bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 1
Ezekiel 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu (30) mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano, bwe nnali ndi mu basibe ku mabbali g'omugga Kebali, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda.
2
Ku lunaku olwo olw'okutaano olw'omwezi, gwe gwali omwaka ogw'okutaano ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini,
3
ekigambo kya Mukama ne kijja eri Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; amaanyi ga Mukama ne gajja ku ye eyo.
4
Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ekunta n'amaanyi ng'eva mu bukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogw'ezingazinga ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule.
5
Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. By'ali birabika ng'abantu.
6
Era buli kimu kyalina obwenyi buna, era buli kimu ku byo kyalina ebiwaawaatiro bina.
7
Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n'ebigere byabyo byali ng'ebinuulo by'ennyana, era nga bitangalijja ng'ekikomo ekizigule.
8
Wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya, byalina emikono ng'egy'abantu: ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe bityo.
9
Ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kiwaawaatiro ne kinnaakyo; tebyakyuka bwe byatambula; byagenda buli kimu nga byesimbye.
10
Byalina ekifaanana obwenyi: Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono n'obwenyi ng'obw'empungu emabega.
11
Byali bifaanana bwe bityo mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwabyo.
12
Buli kimu kyagendanga butereevu omwoyo gye gwakirazanga awatali kukyuka nga kigenda.
13
Wakati w'ebiramu ebyo, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota.
14
Ebiramu ebyo byaddukanga embiro ate ne bidda, nga bw'olaba okumyansa kw'eggulu.
15
Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, buli emu ng'eri ku mabbali ga buli kiramu.
16
Nnamuziga zonna zaali zifaanana, buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo.
17
Zaali zisobola okutambulira ku njuyi zonna ennya awatali kumala kukyuka.
18
Empanka za nnamuziga ezo ennya, zaali mpavu, nga zitiisa, era nga zijjudde amaaso enjuyi zonna.
19
Era ebiramu bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitukanga okuva ku ttaka, ne nnamuziga nazo nga zisituka.
20
Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo.
21
Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
22
Era waggulu w'emitwe gy'ebiramu waaliwo ekifaananyi kye bbanga, nga kimasamasa ng'endabirwamu.
23
Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali byegolodde, Buli kimu nga kigolodde ebiwaawaatiro bibiri nga bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka.
24
Era bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo nga kulinga okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, era nga okw'oluyoogaano lw'eggye. Bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25
Awo bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo, ne wawulikika eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo.
26
Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo waliwo ekyafaanana ng'entebe y'obwakabaka, ng'etemagana ng'ejjinja lya safiro, ate ku yo kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu.
27
Ne ndaba ng'amasamasa ng'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'ayaka ng'omuliro okwetooloola, okuva ku kiwato kye okwambuka. Ate okuva ku kiwato kye n'okukka, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde.
28
Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama ku ttaka, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48