bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 16
Acts 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
N'ajja e Derube n'e Lisitura. Waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Timotewo, mutabani w'omukazi Omuyudaaya eyali akkirizza naye kitaawe nga Mugereeki.
2
Yali ayogerwako bulungi abooluganda ab'omu Lisitura n'ab'omu Yikoniyo.
3
Pawulo n'ayagala atambulenga naye; n'amuddira n'amutayirira olw'Abayudaaya abaali mu kifo ekyo, kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe Mugereeki.
4
Bwe baalinga bayitaayita mu bibuga, nga batuusa ku bantu ebyasalibwawo Abatume n'abakadde abaali e Yeruzaalemu babikwate.
5
Bwe kityo Ekleziya ne zinywezebwa mu kukkiriza, buli lunaku nga zeeyongera omuwendo.
6
Naye ne bayita mu kitundu ky'e Firugiya ne Galasiya, Mwoyo Mutuukirivu ng'amaze okubaziyiza okuyigiriza ekigambo ky'Omukama mu Aziya.
7
Awo ne batuuka emitala wa Miziya, ne bagezaako okugenda mu Bisiniya, naye Mwoyo wa Yezu n'atabaganya;
8
bwe batyo e Miziya ne bayitawo buyisi, ne bakkirira e Turowa.
9
Ekiro, Pawulo n'alabikirwa: omusajja ow'e Masedoniya yali ayimiridde awo ng'amulaajanira nti: “Jjangu eno e Masedoniya otuyambe.”
10
Bwe yamala okufuna okulabikirwa okwo, amangu ago ne tuteesa okugenda e Masedoniya, nga tutegedde nga Katonda y'atuyise okubayigiriza Evangili.
11
Ne tusaabala, ne tugenda e Turowa, ne tujjira ddala e Samoturakiya, ate olwaddirira ne tugenda e Neyapoli;
12
ne tuva eyo ne tulaga e Filippi, ekibuga ekikulu mu ssaza ly'e Masedoniya, era ettwale ly'Abaroma. Mu kibuga kino twamalamu ennaku ntonotono.
13
Ku lunaku lwa Sabbaato, ne tugenda ebweru w'omulyango gw'ekibuga, ku lubalama lw'omugga gye twalowooza nti gye beegayiririra, ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye.
14
Omukazi omu n'atuwulira, erinnya lye Lidiya, ng'ava mu kibuga ky'e Tiyatira; yali atunda engoye eza kakobe, ng'asinza Katonda. Omukama n'amwerula omutima ategereze Pawulo bye yali agamba.
15
Bwe yamala okubatizibwa awamu n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Obanga mundabye nga ndi mwesigwa eri Omukama, muyingire mu nnyumba yange, mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
16
Olumu, bwe twali tugenda mu kifo eky'okwegayiririramu, ne wabaawo omuwala eyatusisinkana, ng'aliko omwoyo omulaguzi. Yali agaggawazizza nnyo bakama be ng'alagula.
17
N'agoberera Pawulo naffe ng'ajja aleekaana ng'agamba nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Ali Waggulu Ddala, abababuulira ekkubo ery'okulokoka.”
18
Ekyo n'akikolera ennaku nnyingi. Pawulo n'anyiiga, n'akebuka, n'agamba omwoyo nti: “Nkulagira mu linnya lya Yezu Kristu, mumaamukeko.” Ne gumumaamukako mu kaseera ako.
19
Bannyini muwala bwe baalaba eribadde essuubi lyabwe ery'okufuna nga ligenze, ne bakwata Pawulo ne Sila, ne babawalaawala okubatwala mu mbuga eri abalamuzi.
20
Bwe baabatuusa eri abalamuzi ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya, bajagalaza ekibuga kyaffe;
21
bayigiriza empisa ffe ng'Abaroma ze tutakkirizibwa kutwala n'andibadde okuyisa.”
22
Awo ekibiina ne kibafubutukira wamu; abalamuzi ne babambula, ne balagira bakubwe emiggo.
23
Bwe baamala okubateekako ebiwundu bingi, ne babasuula mu kkomera, ne balagira omukuumi w'ekkomera abakuume butiribiri.
24
Bwe yamala okukuutirwa atyo, n'abassa mu kkomera ery'omunda, amagulu gaabwe n'agasibira mu nvuba.
25
Mu ttumbi, Pawulo ne Sila baali beegayirira nga batendereza Katonda mu nnyimba n'abasibe abalala nga babawuliriza.
26
Amangu ago ne wabaawo musisi ow'amaanyi, omwaliiro gw'ekkomera ne gukankana; era mangu ddala enzigi zonna ne zeggulawo, enjegere z'abasibe bonna ne zeeta.
27
Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera zonna zeggudde, n'asowola ekitala kye; yali agenda kwetta, anti yali alowooza nti abasibe babombye.
28
Pawulo n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Teweekola kabi kubanga ffenna weetuli wano.”
29
Awo n'asaba emimuli, n'ayingira bunnambiro, n'agwa mu maaso ga Pawulo ne Sila ng'akankana era ng'atidde.
30
N'abafulumya ebweru, n'abagamba nti: “Bassebo, kiki kye ndagirwa okukola okulokoka?”
31
Bo ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama waffe Yezu Kristu lw'onoolokoka, ggwe n'ennyumba yo yonna.”
32
Ne bamuyigiriza ekigambo kya Katonda, na bonna abaali mu nnyumba ye.
33
Ku ssaawa eyo yennyini ey'ekiro, n'abatwala n'abanaaza ebiwundu byabwe, naye yennyini n'abatirizibwawo wamu n'ennyumba ye.
34
Bwe yamala okubatuusa ewuwe, n'abaleetera emmere, n'asanyuka wamu n'ennyumba ye yonna kubanga yali akkirizza Katonda.
35
Bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma abaserikale nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.”
36
Omukulu w'ekkomera ebigambo ebyo n'abibuulira Pawulo: “Abalamuzi bantumye okubata; kale nno musituke, mugende mirembe.”
37
Naye Pawulo n'abagamba nti: “Bamaze okutukubira mu lujjudde, ffe abatasingiddwa musango, ffe abasajja Abaroma, ne batukasuka mu kkomera, kati batuteera mu nkukutu? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggyemu.”
38
Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi ne batya bwe baawulira nga Baroma,
39
Ne bajja ne babeetondera, ne babaggyamu, ne babeegayirira bave mu kibuga.
40
Bwe baava mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Lidiya. Bwe baamala okulaba ku booluganda, ne babagumya, ne bagenda.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28