bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 24
Acts 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Bwe waayitawo ennaku ttaano, kabona omukulu n'aserengeta n'abakadde abamu, ne munnamateeka omu Terutullo. Ne bayanjulira owessaza ensonga zaabwe ku Pawulo.
2
Bwe yayitibwa, Teritullo n'atandika okumuwawaabira, n'agamba nti: “Tufunye emirembe mingi olw'okubeera ggwe, era mu bantu bo bingi biruŋŋamye olw'obulabalaba bwo;
3
bulijjo na buli wantu, tubifuna n'okusiima kwonna, ayi Felikisi Omutiibwa.
4
Naye obutakulwisa, nkwegayiridde olw'ekisa kyo tuwulirizeeko katono.
5
Tusanze omusajja oyo nga kawumpuli mulamba, omuleesi w'obwegugungo mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, era lukulwe w'ekibiina ekijeemu ekya Banazireewo.
6
Yageza okwonoona Ekiggwa, ne tumukwata.
8
Naawe bw'onoobuuza, ojja kumanya byonna bye tumuvunaana.”
9
N'abayudaaya ne bamuwagira, nga bakakasa nti ddala ebintu bwe bityo bwe biri.
10
Owessaza bwe yamutemyako okwogera, n'agamba nti: “Kubanga mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula eggwanga lino, nzija kwewolereza nga ndi musanyufu.
11
Naawe nga bw'oyinza okumanya, ennaku zaakayita kkumi na bbiri zokka okuva lwe nayambuka e Yeruzaalemu okusoma.
12
Abo tebansanganga nga mpakana n'omuntu n'omu, obanga ngugunga ekibiina mu Kiggwa oba mu sinaagooga, oba mu kibuga.
13
N'ebyo bye banvunaana kati, tewali na kimu kye bayinza kukuwaako bukakafu.
14
Naye kino kye nkukakasaamu, nti Ekkubo, bo lye bayita ekibiina ekijeemu, mwe mpeerereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna nga bwe biri mu Tteeka oba nga bwe byawandiikibwa mu Balanzi,
15
n'essuubi lye nnina mu Katonda nabo lye balina nti abatuukirivu n'abatali batuukirivu balizuukira.
16
Mu ebyo nfaabiina okuba n'emmeeme entereevu mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
17
Nga wayiseewo emyaka, najja okuleetera eggwanga lyange obuyambi n'ebitone.
18
Ekyo kye nali nkola we bansangira mu Kiggwa nga neetukuza, tewaali kibiina yadde akajagalalo, wabula Abayudaaya abamu ab'omu Aziya,
19
bandibadde mu maaso go ne bannumiriza, obanga baliko kye banvunaana.
20
Yadde bano bennyini oba bandabamu ekibi lwe nayimirira mu lukiiko, boogere;
21
wabula mpozzi ekigambo kino kye naleekaana nga mbayimiriddemu wakati, nti: ‘Olw'ensonga y'okuzuukira kw'abafu kyenvudde nnyimirira wano mu maaso gammwe okuwozesebwa.’ ”
22
Naye Felikisi eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n'agira ng'abayimiriza ng'agamba nti: “Lisiya omukulu w'abaserikale bw'alijja eno, ndiwa ensala yange ku nsonga zammwe.”
23
N'alagira senturiyo okumukuuma, wabula ng'alekerwa eddembe, n'obutaziyiza n'omu ku babe kujja kumulabirira.
24
Ennaku ne ziyitawo ntono, Felikisi n'ajja ne Durusilla mukazi we eyali Omuyudaaya, n'atumya Pawulo, n'amuwuliriza ng'ayogera ku kukkiriza Kristu Yezu.
25
Naye bwe yatandika okwogera ku butuukirivu, ku kwetangira ne ku kulamulibwa okujja, Felikisi ne yeekanga, n'agamba nti: “Kaakano ogira ogenda; bwe ndifuna akadde, ndikutumira.”
26
Yali mu kaseera ke kamu asuubira nga Pawulo anaamuwa ku ssente, kyeyavanga amutumya olunye, n'anyumya naye.
27
Emyaka ebiri bwe gyayitawo, Felikisi n'asikirwa Porikiyo Festo; Felikisi olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28