bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 11
Acts 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
1
Abatume n'abooluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nga n'ab'amawanga bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2
Petero bwe yayambuka e Yeruzaalemu, abaali batayiriddwa ne bamulumba
3
nga bagamba nti: “Wagendera ki mu bantu abatali batayirire n'okulya n'olya nabo?”
4
Petero n'atandika okubannyonnyola kinnakimu, n'agamba nti:
5
“Nali ndi mu kibuga Yoppa, nga neegayirira, ne mbulawo mu mwoyo, ne ndabikirwa, ne ndaba ekintu ekikkirira nga kiri ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya okuva mu ggulu, ne kijja wansi we nali.
6
Bwe nakitunuulira okwetegereza, ne ndabamu ebisolo eby'oku nsi, n'ebyewalula, n'ebinyonyi eby'omu bbanga.
7
Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Petero, situka; tta, olye.’
8
Naye ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama; anti ekikyafu oba ekitali kirongoofu tekiyitanga mu kamwa kange.’
9
Eddoboozi ne liddamu ogwokubiri nga liyima mu ggulu nti: ‘Katonda bye yatukuza ggwe tobiyitanga bikyafu.’
10
Ekintu ekyo kyakolebwa emirundi esatu; oluvannyuma byonna ne biddayo mu ggulu.
11
Okwezimuukiriza ng'abasajja basatu be baali bantumidde, nga bava e Kayisariya, nga batuuse ku nnyumba mwe twali.
12
Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba okugenda nabo awatali kulonzalonza. N'abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tuyingira mu nnyumba y'omusajja.
13
N'atunyumiza nga bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde, n'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero,
14
ajja kukutegeeza ebigambo mwe mujja okulokokera, ggwe wamu n'ennyumba yo yonna.’
15
Bwe natandika okwogera Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bo nga bwe yakka ku ffe mu masooka.
16
Ne nzijukira ekigambo ky'Omukama kye yatugamba nti: ‘Yowanna yabatizanga na mazzi; naye mmwe mujja kubatizibwa ne Mwoyo Mutuukirivu.’
17
Kale nno obanga Katonda yabawa ekirabo kye kimu kye yawa ffe abakkiriza Omukama Yezu Kristu, nandibadde ani nze okuziyiza Katonda?”
18
Bwe baawulira ebyo, ne basirika, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Awo nno n'ab'amawanga nabo Katonda abawadde okubonerera bafune obulamu.”
19
Bali abaali basaasaanyiziddwa ekiyigganyizo ekyabaawo olwa Stefano, ne batambula, ne batuuka mu Fenisiya, Kupuro ne mu Antiyokiya, naye nga tebayigiriza mulala yenna wabula Abayudaaya bokka.
20
Abamu ku bo ab'omu Kupuro n'abomu Kureni, bwe baagenda mu Antiyokiya, ne boogera n'Abagereeki, ne babayigiriza Omukama Yezu.
21
N'omukono gw'Omukama gwali nabo; omuwendo munene ogw'abakkiriza ne badda eri Omukama.
22
Amawulire ne gagwa mu matu g'Ekleziya y'omu Yeruzaalemu, ne batuma Barunaba e Antiyokiya.
23
Bwe yatuukayo, n'alaba eneema ya Katonda, n'ajaguza. N'abakubiriza bonna banywerere ku Mukama n'omutima omugumu.
24
Kubanga yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kyegatta ku Mukama.
25
Barunaba n'agenda e Taruso okunoonya Sawulo.
26
Bwe yamuggukako, n'amutwala mu Antiyokiya. Ne bamala omwaka mulamba nga basisinkana Ekleziya, ne bayigiriza ekibiina kinene; mu Antiyokiya abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristu.
27
Mu nnaku ezo abalanzi baava e Yeruzaalemu ne bajja mu Antiyokiya.
28
Omu ku bo ayitibwa Agabo n'ayimirira, n'alanga mu Mwoyo Mutuukirivu nti enjala ey'amaanyi yali ejja kugwa ku nsi yonna. Kino kyabaawo mu mirembe gya Kulawudiyo.
29
Abayigirizwa ne bateesa buli omu okusinziira ku busobozi bwe adduukirire abooluganda mu Buyudaaya.
30
Ne bakola bwe batyo; ne baweereza obuyambi eri abakadde nga babukwasizza Barunaba ne Sawulo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28