bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 3
Acts 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Olumu Petero ne Yowanna baali bambuka mu Kiggwa ku ssaawa eyoomwenda ey'okusoma,
2
ne wabaawo omusajja eyava munda ya nnyina nga mulema, eyali asituddwa. Buli lunaku baamussanga ku mulyango gw'Ekiggwa oguyitibwa Omulungi, asabirize ku bayingira mu Kiggwa.
3
Bwe yalaba Petero ne Yowanna nga bayingira bati mu Kiggwa, n'abasabiriza.
4
Petero n'amwekaliriza, wamu ne Yowanna, n'amugamba nti: “Tutunuulire.”
5
N'oli n'abasimba amaaso ng'asuubira ng'anaafunayo akantu.
6
Petero n'amugamba nti: “Ffeeza ne zaabu sibirina; naye nkuwa kye nnina; mu linnya lya Yezu ow'e Nazareti tambula.”
7
N'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo n'amuyimusa; amangu ago ebigere bye n'obukongovvule ne binywera.
8
N'abaguka, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Kiggwa ng'atambula bw'abuukamu, n'atendereza Katonda.
9
Abantu bonna baamulaba ng'atambula, ng'atendereza Katonda.
10
Ne bamutegeerera ddala nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango Omulungi ogw'Ekiggwa ng'asabiriza, ne beewuunya, ne bawuniikirira olw'ekyali kimutuseeko.
11
Yali akyekutte ku Petero ne Yowanna, abantu bonna ne bajja bunnambiro gye bali ku kisasi ekiyitibwa ekya Solomoni, nga bawuniikiridde.
12
Petero bwe yalaba, n'agamba abantu nti: “Basajja Abayisirayeli, lwaki kino mukyewuunya? Lwaki mututunuulira kyenkana nga ffe tutambuzizza ono n'amaanyi gaffe, oba olw'obutuukirivu bwaffe?
13
Katonda wa Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yezu, mmwe gwe mwawaayo ne mumwegaana mu maaso ga Pilato, nga ye ayagala okumuta.
14
Naye mmwe mwegaana Oyo Omutuukirivu, Omutuufu, ne musaba omutemu abaweebwe;
15
ne mutta Kagingo w'obulamu Katonda gwe yazuukizza mu bafu; ffe bajulirwa b'ekigambo ekyo.
16
Ate erinnya lye, olw'okukkiriza mu linnya lye, kyerivudde liwa amaanyi gwe mulabye era gwe mumanyi; okukkiriza okwo okuva mu ye kwe kuwadde ono okuddirawo ddala mu maaso gammwe mwenna.
17
“Kale nno, baganda bange, mmanyi ng'ekyo mwakikoza butamanya, ng'era abafuzi bammwe bwe baakola.
18
Kyokka Katonda bye yali alangiridde mu kamwa k'abalanzi bonna nti Kristu we yali wa kubonaabona, yabituukiriza bw'atyo.
19
Kale nno mubonerere, mweddemu, ebibi byammwe biryoke bisangulibwewo,
20
Omukama asindike bw'atyo obudde obw'okuweweerako okuva ewuwe, olwo abasindikire Kristu nga bwe yabategekera, oyo Yezu,
21
eggulu gwe lirina okugira nga likyamulina okutuusa obudde obw'okutuukiriza byonna Katonda bye yayogeza akamwa k'abalanzi be abatuukirivu okuva edda n'edda.
22
Musa yagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe alibasitusiza okuva mu baganda bammwe omulanzi nga nze; mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.
23
Ate era ekiribaawo, omuntu yenna ataliwulira mulanzi oyo, alikutulirwa ddala ku bantu be.’
24
Era n'abalanzi bonna abaayogera okuva ku Samweli n'abaamuddirira, nabo ennaku zino baaziranga.
25
Mmwe baana b'abalanzi n'ab'ekiragaano Katonda kye yakuba ne bajjajjaffe, ng'agamba Yiburayimu nti ‘Mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi biriweebwa omukisa.’
26
Katonda bwe yamala okuzuukiza Omwana we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa, buli muntu amuggye mu ngeri ze embi.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28