bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 4
Acts 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Baba bakyayogera eri abantu, ne bajjirwa bakabona n'omukuumi w'Ekiggwa n'Abasaddukaayo,
2
nga banyiikaavu nnyo kubanga baali bayigiriza abantu nga balangirira mu linnya lya Yezu okuzuukira kw'abafu.
3
Ne babakwata, ne babassa mu kkomera okutuusa enkeera, kubanga obudde bwali kawungeezi.
4
Kyokka bangi ku baali bawulidde ku bigambo ne bakkiriza; olwo omuwendo gw'abasajja ne guwera enkumi ttaano.
5
Enkeera abakulembeze baabwe, abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yeruzaalemu,
6
wamu ne Anna kabona omukulu, ne Kayafa, ne Yowanna ne Alekisanduro, na bonna ab'omu kika kya bakabona abakulu.
7
Ne babasimba wakati, ne bababuuza nti: “Kale mmwe ebyo mubikola na maanyi ki, oba mu linnya ly'ani?”
8
Petero ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'abagamba nti: “Mmwe abakulembeze b'abantu n'abakadde,
9
obanga tuwozesebwa olwa leero olw'ekikolwa ekirungi kye tukoledde omuntu omulwadde, nti yawonye atya,
10
mumanye mwenna abantu ba Yisirayeli, nti lwa linnya lya Yezu Kristu ow'e Nazareti, gwe mwakomerera ku musaalaba, naye Katonda gwe yazuukiza mu bafu, olw'okubeera oyo ono kyavudde ayimirira wano mu maaso gammwe nga yenna mulamu.
11
Oyo lye jjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, naye erifuuse lukulwe mu nsonda.
12
Era mpaawo n'omu muva bulokofu, kubanga tewali linnya ddala wansi w'eggulu eryali lituumiddwa mu bantu mwe tulina kulokolerwa.”
13
Bwe baalaba obuvumu bwa Petero ne Yowanna, sso nga bamanyi bwe bataali bayigirize, wabula abantu aba bulijjo, ne beewuunya. Ne bamanya nti baayitanga ne Yezu.
14
Naye bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo awo, ne babulwa we bakiwakanyiza.
15
Ne babalagira okuva mu lukiiko, ne bateesa bokka na bokka,
16
ne bagamba nti: “Abantu bano tubakolere ki? Anti akabonero akenkukunala ke bakoze kalabiddwa bonna ab'omu Yeruzaalemu; tetuyinza kukagaana.
17
Kyokka kino obuteeyongera kucaakaala mu bantu, ka tubatiisetiise baleme kwongera kuyigiriza muntu n'omu mu linnya eryo.”
18
Ne babayita; ne babakomereza obutayongera kuyigiriza mu linnya lya Yezu.
19
Petero ne Yowanna ne baddamu nti: “Mmwe muba musalawo oba kisaanye mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda;
20
anti tetusobola butayogera bye twalaba ne bye twawulira.”
21
Bwe baamala okubatiisatiisa, ne babata, nga babuliddwa amagezi ag'okubabonereza olw'okubeera abantu; anti abantu bonna baali batenda Katonda olw'ekyali kikoleddwa.
22
Kubanga omuntu akabonero ak'okuwonya gwe kaali kakoleddwako yali wa myaka ana n'okusoba.
23
Bwe baabata, ne bagenda mu bannaabwe ne babanyumiza byonna bakabona abakulu bye baali babagambye.
24
Bannaabwe olwabiwulira, ne basitulira kumu eddoboozi lyabwe eri Katonda, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe wuuyo eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja na byonna ebizirimu,
25
ggwe wuuyo eyayogerera mu Mwoyo Mutuukirivu mu kamwa ka Dawudi omuweereza wo nti: “ ‘Lwaki ab'amawanga beejuumuula, n'abantu bakola enkwe omutali nsa?
26
Bakabaka b'ensi batala, n'abafuzi b'ensi bakuŋŋaana, okulwanyisa Omukama n'Omusiige we.’
27
“Ggwe wamma, bombi Erode ne Ponsiyo Pilato beegatta wamu n'ab'amawanga n'Abayudaaya mu kibuga kino okulwanyisa Omuweereza wo Omutuukirivu Yezu, gwe wasiiga,
28
ne batuukiriza ebyo omukono gwo n'enteesa yo bye byali bitegese okubaawo.
29
Kaakano nno, ayi Mukama, tunuulira okutiisatiisa kwabwe, abaweereza bo obawe okwogera ekigambo kyo n'obuvumu bwonna,
30
ng'ogolola omukono gwo okuwonya n'okukola obubonero n'ebyewuunyo mu linnya ly'Omuweereza wo Omutuukirivu Yezu Kristu.”
31
Bwe baamala okwegayirira, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kikankana; bonna ne bajjula Mwoyo Mutuukirivu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
32
Ekibiina ky'abo abakkiriza kyali kya mutima gumu n'emmeeme emu; mpaawo n'omu yatwalanga by'alina ng'ebibye ku bubwe, wabula buli kintu nga bakitwala ng'ekya bonna.
33
Okuzuukira kwa Mukama waffe Yezu Kristu Abatume ne bakukakasa n'amaanyi mangi, era nga bonna eneema nkumu ezibaliko.
34
Mu bo temwali awamma n'omu, kubanga bonna abaalina ebibanja oba amayumba baabitundanga, ne baleeta omuwendo oguvuddemu,
35
ne bagussa ku bigere by'Abatume, ne bigabirwa buli omu nga bwe yeetaaganga.
36
Ne Yozefu, Abatume gwe baakazaako erya Barunaba, erivvuunulwa nti Omwana w'Ekikubagizo, eyali Omuleevi, omuzaaliranwa w'omu Kupuro,
37
n'atunda ennimiro gye yalina, omuwendo ogwavaamu n'aguleeta n'agussa ku bigere by'Abatume.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28