'amuleka.
11
Petero bwe yeddamu, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'Omukama atumye malayika we n'anzigya mu mikono gya Erode ne mu ekyo Abayudaaya bonna kye babadde balinda.”
12
Kino bwe yakitegeera, n'agenda ku nnyumba ya Mariya, nnyina wa Yowanna, era ayitibwa Mariko, abangi gye baali bakuŋŋaanidde nga beegayirira.
13
Bwe yakonkona ku luggi olw'emiryango, omuwala, erinnya lye Roda, n'ajja ayanukule.
14
Olwategeera ng'eddoboozi lya Petero, olw'essanyu n'oluggi teyaluggulawo, wabula yadduka buddusi n'addayo munda, n'ategeeza nti Petero y'ali ku luggi.
15
Bonna ne bamugamba nti “Olaluse?” Ye n'akalambira nti bwe kiri. Bo ne bagamba nti: “Oyo malayika we.”
16
Petero ye n'ayongera okukonkona. Bwe baggulawo, ne bamulaba, ne bawuniikirira.
17
Ye n'abawenyaako n'omukono basirike; n'abanyumiza Omukama nga bw'amuggye mu kkomera; n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda.” N'afuluma, n'agenda mu kifo ekirala.
18
Bwe bwakya enkya, ne wabaawo okwegugunga kunene mu baserikale olw'ekyali kituuse ku Petero.
19
Erode bwe yamunoonya nga tamulaba, n'alyoka awozesa abakuumi, n'alagira okubatta. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'akkirira mu Kayisariya, n'abeera eyo.
20
Kati nno Erode yali asunguwalidde abantu b'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne bajja gy'ali nga bakkaanyizza, ne bamatiza Bulasto eyakuumanga ennyumba ya kabaka, ne basaba okutabagana, kubanga ensi yaabwe emmere yagiggyanga mu nsi ya kabaka.
21
Ku lunaku olulagaanye, Erode n'atuula ku nnamulondo ng'ayambadde eby'obwakabaka, n'ayogera gye bali.
22
Ekibiina ne kireekaanira waggulu nti: “Eddoboozi lino lya lubaale, si lya muntu buntu.”
23
Amangu ago malayika w'Omukama n'amukuba olw'okubanga yali tawadde Katonda kitiibwa; n'aliibwa envunyu, n'afa.
24
Kyo ekigambo ky'Omukama ne kitinta, ne kyeyongera.
25
Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne badda okuva e Yeruzaalemu nga batutte Yowanna eyayitibwanga Mariko.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28