bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 23
Acts 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Pawulo, amaaso ng'agasimbye abaali mu lukiiko, n'agamba nti: “Basajja abooluganda, nze n'okutuusa ku lunaku lwa leero mbadde neeyisa mu maaso ga Katonda n'emmeeme entereevu.”
2
Awo Ananiya kabona omukulu n'alagira abaamuli okumpi okumukuba emimwa.
3
Pawulo n'amugamba nti: “Naawe Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekimaale ennoni! Otudde okunnamula ng'osinziira mu Tteeka, ate n'olagira okunkuba, ekintu ekikontana n'Etteeka?”
4
Abaali bayimiridde awo ne bagamba nti: “Ggwe ovuma kabona wa Katonda omukulu?”
5
Pawulo n'abagamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye kabona omukulu; kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Toyogeranga bubi ku mufuzi w'abantu bo?’ ”
6
Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo ate ekirala kya Bafarisaayo, n'ayogera n'eddoboozi ddene mu lukiiko nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, omwana w'Abafarisaayo; mpozesebwa olw'ensonga y'okusuubira n'okuzuukira kw'abafu.”
7
Bwe yasirissa ebyo, ne wasituka empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo; ekibiina ne kyesalamu.
8
Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newandibadde malayika, newandibadde omwoyo; sso ng'Abafarisaayo bakkiriza byonna.
9
Ne wabaawo oluyoogaano lunene. Abamu ku bawandiisi b'ekibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana nga bagamba nti: “Tetulaba nsobi mu muntu ono; oboolyawo mwoyo gwe gwayogedde naye, oba malayika?”
10
Empaka bwe zeeyongera okukaalaama, omukulu w'abaserikale, olw'okutya nti Pawulo bayinza okumutaagulataagula, n'alagira abaserikale okukka, bamubaggyeko, bamuyingize mu kigo.
11
Mu kiro ekyaddirira, Omukama n'ayimirira w'ali n'amugamba nti: “Guma; kubanga nga bw'onjulidde mu Yeruzaalemu, bw'olinjulira ne mu Roma.”
12
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana, ne bakola olukwe, ne balayira obutalya n'obutanywa nga tebannatta Pawulo.
13
Abeekoba bwe batyo baali ng'amakumi ana n'okusoba.
14
Ne bagenda eri bakabona abakulu n'abakadde, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnatta Pawulo.
15
Awo nno kaakano mmwe n'olukiiko mutegeeze omukulu w'abaserikale amubaweereze, ng'abagenda okwekkanya ensonga ze n'obwegendereza okusingawo. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka.”
16
Mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yawulira ku kumuteega, n'agenda, n'ayingira mu kigo, n'abuulira Pawulo.
17
Pawulo n'ayita omu ku basenturiyo, n'agamba nti: “Omulenzi ono mutwale eri omukulu w'abaserikale; alina ky'ayagala okumugamba.”
18
Oli n'amuddira n'amutwala eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Pawulo omusibe ampise n'ansaba nkuleetere omulenzi ono, aliko ky'ayagala okukugamba.”
19
Omukulu w'abaserikale n'amukwata ku mukono n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nga bali bokka nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?”
20
N'agamba nti: “Abayudaaya bateesezza okukusaba oleete Pawulo mu lukiiko enkya, nga beefaananya ng'abaliko kye beetaaga okumwekkaanyaako okusingawo.
21
Ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja amakumi ana n'okusoba abamuteeze; beerayiridde obutalya yadde okunywa nga tebannamutta. Era na kati beeteeseteese nga balindirira ky'onoosuubiza.”
22
Omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako gw'ogamba nti kino okintegezezzaako.”
23
N'ayita babiri ku basenturiyo, n'abagamba nti: “Ku ssaawa eyookusatu ey'ekiro, mutegeke abaserikale ebikumi bibiri, n'ab'embalaasi nsanvu n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende okutuukira ddala e Kayisariya.
24
Era musseewo n'embalaasi kwe banaatwalira Pawulo, bamutuuse bulungi ewa Felikisi owessaza.
25
N'awandiika n'ebbaluwa ng'erimu ebigambo bino:
26
“Kulawudiyo Lisiya, eri Omutiibwa Owessaza Felikisi, nkulamusizza.
27
Omusajja ono Abayudaaya baamukwata; baali bagenda okumutta, ne mbasanga nga ndi n'abaserikale, bwe nategeera nga Muroma, ne mmuwonya.
28
Nze olw'okwagala okumanya ensonga gye bamuvunaana, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.
29
Ne nzuula nga bamuwawaabira lwa bigambo bya mateeka gaabwe, naye nga taliiko kimuwawaabirwa kimussisa, yadde kimusibisa.
30
Bwe banzibiddeko ku lukwe lwe bamusalidde, kwe kumusindika gy'oli amangu ago. Ne ndagira abamuwawaabira bajje basimbe ensonga ze bamulinako w'oli.”
31
Abaserikale ne batwala Pawulo ekiro e Antipaturi, nga bwe baali balagiddwa.
32
Ate enkeera ne baddayo mu kigo, ne bamulekera ab'embalaasi bagende naye.
33
Bwe baatuuka e Kayisariya, ne bakwasa owessaza ebbaluwa, ne Pawulo ne bamumussa mu maaso.
34
Bwe yagisoma, n'abuuza essaza gy'ava. Bwe yamanya nga wa mu Silisiya,
35
n'agamba nti: “Ndikuwulira ng'abakuwawaabira bazze.” N'amulagira akuumirwe mu Purayitoriyo ya Erode.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28