bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 17
Acts 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Bwe baamala okuyita mu Amfipoli ne mu Apolloniya, ne batuuka e Tessalonika awaali sinaagooga y'Abayudaaya.
2
Pawulo n'ayingira ewaabwe, ng'empisa ye bwe yali, n'amala wiiki ssatu ng'abannyonnyola nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu,
3
ng'ategeeza n'okukakasa nga Kristu bwe yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu, n'abagamba nti: “Yezu oyo gwe mbayigiriza ye Kristu.”
4
Abamu mu bo n'abakkirizisa, ne beegatta ku Pawulo ne Sila, ko n'ekibiina kinene eky'Abagereeki abasomi n'abakazi ab'ekitiibwa abawerako.
5
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne baddira abasajja abamu ababi mu bakireereese, ne beekuŋŋaanya ogubinja, ne basasamaza ekibuga, ne balumba ennyumba ya Yasoni, nga baagala babaggyeyo babaleete mu maaso g'ekibiina.
6
Bwe bataabasanga mu nnyumba, ne bawalaawala Yasoni n'abooluganda abamu, ne babatwala mu maaso g'abakulu b'ekibuga, nga bayoogaana nti: “Bano abatabangudde ensi batuuse na wano,
7
ate Yasoni y'abaaniriza. Bano bonna beeyisa mu ngeri ekontana n'amateeka ga Kayisari nga bagamba nti waliwo kabaka ate omulala, Yezu.”
8
Abantu n'abakulu b'ekibuga ne batabanguka bwe baawulira ebigambo bino.
9
Bwe baamala okufuna akabega okuva ku Yasoni n'abalala, ne babata.
10
Abooluganda amangu ago, ekiro ne basindika Pawulo ne Sila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu sinaagooga y'Abayudaaya.
11
Abayudaaya bano bo baali ba kitiibwa okusinga ku b'e Tessalonika, anti bo ekigambo baakikwata n'okwagala kwonna, buli lunaku nga bawenja Ebiwandiiko ebitukuvu, okulaba obanga ebyo bwe biri bityo.
12
Ggwe wamma bangi mu bo ne bakkiriza, ko n'abakazi Abagereeki ab'ekitiibwa, ko n'abasajja abawerera ddala.
13
Naye Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baamanya nga Pawulo era ayigiriza ekigambo kya Katonda e Beroya, nayo ne batuukayo, ne bajagalaza n'okutabangula ebibiina.
14
Abooluganda ne basiibula mangu Pawulo okutuukira ddala ku nnyanja; naye Sila ne Timotewo bo ne basigalayo.
15
Abaali bawerekedde Pawulo ne bamutuusiza ddala mu Atena. Bwe yamala okubalagira okugamba Sila ne Timotewo bajje mangu gy'ali, ne basitula.
16
Pawulo ng'akyabalindirira mu Atena, omwoyo gwe ne gwevujjuula okulaba ng'ekibuga kyonna kijjudde ebifaananyi bya balubaale.
17
N'awakananga buli lunaku mu sinaagooga n'Abayudaaya ko n'abasomi, era ne mu mbuga n'abo abaabangayo.
18
Abafilozofa abaayitibwanga Abeepikuri n'Abastoyiki ne bawakananga naye; abamu ne bagamba nti: “Omukubi w'amatama ono ayagala kugamba ki nno?” Ko abalala nti: “Afaanana ng'omuyigiriza wa balubaale abagwira.” Anti yali abayigiriza Yezu n'okuzuukira.
19
Ne bamukwata, ne bamutwala mu Areyopago, ne bagamba nti: “Enjigiriza eno empya gy'obuulira tuyinza okumanya bw'eri?
20
Ndaba ebyo by'oleeta biggya mu matu gaffe; awo nno twandyagadde okumanya kye bitegeeza.”
21
Kale nno ab'e Atena n'abagwira abaalimu tebaalina kye bakola, wabula okwogera n'okuwuliriza ebiggya.
22
Awo Pawulo n'ayimirira wakati mu Areyopago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Atena, nga bwe ndaba mu buli ngeri muli bantu basomi.
23
Kubanga bwe mbadde mpitaayita nga ŋŋenda ntunuulira ebintu byammwe ebitukuvu, ne nsanga omwaliiro okuwandiikiddwa nti: OLWA KATONDA ATAMANYIDDWA. Awo nno kye musinza nga temukimanyi ky'ekyo kye mbategeeza.
24
Katonda eyakola ensi na byonna ebirimu, kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi, tasula mu biggwa ebyakolebwa emikono gy'abantu,
25
era taweerezebwa na mikono gy'abantu, kyenkana ng'aliko kye yeetaaga, anti ye yawa bonna obulamu n'omukka era na buli kintu.
26
Ate ye yayisa mu muntu omu buli eggwanga ly'abantu, babeere ku lukalu lwonna olw'ensi, ng'akakasizza ebiro n'ensalo z'obutaka bwabwe,
27
Katonda bamunoonyenga, bejjuukiriza bamuggukako ne bamuzuula; sso nno buli omu tamuli wala,
28
‘kubanga mu ye mwe tubeerera abalamu, mwe tutambulira, mwe tubeererawo;’ ng'abayimbi bammwe bwe bagamba nti: ‘Manyanga ddala tuli ba lulyo lwe.’
29
Oba nno tuli ba lulyo lwa Katonda, tetwandirowoozezza ate nti Katonda afaanana nga zaabu oba ffeeza, yadde ejjinja, ekifaananyi ekivudde mu mulimu oba mu kugerengetanya kw'omuntu.
30
Obudde obw'obutamanya obwo Katonda teyabufaako, naye kaakano alagira abantu bonna wonna babonerere.
31
Kubanga yassaawo olunaku lw'aliramulirako ensi yonna mu butuufu, nga yeeyamba omuntu gwe yassaawo, n'amukakasa mu bantu bonna ng'amuzuukiza mu bafu.”
32
Bwe baawulira ku kuzuukira kw'abafu, abamu ne baseka, naye abalala ne bagamba nti: “Tulikuwulira olulala ku ekyo.”
33
Pawulo n'abavaako bw'atyo.
34
Kyokka abasajja abamu ne bamwegattako ne bakkiriza. Mu abo mwe mwali Diyoniziyo Omwareyopago, ko n'omukyala erinnya lye Damari n'abalala be baali nabo.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28