bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 28
Acts 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
1
Bwe twamala okuwona, ne tutegeera ng'ekizinga ekyo kiyitibwa Maluta.
2
Bannansi b'okwo ne batugirira ekisa ekitasangika; baakuma omuliro, ne batusembeza ffenna, kubanga enkuba yali etandiikiriza okutonnya n'obudde nga bunnyogoga.
3
Pawulo bwe yamala okukuŋŋaanya omuganda gw'obutittiriri, n'agusuula ku muliro; embalasaasa n'efubutukamu olw'ebbugumu, ne yeerippa ku mukono gwe.
4
Bannansi bwe baalaba ng'ekintu kirebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omusajja ono mutemu; newandibadde ng'awonye ennyanja, mu bwenkanya takkiriziddwa kulama.”
5
Naye ye ekintu n'akikunkumulira mu muliro, n'atabaako kabi konna.
6
Ne bamulindirira okuzimbagatana oba okugwa eri afe amangu ago. Naye bwe baalwawo nga balindirira, ne balaba nga tewali kabi kamujjidde, ne beefukulula, ne bagamba nti yali lubaale.
7
Kati nno mu kitundu ekyo okuliraana n'ekifo ekyo mwalimu ebyalo by'omusajja omwami w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo, eyatukyaza ewuwe okumala ennaku ssatu, n'atulabirira n'ekisa.
8
Kati nno kitaawe wa Pubuliyo yali ku ndiri ng'akwatiddwa omusujja n'ekiddukano. Pawulo n'ayingira gy'ali, ne yeegayirira, n'amussaako emikono, n'amuwonya.
9
Ekyo bwe kyamala okukolebwa, ab'omu kizinga bonna abaalina endwadde nabo ne bajja ne bawonyezebwa.
10
Era ne batugulumiza n'ekitiibwa kinene. Ate bwe twali tusaabala, ne batikkako byonna bye twali twetaaga.
11
Oluvannyuma lw'emyezi esatu, ne tusaabalira mu lyato eryali limaze obudde obw'obutiti mu kizinga ekyo; eryato lyali ly'e Alekisanduriya, nga liriko akabonero k'Abalenzi Abalongo.
12
Bwe twatuuka e Sirakuzi, ne tumalawo ennaku ssatu.
13
Bwe twavaayo, ne tugenda nga tubalama, ne tugoba e Regiyo. Oluvannyuma lw'olunaku olusooka empewo y'emaserengeta n'efuuwa, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putewolo.
14
Eyo twasangayo abooluganda, ne batusaba okusigala nabo ennaku musanvu. Ne tutuuka bwe tutyo e Roma.
15
Abooluganda abali eyo bwe baatuwulira, ne bajja okutuukira ddala ku Mbuga ya Appiyo ne ku Migiini Esatu. Pawulo bwe yabalabako, ne yeebaza Katonda, n'addamu omwoyo.
16
Bwe twatuuka e Roma, Pawulo ye n'akkirizibwa okusula yekka, ng'aliko omuserikale amukuuma.
17
Ennaku essatu bwe zaayitawo, n'ayita abakulu b'Abayudaaya, ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Basajja abooluganda, nze newandibadde nga siriiko kibi kye nakolera bantu, era nga soonoonanga ku mpisa za bajjajjaffe, naye era nasibirwa e Yeruzaalemu ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaroma.
18
Bwe baamala okumbuuza, ne baagala okunta, kubanga nali siriiko musango gunzisa.
19
Naye Abayudaaya ne bakikaayanako; ekyo kye kyansindika okujulira eri Kayisari, newandibadde nga saalina kintu kye nvunaana ggwanga lyange.
20
Olw'ekyo nno, kyenvudde njagala okubalaba n'okwogerako nammwe, kubanga lwa kubeera ssuubi lya Yisirayeli kyenvudde nsibibwa olujegere luno.”
21
Bo ne bamugamba nti: “Ffe tetufunanga bbaluwa eva mu Buyudaaya ekwogerako, yadde omu ku booluganda abajja kuno akwogeddeko bubi.
22
Kale nno twandyagadde okuwulira ggwe ky'olowooza. Anti kye tumanyi ku kibiina kino kye kino, nti kyogerwako bubi.”
23
Bwe baamala okumulagaanya olunaku, ne bajja bangi gy'ali mu nnyumba gye yali asulamu. N'abannyonnyola ebintu ng'abategeeza obwakabaka bwa Katonda okuva ku makya okutuusa akawungeezi, ng'afuba okubakkirizisa Yezu ng'ayima ku Tteeka lya Musa n'Abalanzi.
24
Abamu ne bakkiriza olw'ebyo bye yayogeranga, abalala ne batakkiriza.
25
Ne wabaawo obutakkaanya; ne baabuka; naye Pawulo ng'ayogedde kino nti: “Wamma Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu, bwe yagamba bajjajjammwe, ng'ayita mu mulanzi Yisaaya nti:
26
“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti: okuwulira muliwulira, naye temulitegeera; okulaba muliraba, naye temulyetegereza.
27
Kubanga omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazitoowererwa okuwulira, n'amaaso gaabwe bagazibirizza, sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe, ne bawulira n'amatu gaabwe, ne bategeera n'omutima gwabwe, ne beenenya, ne mbawonya.’
28
Mutegeere nno ng'okulokoka kuno Katonda akusindise eri ab'amawanga; bajja kuwulira.”
30
Pawulo n'amala emyaka ebiri miramba mu nnyumba ye gye yeepangisiriza, n'ayaniriza bonna abajjanga gy'ali,
31
ng'alangirira obwakabaka bwa Katonda n'okuyigiriza ebifa ku Mukama Yezu Kristu kyere awatali amuziyiza.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28