bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 22
Acts 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
1
“Basajja abooluganda, bakitange, mumpulirize nga neewozaako gye muli kati.”
2
Bwe baawulira ng'ayogera gye bali mu Lwebureeyi, ne bongera okusirika. N'agamba nti:
3
“Nze ndi musajja Muyudaaya; nazaalibwa Taruso eky'omu Silisiya, ne nkulira mu kibuga kino ku bigere bya Gamalyeli, ne ŋŋunjulibwa mu butuufu ddala ng'amateeka ga bajjajjaffe bwe gali, era ne ntakabanira Katonda nga nammwe mwenna bwe mukola kati.
4
Ekkubo eryo ne ndiyigganya okutuusa ne ku kutta, nga nsiba, nga ntwala mu makomera abasajja n'abakazi,
5
nga kabona omukulu bw'ayinza okunjulira n'olukiiko lwonna olw'abakadde. Bo bankwasa ebbaluwa nzitwale mu booluganda, ne ŋŋenda e Damasiko nzigyeyo abaali eyo, mbaleete e Yeruzaalemu nga basibe, babonerezebwe.
6
“Bwe nali ntambula, nga ndi kumpi n'okutuuka e Damasiko, nga mu ttuntu, amangu ago ne ndabira awo ekitangaala ekinene nga kyaka okuva mu ggulu, ne kinneebungulula,
7
ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti: ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
8
Nze ne nziramu nti: ‘Ggwe ani, Mukama?’ N'anziramu nti: ‘Nze Yezu ow'e Nazareti gw'oyigganya.’
9
Abaali nange ekitangaala baakiraba, naye eddoboozi ly'oyo eyali ayogera nange tebaaliwulira.
10
Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki, Mukama?’ Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka, ogende mu Damasiko; eyo gy'onoobuulirwa byonna by'otegekeddwa okukola.’
11
Kubanga nali sikyalaba olw'ekitangaala ekyo ekiyitirivu, abaali nange ne bankwata ku mukono ne bantwala, ne ntuuka mu Damasiko.
12
“Awo omusajja omu Ananiya, omusajja omusomi okulabira ku Tteeka, ayogerwako obulungi Abayudaaya bonna ab'eyo,
13
n'ajja gye ndi, n'ayimirira kumpi nange, n'aŋŋamba nti: ‘Sawulo owooluganda, ddamu okutunula.’ Amangu ago ne nziramu okutunula, ne mmulaba.
14
N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonderawo omanye ky'ayagala, era olabe ne ku Mutuukirivu, owulire eddoboozi eriva mu kamwe ke.
15
Kubanga olibeera mujulirwa we mu bantu bonna ku byonna by'olabye ne by'owulidde.
16
Ye ate kati okyalinda ki? Situka obatizibwe, weenaazeeko ebibi byo ng'oyatula erinnya lye.’
17
“Nga mmaze okudda mu Yeruzaalemu, bwe nali neegayirira mu Kiggwa, ne mbulawo mu mwoyo,
18
ne mmulaba ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mu Yeruzaalemu kubanga tebajja kukkiriza by'onjulirako.’
19
Ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama nabo bamanyi nga mu buli sinaagooga abakukkiriza nabasuulanga mu makomera, ne mbakuba.
20
N'omusaayi gwa Stefano omujulizi wo bwe gwali guyiibwa, nange era nali awo, ne nkakasa, ne nkuuma n'ebyambalo by'abo abaamutta.’
21
N'aŋŋamba nti: ‘Genda; nkusindise mu b'amawanga abali ewala eyo.’ ”
22
Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo ekyo; awo ne bakangula amaloboozi gaabwe, ne bagamba nti: “Ow'engeri eyo muggye ku nsi. Kubanga tasaanye na kubeera mulamu.”
23
Bwe baali bakyawowoggana, nga bayuza ebyambalo byabwe, nga bafuumuula enfuufu mu bbanga,
24
omukulu w'abaserikale n'alagira okumuyingiza mu kigo n'okumukuba enkoba, alyoke amanye ensonga ebaleekaanya batyo olw'okubeera ye.
25
Bwe baamala okumuswanyuula, Pawulo n'agamba senturiyo eyali amuyimiridde okumpi nti: “Mukkirizibwa okukuba omusajja Omuroma, atannasalirwa na musango?”
26
Senturiyo bwe yawulira ebyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Ono omusajja Muroma.”
27
Omukulu w'abaserikale n'ajja, n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Muroma?” N'agamba nti: “Yee.”
28
Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Obutuuze obwo nabugula omuwendo munene.” Pawulo n'addamu nti: “Nze nno nazaalibwa ndi Muroma.”
29
Amangu ago abaali bagenda okumwekebejja ne bamuvaako. Omukulu w'abaserikale yennyini bwe yategeera nga Muroma, ate nga yali amusibye, n'atya.
30
Enkeera, olw'okwagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya kwe baali basinziira okumuvunaana, n'amusumulula, n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna olukulu okukuŋŋaana; n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28