bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 5
Acts 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
1
Omusajja omu erinnya lye Ananiya, wamu ne mukazi we Saffira, yatunda ekibanja,
2
naye ne yeesigalizaako ku muwendo ogwatundibwamu, nga ne mukazi we akimanyiiko. N'addira ekitundu ekimu n'akissa ku bigere by'Abatume.
3
Petero n'amugamba nti: “Ananiya, Sitaani lwaki ajjuzizza omutima gwo okulimba Mwoyo Mutuukirivu ne weesigalizaako ekitundu ku muwendo ogutundiddwa mu nnimiro?
4
Bw'ebadde tennatundibwa, tebadde yiyo? Bw'emaze okutundibwa, tebadde mu buyinza bwo? Lwaki nno olowoozezza ekigambo ekyo mu mutima gwo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.”
5
Ananiya olwawulira ebigambo ebyo, n'agwa wansi, n'akalirawo. Ensisi ey'amaanyi n'ekwata bonna abaakiwulira.
6
Abavubuka ne bayimuka ne bamuggyawo, ne bamufulumya ne bamuziika.
7
Waali waakayita ebbanga nga lya ssaawa ssatu, ne mukazi we n'ayingira, nga tamanyi bifuddeyo.
8
Petero n'amugamba nti: “Mbuulira obanga ennimiro ogwo gwe muwendo gwe mwagitunze.” N'addamu nti: “Yee, gwe guugwo.”
9
Petero n'amugamba nti: “Lwaki mwetabye wamu okukema Mwoyo w'Omukama? Wulira ebigere by'abo abaziise balo biri ku mulyango; naawe bajja kukufulumya.”
10
Amangu ago omukazi n'agwa ku bigere bye, n'akalirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamufulumya ne bamuziika kumpi ne bba.
11
Ensisi ey'amaanyi n'ekwata Ekleziya yenna ne bonna abaawulira ebintu bino.
12
Abatume ne bakola obubonero n'ebyewuunyo bingi mu bantu. Bonna nga babeera wamu ku kisasi kya Solomoni.
13
Naye mu balala nga temuli aguma kubeegattako, kyokka ng'abantu babagulumiza.
14
Bangi abakkiriza, ebibiina by'abasajja n'abakazi, ne beegatta ku Mukama.
15
Baaleetanga n'abalwadde baabwe ku makubo, ne babagalamiza ku bitanda ne ku nnyinyo, Petero ng'abadde ayita, waakiri ekisiikirize kye kibatuukeko.
16
Era abantu bangi ne beesomba okuva mu bibuga ebyetoolodde Yeruzaalemu, nga baleeta abalwadde n'abakwatiddwa emyoyo emigwagwa, bonna ne bawonyezebwa.
17
Naye kabona omukulu n'ayimuka na bonna abaali naye, kwe kugamba nti ekibiina ky'Abasaddukaayo,
18
obuggya nga bubakutte, ne bakwata Abatume ne babasuula mu kkomera ery'olukale.
19
Naye malayika w'Omukama n'ajja ekiro n'aggula enzigi z'ekkomera, n'abafulumya, n'abagamba nti:
20
“Mugende muyimirire mu Kiggwa muyigirize abantu ebigambo byonna eby'Obulamu buno.”
21
Nabo olwawulira ebyo, ne bagenda mu Kiggwa mu matulutulu, ne bayigiriza. Awo kabona omukulu n'ajja n'abo abaali naye, ne bayita olukiiko olukulu n'olukiiko lwonna olw'abakadde olwa Yisirayeli, ne batumya mu kkomera baleetebwe.
22
Naye abaserikale bwe baatuukayo, ne batabasangamu mu kkomera, ne baddayo, ne bagamba nti:
23
“Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.”
24
Omukuumi w'Ekiggwa ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basoberwa ku bantu bano ne ku kinaava mu bino.
25
Awo omu we yajjira, n'ababuulira nti: “Abasajja be mwatadde mu kkomera baabali mu Kiggwa, bayimiridde bayigiriza abantu.”
26
Omukuumi n'abaserikale ne bagenda, ne babaleeta, naye nga si na kukaka, anti baali batya abantu okubakuba amayinja.
27
Bwe baabatuusa, ne babayimiriza mu lukiiko. Kabona omukulu n'ababuuza,
28
n'abagamba nti: “Twabakuutira obutageza kuyigiriza mu linnya eryo, sso laba kati Yeruzaalemu kyonna mukibunyizza enjigiriza yammwe, ate mwagala n'okussaako omusaayi gw'omuntu oyo.”
29
Petero n'abatume ne babaddamu nti: “Tuteekwa okuwulira Katonda okusinga abantu.
30
Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yezu gwe mwatta nga mumuwanika ku muti.
31
Oyo Katonda yamugulumiza ku mukono gwe ogwa ddyo ng'Omufuzi era Omulokozi, alyoke awe Yisirayeli okubonerera n'okusonyiyibwa ebibi.
32
Naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, ko ne Mwoyo Mutuukirivu Katonda gw'agabidde bonna abamuwulira.”
33
Bwe baawulira ebigambo ebyo, obusungu ne batwagga, ne balowooza okubatta.
34
Naye Omufarisaayo omukiise mu lukiiko, erinnya lye Gamalyeli, omuyigiriza w'amateeka, assibwamu abantu ekitiibwa, n'ayimirira mu lukiiko, n'alagira abasajja bafulumizibweko akabanga.
35
N'abagamba nti: “Basajja Abayisirayeli, mulowooze ku kye mugenda okukolera abantu bano.
36
Ebbanga si ddene emabega, waagenda ne wasitukawo Tewuda, eyeeyitanga omuntu ow'ekitalo, abasajja ng'ebikumi bina ne bamwegattako; naye yattibwa, na bonna abaali bamugoberera ne babuna emiwabo; temuli kyavaamu.
37
Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu budde obw'okwewandiisa, n'asika abamu okumugoberera; n'oyo n'azikirira, na bonna abaali bamugoberera ne basaasaana.
38
Kale nno kyenva mbagamba nti abantu bano mubaveeko, mubaleke, kubanga entegeka eno n'omulimu guno obanga bya bantu, bijja kuzikirira.
39
Naye obanga biva wa Katonda, temujja kusobola kubizikiriza; ate mpozzi mujja kwesanga nga mulwanyisa Katonda.”
40
Awo nabo ne bamukkiriza. Abatume ne babayita munda, ne babaswanyuula, ne babakuutira obutayogera n'akatono mu linnya lya Yezu, ne babata.
41
Ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyufu olw'okusaanira okutoowazibwa okubeera erinnya.
42
Ate buli lunaku mu Kiggwa n'awaka nga tebayosa kuyigiriza n'okulangirira Kristu Yezu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28