bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 20
Acts 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
Akajagalalo bwe kaggwa, Pawulo n'ayita abayigirizwa, n'abagumya, n'abasiibula, n'asitula okulaga mu Masedoniya.
2
Bwe yamala okulambula ebitundu ebyo, n'okubagumya n'ebigambo bingi, n'ajja mu Bugereeki.
3
Eyo yamalayo emyezi esatu. Bwe yali ali kumpi okusaabala okugenda mu Siriya, Abayudaaya ne bamusalira enkwe, kwe kusalawo adde ng'ayitira mu Masedoniya.
4
Sopateri ow'e Beroya, mutabani wa Purro, n'amuwerekerako, ne Aristariko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gayiyo ow'e Derube, era ne Timotewo, ssaako ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Aziya.
5
Abo ne batukulemberamu, ne batulindirira e Turowa.
6
Ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukuse bwe zaayita, naffe ne tusaabala okuva e Filippi, ne tubatuukako e Turowa mu nnaku ttaano; eyo ne tumalayo ennaku musanvu.
7
Ku lunaku olusooka mu wiiki, bwe twakuŋŋaana okumenya omugaati, Pawulo kubanga nga yali wa kusitula nkeera, n'awanvuya ku kuyigiriza kwe okutuusiza ddala mu ttumbi.
8
Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettawaaza nnyingi.
9
Omulenzi omu, erinnya lye Ewutuko, yali atudde awo mu ddirisa, otulo tungi ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng'ayigiriza, olw'otulo okumugonza, n'awanuka ku mwaliiro ogwokusatu, n'agwa wansi, ne bamusitulawo kumpi ng'afudde.
10
Pawulo n'akka gy'ali n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Muleke kutya, akyalimu akalamu.”
11
N'ayambuka waggulu, n'amenya omugaati, nalya, n'ayogera nabo ebbanga ddene okutuusa obudde okukya, n'alyoka agenda.
12
Omulenzi ne bamuggyayo nga mulamu, ne bakubagizibwa nnyo.
13
Ffe ne tweyongerayo, ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso, nga twagala Pawulo tumuggye awo, kubanga yali ateesezza kuyita ku lukalu.
14
Bwe yatusisinkana e Asso, ne tumusaabaza, ne tujja e Mitulene.
15
Ne tusaabalira eyo; olunaku olwaddirira ne tutuuka emitala wa Kiyo. Ate olwaddako ne tugoba e Samo; enkeera w'olwo ne tutuuka e Mileto.
16
Pawulo yali ateesezza mu Efezi ayite buyisi, aleme kulwa mu Aziya, kubanga yali yeeyuna okubeera mu Yeruzaalemu ku lunaku lwa Pentekooti singa aba asobodde.
17
Awo n'ayima e Mileto n'atuma mu Efezi, n'ayita abakadde b'Ekleziya bajje gy'ali.
18
Bwe baatuuka w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nga bwe nayisanga mu mmwe ebbanga lyonna, okuviira ddala ku lunaku lwe nalinnya ekigere kyange mu Aziya,
19
nga mpeereza Omukama n'obwetoowaze bwonna, mu maziga n'ebigezo bye nasanga olw'enkwe z'Abayudaaya,
20
nga bwe saddirira mu kubategeeza ekyandibagasizza, n'okubayigiriza mu lwatu nga nva nnyumba ku nnyumba,
21
nga njulira n'amaanyi eri Abayudaaya n'Abagereeki beenenye, badde eri Katonda, bakkirize Omukama Yezu Kristu.
22
Kale nno nzuuno ŋŋenda e Yeruzaalemu, nga nsibiddwa mu Mwoyo; simanyi na birintuukirira nga ndi eyo,
23
wabula Mwoyo Mutuukirivu ankakasa kino mu buli kibuga nti nvuba na nnaku bye binnindiridde.
24
Naye obulamu bwange sibulabamu kantu, si bwa muwendo gye ndi, kavuna mmaliriza olugendo lwange n'omulimu gwange Omukama Yezu gwe yankwasa, anti kwe kutegeeza Evangili y'eneema ya Katonda.
25
Wuuno kati nze mmanyi nga mmwe mwenna be nayitaayitamu nga mbayigiriza obwakabaka bwa Katonda temukyaddayo kulaba ku maaso gange.
26
Kyenva nkakasa mu maaso gammwe olwa leero nti sivunaanibwa musaayi gwa muntu n'omu ku mmwe,
27
kubanga saddirira mu kubabuulira byonna Katonda bye yateesa.
28
Mwekuumenga ku lwammwe ne ku lw'eggana lyonna Mwoyo Mutuukirivu lye yabassaako ng'abalabirizi mulyoke mulunde Ekleziya wa Katonda gwe yeefunira n'omusaayi gwe.
29
Mmanyi nga bwe ndimala okugenda, emisege emikambwe giribayingirira nga tegisaasira ggana;
30
ne mu mmwe mwennyini mulisibukamu abasajja abayigiriza ebikyamu, basikirize abayigirizwa babagoberere.
31
Awo nno mutunule nga bwe mujjukira nga bwe namala emyaka esatu nga soosa kubabuulirira buli omu mu mmwe, ekiro n'emisana, nga kwe ntadde n'amaziga.
32
Na kaakano, mbakwasizza Katonda n'ekigambo ky'eneema ye ekiyinza okubazimba n'okubawa obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.
33
Ssegombanga ffeeza oba zaabu yadde ekyambalo ky'omuntu yenna.
34
Nammwe mumanyi, nti emikono gyange gino gye gyanfuniranga bye neetaga, awamu n'eby'abo abaalinga nange.
35
Mu byonna, nabalagirira nti tuteekwa okutegana tutyo okujuna abateeyinza, nga tujjukira ekigambo ky'Omukama kye yagamba nti: ‘Okugaba kwesiimisa okusinga okufuna.’ ”
36
Bwe yasirissa ebyo, n'afukamira ne yeegayirira nabo bonna.
37
Bonna ne bakaaba, ne bamugwa mu kifuba, ne bamunywegera.
38
Ekyasinga okubanakuwaza kye kigambo kye yali abagambye nti tebakyaddayo kulaba ku maaso ge. Ne bamuwerekera okumutuusa ku lyato.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28