bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 27
Acts 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Bwe kyamala okusalibwawo nti twali ba kuwunguka tugende mu Yitale, Pawulo n'abasibe abalala ne babakwasa senturiyo, erinnya lye Yuliyo, ow'ekibinja ekiyitibwa ekya Kabaka.
2
Ne tusaabala eryato lya Aduramuttiyo eryali ligenda okuwunguka nga liyitira ku myalo egiri ku lubalama lwa Aziya, ne tusimbula nga tuli ne Aristariko Omumasedoni ow'e Tessalonika.
3
Ku lunaku olwaddako ne tugoba e Sidoni. Yuliyo n'ayisa bulungi Pawulo, n'amukkiriza okugenda mu mikwano gye bamulabirire.
4
Ne tusitula okuva awo, ne tuvuga nga tuyita kumpi ne Kupuro; kubanga empewo zaali zituva mu maaso.
5
Bwe twamala okusala ennyanja y'e Silisiya ne Pamfiliya, ne tugoba e Mira eky'omu Lukiya.
6
Senturiyo n'asangawo eryato ly'e Alekisanduriya nga liraga mu Yitale, n'atusaabaza omwo.
7
Ne tumala ennaku nnyingi nga tugenda tuseeyeeya mpolampola, ne tugoba na kuwaliriza mu bulumba bwa Kunido, anti empewo nga tetuganya; ne tuvuga nga tuyita kumpi ne Kureti ku luuyi olwa Salumone.
8
Ne tugenda nga tukikiitana nga tugoba olubalama okutuusa lwe twagoba mu kifo ekiyitibwa Omwalo Omulungi, okumpi nakyo awali ekibuga Lasaya.
9
Ebbanga olwo nga liyiseewo ddene, nga n'okuwunguka kumaze okuba okw'akabi, n'okusiiba nakwo nga kumaze okuyita, Pawulo n'abalabula nti:
10
“Basajja, ndaba ng'olugendo lujja kubeera lwa kabi n'okufiirwa kunene, si kwa bintu na lyato kyokka, naye n'obulamu bwaffe bwennyini.”
11
Naye senturiyo yasinga kuwuliriza mugoba ne nnannyini lyato okusinga Pawulo bye yali agamba.
12
Kubanga omwalo gwali tegumalikamu budde bwa butiti, abasinga obungi ne bateesa basitule okuva awo, omukisa nga gubakutte bagobe e Fenikisi, omwalo gwa Kureti ogutunuulidde ebugwanjuba mu mambuka n'ebugwanjuba mu maserengeta, bamalire awo obudde obw'obutiti.
13
Empewo ez'emaserengeta bwe zaafuuwa empolampola, ne balowooza nti ky'ekyo kye babadde beetaaga; ne basitula ennanga, ne bavuga nga bakiiba Kureti nga bagoba olubalama.
14
Waayitawo ebbanga ttono, empewo ey'omuggundu eyitibwa Ewurakulo n'ebajjira ng'efuluma ku kizinga.
15
Eryato ne likwatibwa nga terisobola kugumira muyaga; kwe kulireka, ne tumala gakuŋŋunsibwa tutyo.
16
Ne tusindikibwa emmanga ku kizinga kye bayita Kulawuda, ne tuwaliriza nnyo okubakiriza akaato.
17
Bwe baamala okukalinnyisa, ne beetoolooza eryato emiguwa. Olw'okutya nti bayinza okutomera enjazi ku Siruti, ne bassa ebivuga eryato, ne bamala gakuŋŋunsibwa batyo.
18
Omuyaga nga gutusinzizza amaanyi, ku lunaku olwaddako, ne basooka okusuulako ebintu ebimu mu nnyanja;
19
ku lunaku olwokusatu n'ebivuga eryato byennyini ne babikasuka n'emikono gyabwe.
20
Ne wayita ennaku nnyingiko, ng'enjuba n'emmunyeenye tebirabikako, ng'omuyaga mungi gukunta, essuubi ery'okuwona ne liviibwako.
21
Nga bamaze ebbanga ddene nga tewali mmere, Pawulo n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Basajja, singa mwampuliriza ne mutava Kureti, tewandibaddewo kwonooneka na kufiirizibwa kuno.
22
Kale nno mbasaba mugume omwoyo; kubanga mpaawo bulamu bunaatokomoka, wabula lyato lyokka.
23
Kubanga malayika wa Katonda antwala era gwe mpeereza, yayimiridde we ndi ekiro kino,
24
n'agamba nti: ‘Pawulo, leka kutya, olina okuyimirira mu maaso ga Kayisari; laba, Katonda akuwadde abo bonna abasaabadde naawe.’
25
Kale nno basajja, mugume omwoyo kubanga neesiga Katonda nga kinaaba bwe kityo nga bwe yakigambye.
26
Mazima tujja kusuulibwa ku kizinga ekimu.”
27
Mu kiro eky'ekkumi n'ebina, bwe twali tukuŋŋunsibwa ku nnyanja Aduriya, mu ttumbi, abagoba ne bakenga nga twali tusemberera olukalu.
28
Bwe baapima obuwanvu bw'amazzi, ne basangawo ebifuba ng'amakumi abiri. Ate bwe beeyongerayo mu maaso, ne bapima, ne basangawo kkumi na bitaano.
29
Olw'okutya nti twali tuyinza okutomera enjazi, ne basuula ennanga nnya ku luuyi lw'ekiwenda, ne basabirira obudde bukye.
30
Abagoba abamu baayagala okudduka mu lyato, ne bassa akaato ku nnyanja nga beekwasa nti bagenda kusuula nnanga ku luuyi lw'ensanda.
31
Pawulo n'agamba senturiyo n'abaserikale nti: “Abagoba bano bwe batasigala mu lyato temulina buwonero.”
32
Awo abaserikale ne basala emiguwa gy'akaato, ne bakaleka ne kagenda.
33
Obudde nga bukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya ng'emitima gibeewanise, awatali mmere, nga temulina ke mulidde;
34
kale nno mbeegayiridde, mulye ku mmere; ejja kubazzaamu amaanyi, kasita tewajja kubeera luviiri na lumu luva ku mutwe gwa muntu n'omu ku mmwe.”
35
Bwe yasirissa ebyo, n'akwata omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso ga bonna, n'agumenyamu, n'atandika okulya.
36
Olwo bonna ne baddamu omwoyo, nabo bennyini ne balya ku mmere.
37
Ffenna mu lyato twalimu abantu ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga.
38
Bwe baamala okukkuta emmere, ne bateewuluzaako ku lyato nga basuula eŋŋano mu nnyanja.
39
Obudde bwe bwakya, olukalu olwo ne batalutegeera; kyokka ne balengera ekyondo nga kiriko olubalama, ne bateesa okugobyako eryato bwe baba nga basobola.
40
Awo ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, era ne basumululirawo n'emiguwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga ery'omu maaso eri empewo, ne boolekera olubalama.
41
Bwe baayingirira ekyereero, eryato ne balitomeza, ensanda n'eyingira muli, n'esikkattira nga tekyenyeenya, ekiwenda ne kimenyekamu olw'amaanyi g'amayengo.
42
Abaserikale ne bateesa okutta abasibe, sikulwa nga wabaawo awuga n'abomba.
43
Naye senturiyo olw'okwagala okuwonya Pawulo, n'abagaana okutuukiriza ekirowoozo kyabwe. N'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu nnyanja bagobe ettale,
44
abasigaddewo, abamu bagendere ku mbaawo, abalala ku bitundutundu by'eryato. Bonna bwe batyo ne batuuka ku lukalu nga bawonye.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28