bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 20
Ezekiel 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu, mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange.
2
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
3
“Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Muzze okunneebuuzaako? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temujja kunneebuuzaako.’
4
Onoobasalira, omwana w'omuntu, onoobasalira omusango? Bategeeze eby'emizizo bajjajjaabwe bye bakola,
5
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.’
6
Ku lunaku olwo nnabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubatwala mu nsi gye nnali mbategekedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa.
7
Ne mbagamba nti, Musuule eby'emizizo byonna ebibasikiriza, era temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; nze Mukama Katonda wammwe.
8
Naye ne banjeemera ne bagaana okumpuliriza; tebaasuula bya mizizo ebyali bibasikiriza, tebaaleka bifaananyi bya Bamisiri. Kale ne nteekateeka okubamalirako ekiruyi n'obusungu bwange eyo wakati mu nsi y'e Misiri.
9
Naye sakikola olw'obutavumisa linnya lyange mu b'amawanga mwe baali, mwe nnabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri.
10
Awo ne mbaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbatwala mu ddungu.
11
Ne mbawa ebiragiro byange, ne mbayigiriza amateeka gange, omuntu bw'abikola aliba mulamu.
12
Era nate ne mbawa Ssabbiiti zange, okuba akabonero wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza.
13
Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne batakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, ne Ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne nteekateeka okubamalirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.
14
Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumibwa mu maaso g'amawanga agaalaba nga mbaggyayo.
15
Era ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa;
16
kubanga baagaana ebiragiro byange, ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga Ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga bifaananyi byabwe.
17
Naye era nnabasaasira ne sibazikiririza mu ddungu okubamalirawo ddala.
18
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti, Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe, era temukwatanga biragiro byabwe, era temweyonoonesanga n'ebifaananyi byabwe:
19
nze Mukama Katonda wammwe; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga ebiragiro byange,
20
era mutukuzenga essabbiiti zange; era zinaabanga kabonero wakati wange nammwe, mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
21
Naye abaana ne banjeemera; tebaatambulira mu mateeka gange, tebaakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, baayonoona ne Ssabbiiti zange; kale ne ŋŋamba okubamalirako ekiruyi n'obusungu bwange nga bali eyo mu ddungu.
22
Naye era saakikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu maaso g'amawanga mwe nnali mbaggye.
23
Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbatataaganyiza mu nsi nnyingi;
24
kubanga baali tebagondedde biragiro byange, tebakutte mateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe.
25
Kyennava mbawaayo ne bagoberera amateeka agatali malungi, n'ebiragiro ebitayinza kubawa bulamu;
26
ne mbaleka beyonoonese n'ebirabo byabwe bo, bwe bawaangayo mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbabonereze balyoke bamanye nga nze Mukama.”
27
“Kale, omwana w'omuntu, yogera n'ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.
28
Kubanga bwe nnabaleeta mu nsi gye nnabalayirira okubawa, ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, gye baanyookerezanga eby'akaloosa byabwe, n'ebiweebwayo eby'okunywa bye baayiwangayo.
29
Ne mbabuuza nti, Kifo ki ekyo ekigulumivu gye mugenda bulijjo? Okuva kw'olwo ne kiyitibwanga Bama ne leero.
30
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera eby'emizizo gyabwe?
31
era bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne muwaayo batabani bammwe mu muliro, ne mweyonoonesa n'ebifaananyi byammwe, kale nnyinza ntya okubakkiriza okunneebuuzaako, ayi ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.”
32
“N'ekyo kye mulowooza nti munaabanga amawanga amalala ag'omu nsi ne musinza emiti n'amayinja tekijja kubaawo n'akatono.”
33
“Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima ndiba kabaka wammwe mbafugenga n'obuyinza n'amaanyi amangi mbamalireko ekiruyi kyange.
34
Era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'omukono ogw'amaanyi, nga nzijjudde ekiruyi.
35
Ndibaleeta mu ddungu ery'omu mawanga, era ndibasalira omusango nga tutunuuliganye maaso ku maaso.
36
Nga bwe nnawoza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
37
Era ndibayisa wansi w'omuggo, era ndibayingiza mu busibe bw'endagaano;
38
era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama.
39
Nammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe.
40
Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu.
41
Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.
42
Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnalayirira okugiwa bajjajjammwe.
43
Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
44
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ayi mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.”
45
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
46
“Omwana w'omuntu, tunula obukiikaddyo obabulire ebiribatuukako, era olange ne birituuka ku kibira ky'obukiikaddyo.
47
ogambe ekibira ky'obukiikaddyo nti, Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogumera oguli mu ggwe, na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro tezirizikizibwa, guliranda okuva obukiikaddyo okutuuka obukiikakkono, gwokye buli omu.
48
Kale abantu bonna baliraba nga nze Mukama, nze ngukumye: tewaliba kiyinza kuguzikiza”
49
Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! banjogerako nti, “ Oyo si mugezi wa ngero? ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48