bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Acts 21
Acts 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
1
Bwe twamala okubaawukanako, ne tuvugira ddala butereevu, ne tutuuka mu Kosi. Olwaddako, ne tutuuka e Rodo; eyo gye twava ne tulaga e Patara.
2
Bwe twasanga eryato eriraga mu Fenisiya, ne tusaabala, ne tugenda.
3
Bwe twamala okwerula Kupuro, ne tukireka ku gwa kkono, ne tulaga mu Siriya, ne tugoba e Tiiro; kubanga eyo eryato gye lyali lijja okutikkulirako ebintu.
4
Bwe twamala okuzuula abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Mu Mwoyo ne bagamba Pawulo aleke kwambuka Yeruzaalemu.
5
Ennaku zaffe bwe zaggwaako, ne tusitula twongere olugendo lwaffe; bonna n'abakazi n'abaana, ne batuwerekera okutuusa nga batumazizzaako ekibuga kyabwe. Ne tufukamira ku lubalama, ne twegayirira, ne tusiibulagana.
6
Ne tusaabala mu lyato, bo ne baddayo eka.
7
Bwe twamaliriza olugendo lw'ennyanja olwatuggya e Tiiro, ne tugoba e Putolemayi. Ne tulamusa ku booluganda, ne tumala nabo olunaku lumu.
8
Enkeera ne tusitula, ne tugenda e Kayisariya; ne tuyingira mu nnyumba ya Filippo omuyigiriza w'Evangili eyali omu ku Musanvu, ne tusigala naye.
9
Yalina bawala be bana embeerera abaalanganga.
10
Twali twakamalawo ennaku ntono, ne watuukawo omulanzi, erinnya lye Agabo, ng'avudde engulu mu Buyudaaya.
11
Bwe yatutuukako, n'akwata ekimyu kya Pawulo ne yeesiba ebigere n'emikono ng'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu bw'ati bw'agamba, nti: ‘Omusajja nnannyini musipi guno Abayudaaya bwe bajja okumukola bati mu Yeruzaalemu, bamuweeyo mu mikono gy'ab'amawanga.’ ”
12
Bwe twawulira ebyo, ffe n'abatuuze b'awo ne tumwegayirira aleme kwambuka Yeruzaalemu.
13
Pawulo n'addamu nti: “Mubadde mutya okukaaba n'okuntengula omutima? Manyanga nze neetegese si kusibibwa kyokka, naye n'okufiira mu Yeruzaalemu olw'erinnya lya Yezu Kristu.”
14
Bwe twalemwa okumukkirizisa, ne tubivaako, ne tugamba nti: “Omukama ky'ayagala kikolebwe.”
15
Oluvannyuma lw'ennaku ezo, ne twetegeka, ne twambuka e Yeruzaalemu.
16
Abayigirizwa abamu ab'e Kayisariya baagenda naffe, ne batutuusiza ddala ku nnyumba ya Munasoni ow'e Kupuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, tusulenga ew'oyo.
17
Bwe twatuuka e Yeruzaalemu, abooluganda ne batwaniriza n'essanyu.
18
Enkeera Pawulo n'agenda naffe ewa Yakobo; n'abakadde bonna bajja.
19
Bwe yamala okubalamusa, n'abanyumiza byonna kinnakimu Katonda bye yakola mu b'amawanga olw'emirimo gye.
20
Bo bwe baawulira, ne bagulumiza Katonda, ne bamugamba nti: “Owooluganda, naawe olaba nga waliwo nkumi na nkumi mu Buyudaaya abakkiriza, naye bonna nga bakyatakabanira Etteeka.
21
Sso baababuulirako ku ggwe nti Abayudaaya abali mu mawanga obayigiriza okwawukana ku Musa, ng'obagamba obutatayirira baana baabwe n'obutagoberera bulombolombo.
22
Kale tukole tutya? Kyo kituufu bajja kuwulira nti ozze.
23
Awo nno kola kino kye tukugamba: tulina wano abantu bana abaakuba obweyamo.
24
Baddire ogende weetukuze nabo, obasasulire n'ebisale, basobole okumwebwa emitwe. Bonna lwe banaamanya ng'ebyo bye bawulira ku ggwe si bituufu, wabula nga naawe mu mpisa ogoberera Etteeka.
25
Naye bo ab'amawanga abakkiriza, twabawandiikira ku kye twateesa nti beewale ebiwongeddwa balubaale, omusaayi, ensolo entuge n'obwenzi.”
26
Pawulo n'atwala abasajja, ku lunaku olwaddako ne yeetukuza nabo, n'ayingira mu Kiggwa okutegeeza ennaku ze banaamala mu kwetukuza, n'ekitone lwe kinaaweerezebwa ku lwabwe kinnoomu.
27
Naye ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya ab'omu Aziya bwe baamulaba mu Kiggwa, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bamukwata
28
nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe. Ono ye musajja ayigiriza obubi abantu buli wantu ku ggwanga, Etteeka n'ekifo kino. Ate yayingizizza n'Abagereeki mu Kiggwa, era ajaajaamizza ekifo kino ekitukuvu.”
29
Mu kusooka baali balabye Turofimo ow'omu Efezi ng'ali naye mu kibuga, ne balowooza nti Pawulo y'amuyingizizza mu Kiggwa.
30
Ekibuga kyonna ne kigugumuka, abantu bonna ne badduka wamu, ne bakwata Pawulo, ne bamuwalaawala okumufulumya mu Kiggwa; amangu ago enzigi ne ziggalibwa.
31
Baali bakyayiiya ag'okumutta, ne babuulira omukulu w'abaserikale nti Yeruzaalemu kyali mu katabanguko.
32
Mangu ddala n'alondamu abaserikale ne basenturiyo, n'akkirira bunnambiro gye bali. Bwe baalaba omukulu w'abaserikale n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo.
33
Omukulu w'abaserikale n'asembera, n'amukwata, n'alagira asibwe n'enjegere bbiri. N'abuuza ono yali ani era yali akoze ki?
34
Naye abamu mu kibiina nga bayoogaana kino, abalala kiri. Yalaba tasobola kufuna kikakafu olw'oluyoogaano, n'alagira atwalibwe mu kigo.
35
Bwe yatuuka ku madaala, abaserikale ne bamwebagajja olw'ekibiina okuleeta amaanyi,
36
anti ebbiina ly'abantu lyali ligoberera nga lireekaana nti: “Muggyeewo.”
37
Pawulo bwe yali ng'anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omuduumizi nti: “Nzikirizibwa okubaako kye nkugamba?” N'agamba nti: “Omanyi Olugereeki?
38
Si ggwe Mumisiri gye buvuddeko eyajagalaza abasajja Abasikari enkumi ennya n'abatwala mu ddungu?”
39
Pawulo n'amugamba nti: “Nze ndi Muyudaaya ow'omu Taruso eky'omu Silisiya, munnakibuga ow'omu kibuga ekitali kitene. Nkwegayiridde, mpa mbeeko kye ŋŋamba abantu.”
40
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, ekibiina n'akiwenyako n'omukono. Bwe wajjawo akasiriikiriro ak'amaanyi n'ayogera gye bali mu Lwebureeyi, n'agamba nti:
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28