bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 8
Acts 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Sawulo n'akkirizaganya n'okuttibwa kwe. Ku olwo ekiyigganyizo ekinene ne kisitukira Ekleziya y'e Yeruzaalemu. Bonna, okuggyako Abatume, ne basaasaanira mu bitundu by'e Buyudaaya ne Samariya.
2
Abasajja abasomi ne baziika Stefano, ne bamukungubagira nnyo.
3
Ye Sawulo n'agezaako okuzikiriza Ekleziya; yayingiranga mu mayumba n'awalaawala abasajja n'abakazi, n'abassa mu kkomera.
4
Abaali basaasaanye ne bayitaayita nga bayigiriza ekigambo.
5
Filippo n'agenda mu kibuga ky'Abasamariya, n'ayigiriza abantu baayo Kristu.
6
Ebibiina bwe byalaba obubonero bwe yakolanga, ne biwuliriza n'emmeeme emu ebigambo bya Filippo bye yayigirizanga.
7
Kubanga emyoyo emigwagwa gyavanga mu bangi be gyali gikutte nga gireekaana n'eddoboozi ddene; n'abakonzimbye bangi n'abalema ne bawonyezebwa.
8
Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo.
9
Waaliwo omusajja, erinnya lye Simoni, emabegako eyali akoze obulaguzi mu kibuga omwo, ng'awuniikiriza ensi ya Samariya, nga yeeyita ow'ekitalo.
10
Bonna nga bamuwulira, okuva ku muto okutuuka ku mukadde, nga bagamba nti: “Ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amakulu.”
11
Ne bamuwulirizanga, kubanga yali abeewuniikirizza ebbanga ddene n'obufuusa bwe.
12
Bwe bakkiriza nga Filippo amaze okuyigiriza ku bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yezu Kristu, abasajja n'abakazi ne babatizibwa.
13
Mu bbanga eryo ne Simoni naye n'akkiriza. Bwe yamala okubatizibwa, n'asigala ne Filippo. Bwe yalaba obubonero n'ebyewuunyo eby'amaanyi ebikolebwa, n'awuniikirira.
14
Abatume abaali mu Yeruzaalemu bwe baawulira nga Samariya akkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Petero ne Yowanna,
15
abakkirirayo ne babasabira bafune Mwoyo Mutuukirivu,
16
anti mu bo mwali temunnabaamu n'omu gw'azzeeko, kubanga baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yezu.
17
Ne babassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.
18
Simoni bwe yalaba nga Mwoyo Mutuukirivu aweebwa abatume bwe bassa emikono ku bantu, n'abawa ensimbi,
19
n'abagamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, nange buli gwe nassangako emikono afune Mwoyo Mutuukirivu.”
20
Naye Petero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza nti ekirabo kya Katonda kigulibwa nsimbi.
21
Mu bintu bino tolinaamu kitundu wadde omugabo, kubanga omutima gwo si mutereevu mu maaso ga Katonda.
22
Bonerera ekibi kyo kino, weegayirire Katonda, oboolyawo ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo ne kikusonyiyibwa.
23
Kubanga ndaba ng'oli mu bukaawu bw'endulwe ne mu nvuba z'obugwenyufu.”
24
Simoni n'ayanukula nti: “Munsabire ew'Omukama, ku ebyo byonna bye mwogeddeko wabulewo ekintuukirira.”
25
Bwe baamala okukakasa n'okubuulira ekigambo ky'Omukama, ne baddayo e Yeruzaalemu nga bagenda bayigiriza Evangili mu byalo bingi eby'Abasamariya.
26
Awo malayika w'Omukama n'agamba Filippo nti: “Situka odde emaserengeta ng'okutte ekkubo erikkirira okuva e Yeruzaalemu okulaga e Gaza; lino ddungu.”
27
N'asituka n'agenda. Kati nno omusajja Omwesiyopiya, omulaawo, omukungu wa nnaabakyala Kandake ow'Abasiyoopiya eyali akuuma enkuluze ze zonna, yali azze mu Yeruzaalemu okusinza.
28
Yali addayo ng'atudde mu kigaali kye ng'asoma Yisaaya omulanzi.
29
Awo Mwoyo n'agamba Filippo nti: “Weeyongereyo okwatagane n'ekigaali ekyo.”
30
Filippo n'addukanako, n'amuwulira ng'asoma Yisaaya omulanzi, n'amubuuza nti: “Olowooza by'osoma obitegeera?”
31
Ye n'addamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annambika?” N'asaba Filippo alinnye atuule naye.
32
Ekitundu ky'Ekiwandiiko kye yali asoma kye kino: “Yatwalibwa ng'akaliga akatwalibwa mu bbaagiro, ng'endiga etanyega mu maaso g'abagisalako ebyoya; bw'atyo naye teyayasamya kamwa ke.
33
Mu bwetoowaze bwe tebaamusalira mu bwenkanya. Ezzadde lye ani ayinza okulittottola? Anti obulamu bwe bwakwakkulwa ku nsi.”
34
Omulaawo n'agamba Filippo nti: “Nkwegayiridde, ekyo omulanzi akyogera ku ani? Ku ye yennyini, nandiki ku mulala?”
35
Awo Filippo n'ayasamya akamwa ke n'asookera ku Kiwandiiko ekyo, n'amubuulira Evangili ya Yezu.
36
Bwe baali mu kkubo nga bwe bagenda, ne batuuka ku mazzi, omulaawo n'agamba nti: “Laba amazzi! Ekindobera okubatizibwa kiki?”
38
N'alagira okuyimiriza ekigaali; bombi, Filippo n'omulaawo, ne bakka mu mazzi, n'amubatiza.
39
Bwe baava mu mazzi, Mwoyo w'Omukama n'atwala Filippo; omulaawo teyaddayo kumulabako, n'ayongera olugendo lwe nga musanyufu.
40
Filippo n'alabwako mu Azoto; n'ayita ng'ayigiriza mu bibuga byonna okutuusa lwe yatuuka e Kayisariya.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28