bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 25
Acts 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
Festo bwe yatuuka mu ssaza lye, oluvannyuma lw'ennaku ssatu, n'ava e Kayisariya n'ayambuka e Yeruzaalemu.
2
Bakabona abakulu n'abantu abakulu ab'Abayudaaya ne bamuloopera Pawulo. Ne bamwegayirira
3
abakolere ekisa, amusindike e Yeruzaalemu, sso nga baali bakola lukwe kumuttira mu kkubo.
4
Festo n'addamu nti Pawulo akuumirwa Kayisariya ate naye ng'anaatera okugendayo.
5
N'agamba nti: “Awo nno abalina obuyinza mu mmwe bajje tuserengete wamu; oba aliko omusango gwonna, bamulumirize.”
6
Bwe yamala nabo ennaku ezitasssuka munaana oba kkumi, n'akkirira nabo e Kayisariya. Ku lunaku olwaddako, n'atuula ku ntebe y'obulamuzi, n'alagira Pawulo aleetebwe
7
Bwe yatuuka, Abayudaaya abaali bavudde e Yeruzaalemu, ne bamwebungulula nga bamuvunaana ensonga nnyingi ate ennene, naye nga tebasobola kuzikakasa.
8
Pawulo mu kwewozaako n'agamba nti: “Nze Etteeka sirikolanga kibi, wadde okukikola Ekiggwa oba Kayisari.”
9
Naye Festo n'ayagala okusanyusa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Okkiriza okwambuka e Yeruzaalemu owozesebwe eyo ku ebyo mu maaso gange?”
10
Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe y'obulamuzi eya Kayisari we nnina okuwozesebwa. Abayudaaya sibasobyanga, nga naawe bw'omanyidde ddala.
11
Obanga nasobya, obanga nnina kye nakola ekiŋŋwanyiza okufa, kale sigaana kufa. Naye obanga bano bye banvunaana temuli kantu, mpaawo muntu anampaayo gye bali. Njulidde Kayisari.”
12
Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'olukiiko, n'addamu nti: “Ojulidde Kayisari, kale ewa Kayisari gy'onoogenda.”
13
Nga wayiseewo ennaku, kabaka Agrippa ne Berunike ne bajja e Kayisariya okulamusa ku Festo.
14
Nga bamazeeyo ennaku nnyingiko, Festo n'ayanjulira kabaka ensonga za Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja Felikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe.
15
Bwe nali e Yeruzaalemu, bakabona abakulu n'abakadde ab'Abayudaaya bambuulira ku ye, ne banneegayirira okumusalira omusango.
16
Ne mbaddamu nti eyo si mpisa ya Baroma okuwaayo oli ng'omuwawaabirwa tannasisinkana maaso ku maaso n'abamuwawaabira, era nga tannaweebwa mukisa kwewozaako ku ebyo ebimuwawaabirwa.
17
Bwe baakuŋŋaanira wano, saabandaala, ku lunaku olwaddako, ne ntuula ku ntebe y'obulamuzi, ne ndagira omusajja bamuleete.
18
Abawaabi bwe beesimbawo, tebaaleeta nsonga ya bumenyi bwa mateeka nga nze bwe nali nnindiridde.
19
Wabula baalina nkaayana naye ku ddiini yaabwe ne ku Yezu omu mbu eyafa, naye Pawulo gwe yali akakasa nti mulamu.
20
Nze bwe nasoberwa ku ngeri y'okubuulirizaamu ku bino, ne mmubuuza obanga akkiriza okugenda e Yeruzaalemu n'okuwozesebwa eyo ku ebyo.
21
Ye Pawulo n'asaba akuumirwe mu busibe okutuusa Kabaka Omutiibwa lw'aliwa ensala ye. Ne mmulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisari.”
22
Agrippa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira ku musajja oyo yennyini.” Festo n'agamba nti: “Kale, enkya onoomuwulira.”
23
Enkeera, Agrippa ne Berunike, ne bajja mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu masengere nga bali n'abakulu b'abaserikale n'abakulu b'ekibuga. Festo n'alagira ne baleeta Pawulo.
24
Festo n'agamba nti: “Agrippa Kabaka, nammwe mwenna abasajja abakuŋŋaanye wano naffe, omusajja ono mumulabye, Abayudaaya bonna gwe bansaba e Yeruzaalemu na wano, nga baleekaana nti tasaanye kusigala nga mulamu.
25
Naye nze nasanga nga taliiko kye yakola kimugwanyiza kufa, naye kubanga yajulira Kabaka Omutiibwa, nange nakkiriza okumuweerezaayo.
26
Naye nno, siraba bikakafu ku ye bye mpandiikira mukama wange; kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go, Kabaka Agrippa, ng'amaze okubuuzibwa, nfune kye mpandiika.
27
Anti ndowooza nga tekiriimu makulu okuweereza omusibe n'ototegeeza bimuvunaanibwa.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28