bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 2
Acts 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Olunaku lwa Pentekooti bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu.
2
Amangu ago ne wabaawo okuwuuma okuva mu ggulu nga kuli ng'okuyira okwa kikunta ow'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde.
3
Ne balaba ennimi ng'ez'omuliro, ezeeyawuddemu, buli lumu ne lwetondeka ku buli kinnoomu ku bo.
4
Bonna ne bajjula Mwoyo Mutuukirivu, ne batandika okwogera ennimi endala, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yabawanga okwogera.
5
Mu Yeruzaalemu mwalimu Abayudaaya, abantu abasomi abaali bavudde mu mawanga gonna agali wansi w'eggulu.
6
Okuwuuma okwo bwe kwawulikika, ebbiina ne lyesomba, ne basamaalirira, kubanga buli omu yabawuliranga nga boogera mu lulimi lwe.
7
Bonna ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Naye bano bonna aboogera si Bagalilaaya?
8
Kiyinzika kitya ffe okuwulira buli omu mu lulimi lwe?
9
Abapariti, Abamedi, Abeelami, abatuuze b'omu Mezopotamiya, mu Buyudaaya ne mu Kappadokiya, Ponto ne mu Aziya,
10
mu Firugiya ne mu Pamfiliya, mu Misiri ne mu bitundu ebya Libya ebitwalibwa Kureni, n'Abaroma abazze obugenyi, ssaako Abayudaaya n'ab'amawanga abasoma ekiyudaaya,
11
Abakureti n'Abawarabu, tubawulidde nga boogera mu nnimi zaffe ebikuuno bya Katonda.”
12
Bonna ne bawuniikirira, ne basoberwa, ne bagambagana nti: “Kiri kitya kino?”
13
Naye abalala ne baduula nga bagamba nti: “Bano batamidde mwenge musu.”
14
Awo Petero n'ayimirira ng'ali wamu n'ekkumi n'omu, n'akangula ku ddoboozi, n'abagamba nti: “Basajja Abayudaaya, nammwe mwenna abasula mu Yeruzaalemu, kino mukimanye, ebigambo byange mubitegere amatu.
15
Abantu bano si batamiivu nga mmwe bwe mulowooza, anti kati essaawa ziri ssatu zokka ez'oku makya.
16
Naye kino kye kiikyo Yoweli Omulanzi kye yagamba nti:
17
“ ‘Mu nnaku ez'oluvannyuma ekiribaawo, Omukama y'agamba, ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna, batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga, n'abavubuka bammwe balirabikirwa, ate n'abakadde bammwe baliroota ebirooto;
18
mu nnaku ezo abaweereza bange n'abazaana ndibayiwako Mwoyo wange ne balanga.
19
Ndiraga ebikuuno waggulu ku ggulu, n'obubonero wansi ku nsi, omusaayi, omuliro, n'ebire eby'omukka,
20
enjuba erifuuka enzikiza, n'omwezi gulifuuka musaayi, olunaku lw'Omukama nga terunnatuuka, olunaku olukulu olw'ekitalo.
21
Olwo, buli alikowoola erinnya ly'Omukama, aliwonyezebwa.’
22
“Abasajja Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino: Yezu ow'e Nazareti, omusajja Katonda gwe yakakasiza mu mmwe n'ebikolwa eby'amaanyi n'ebyewuunyo, n'obubonero Katonda bye yakolanga mu mmwe ng'ayita mu ye, nga nammwe bwe mumanyi,
23
ono eyaweebwayo nga Katonda bwe yali amaze okukiteesa n'okukimanya, mwamubonyaabonya ne mumutta n'emikono gy'ababi.
24
Naye Katonda yamuzuukiza ng'amuwonya obulumi bw'olumbe, kubanga kyali tekiyinzika lumbe kumwekomya.
25
Anti Dawudi yamwogerako bw'ati nti: “ ‘Omukama namusimbangako eriiso buli budde, kubanga andi ku ddyo nneme kunyeenyezebwa;
26
Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'olulimi lwange ne lujaguza, n'omubiri gwange guliwummulira mu ssuubi.
27
Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, n'omutuukirivu wo tolimuleka kuvunda.
28
Wammanyisa amakubo ag'obulamu; olinzijuza essanyu mu maaso go’
29
“Abasajja abooluganda, muleke njogere ku jjajjaffe Dawudi nga sitya; yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali mu ffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
30
Naye nno kubanga yali mulanzi, yali amanyi nti Katonda yamulayirira n'ekirayiro nti omwana owuwe amuva munda alituula ku ntebe ye.
31
Bw'atyo yalengera ebiri mu maaso, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristu nti teyalekebwa magombe era n'omubiri gwe tegwavunda.
32
Yezu ono Katonda yamuzuukiza, ffenna tuli bajulirwa b'ekyo.
33
Yezu nno ng'amaze okugulumizibwa ku gwa ddyo ogwa Katonda, ng'amaze okufuna Mwoyo Mutuukirivu omusuubize okuva ewa Taata, n'alyoka atuyiira kino kye mulaba era kye muwulira.
34
Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: “ ‘Omukama yagamba mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo akatebe k'ebigere byo” ’
36
Awo nno ennyumba ya Yisirayeli yonna emanyire ddala nti Yezu ono gwe mwakomerera Katonda yamufuula Mukama era Kristu.”
37
Bwe baawulira ebyo, emitima ne gimenyeka; kwe kugamba Petero n'Abatume abalala nti: “Basajja abooluganda, kale tukole ki?”
38
Petero n'abagamba nti: “Mubonerere ate buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yezu Kristu, ebibi byammwe bisonyiyibwe; ate mujja kufuna ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu.
39
Anti mmwe mwasuubizibwa: mmwe n'abaana bammwe, n'abo bonna abali ewala, bonna Omukama Katonda waffe b'aliba ayise.”
40
Era n'ebigambo ebirala bingi n'ababuulira n'okubakubiriza ng'agamba nti: “Mwewonye ezzadde lino ekkyamu.”
41
Abaasiima ebigambo bye, ne babatizibwa; ne kweyongerako emyoyo ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo.
42
Ne banyiikiriranga enjigiriza y'Abatume n'okussa ekimu, n'okumenya omugaati, n'okwegayirira.
43
Entiisa n'ekwata buli muntu; Abatume ne bakola ebyewuunyo n'obubonero bungi.
44
Bonna abakkiriza baabanga wamu, n'ebyabwe byonna nga biba bya bonna.
45
Baatundanga ebyabwe n'ebintu, ne babigabira bonna, buli muntu nga bwe yeetaaganga.
46
Era buli lunaku baagendanga wamu mu Kiggwa kya Katonda, nga bamenya omugaati mu maka gaabwe; emmere yaabwe nga bagiriisa ssanyu n'omutima gumu.
47
Baagulumizanga Katonda, era ng'abantu bonna babaagala. Omukama n'abongerangako buli lunaku omuwendo gw'abalokoddwa.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28