bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 9
Acts 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
1
Sawulo yali akyaswakidde ng'atiisaatiisa okutta abayigirizwa b'Omukama, n'agenda eri kabona omukulu,
2
n'amusaba ebbaluwa ez'okumwanjula mu sinaagooga mu Damasiko, ng'abadde asanzeeyo abasajja n'abakazi ab'Ekkubo, abaleete e Yeruzaalemu nga basibe.
3
Bwe yali akyali mu kkubo, ng'asemberera Damasiko, amangu ago ekitangaala okuva mu ggulu ne kimyansa okumwebungulula;
4
n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi erimugamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?”
5
Ye n'agamba nti: “Ggwe ani, Mukama?” N'amugamba nti: “Nze Yezu gw'oyigganya.
6
Naye yimuka oyingire mu kibuga, ojja kubuulirwa eky'okukola.”
7
Abasajja abaali batambula naye, baali bayimiridde nga bawuniikiridde; eddoboozi baali baliwulira, naye nga tebaliiko gwe balaba.
8
Sawulo n'agolokoka wansi; naye bwe yazibula amaaso, nga takyalaba kantu. Ne bamukwata ku mukono ne bamuyingiza mu Damasiko.
9
N'amala ennaku ssatu nga talaba, nga talya wadde okunywa.
10
Mu Damasiko waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Ananiya; Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Ananiya.” N'addamu nti: “Nzuuno, Mukama.”
11
Omukama n'amugamba nti: “Situka, olage ku luguudo oluyitibwa Olugolokofu, obuuze mu nnyumba ya Yuda omusajja ayitibwa Sawulo ow'e Taruso; kati ali mu kwegayirira.
12
Era alabye omusajja erinnya lye Ananiya ng'ayingira, n'amussaako emikono addemu okulaba.”
13
Naye Ananiya n'addamu nti: “Mukama, mpulidde bangi nga boogera ku muntu oyo obubi bwonna bw'akoledde abatuukirivu bo mu Yeruzaalemu;
14
ate kati alina obuyinza okuva eri bakabona abakulu okusiba bonna abakoowoola erinnya lyo.”
15
Omukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo mukutu gwange gwe neerondedde okutuusa erinnya lyange mu b'amawanga ne mu bakabaka ne mu baana ba Yisirayeli.
16
Nange nzija kumulaga ebyo by'ateekwa okubonaabonamu olw'okubeera erinnya lyange.”
17
Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono ng'agamba nti: “Sawulo owooluganda, Omukama Yezu eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye gy'oli oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.”
18
Amangu ago ku maaso ge ne kuvaako ebiri ng'amagamba, ne bigwa; n'addamu okulaba, n'asituka, n'abatizibwa,
19
n'alya ku mmere, n'addamu amaanyi. N'amala ennaku nga ziizo ng'ali n'abayigirizwa mu Damasiko.
20
Teyalwa, n'alangirira Yezu mu sinaagooga ng'agamba nti: “Yezu Mwana wa Katonda.”
21
Abaali bamuwulira bonna ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyali asaanyaawo ab'omu Yeruzaalemu abaali bakoowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta n'eno alyoke abatwalire bakabona abakulu nga basibe?”
22
Naye Sawulo ye ne yeeyongera amaanyi, Abayudaaya ab'omu Damasiko n'abaleetera okusamaalirira olw'engeri gye yakakasangamu nti Yezu ye Kristu.
23
Nga wayiseewo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne beekoba okumutta.
24
Sawulo n'ategeera ku lukwe lwabwe. Beetegerezanga emiryango emisana n'ekiro, bamutte.
25
Naye ekiro abayigirizwa ne bamuddira ne bamuyisa ku bbugwe ne bamussa nga bamukkiririza mu kisero.
26
Bwe baatuuka e Yeruzaalemu, n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa, naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nga naye muyigirizwa.
27
Barunaba n'amuddira n'amutwala eri Abatume; n'abanyumiza nga bwe yalaba Omukama n'ayogera naye, era nga bwe yayigiriza n'obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yezu.
28
N'ayingira era n'afulumanga nabo mu Yeruzaalemu,
29
ng'ayigiriza n'obuvumu mu linnya ly'Omukama. Yayogeranga n'awakananga n'Abagereeki; naye ne banoonya okumutta.
30
Abooluganda bwe baakitegeera, ne bamukkiriza e Kayisariya, na bamusindika e Taruso.
31
Awo Ekleziya n'afuna emirembe wonna mu Buyudaaya, mu Galilaaya ne mu Samariya; ne yeezimba, ng'atambulira mu kutya Omukama ne mu kikubagizo kya Mwoyo Mutuukirivu.
32
Olumu Petero bwe yali ng'abayitaayitamu bonna, n'atuuka mu batuukirivu abaabeeranga mu Lidda.
33
N'asangayo omuntu erinnya lye Eneya, eyali akonzibidde emyaka munaana ku ndiri.
34
Petero n'amugamba nti: “Eneya, Omukama Yezu Kristu akuwonya; situka oyale obuliri bwo.” Amangu ago n'asituka.
35
Bonna abatuuze b'omu Lidda ne mu Saroni ne bamulaba, ne badda eri Omukama.
36
Ne mu Yoppa mwalimu omuyigirizwa omu omukazi erinnya lye Tabita, ekivvuunulwa nti Doruka. Yali mujjumbize w'ebikolwa ebirungi n'okugabira abaavu.
37
Mu nnaku ezo, yalwala n'afa. Bwe baamala okumunaaza, ne bamussa mu kisenge ekya waggulu.
38
Kubanga Lidda kyali kumpi ne Yoppa, abayigirizwa ne bawulira nga Petero ali eyo, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamwegayirira nti: “Jjangu ewaffe, tolwa.”
39
Awo Petero n'asituka n'agenda nabo. Bwe yatuuka, ne bamulinnyisa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bayimirira w'ali nga bamwebunguludde nga bakaaba; ne bamulaga ebiteeteeyi n'ebyambalo Doruka bye yali akoze ng'akyali nabo.
40
Naye Petero bonna n'abafulumya, n'afukamira, ne yeegayirira, n'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabita, yimuka.” N'azibula amaaso ge; bwe yalaba Petero, n'atuula.
41
Petero n'amusuulira omukono, n'amuyimusa, n'ayita abatuukirivu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu.
42
Kino ne kimanyibwa wonna mu Yoppa; bangi ne bakkiriza mu Mukama.
43
N'amala ennaku nnyingi mu Yoppa ewa Simoni omu omuwazi w'amaliba.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28