bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 22
Ezekiel 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
1
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
3
Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo, ekyonoonese olw'okukola ebifaananyi, ekiseera kyakyo kituuse.
4
Ozzizza omusango ogw'omusaayi gw'oyiye, era ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okusekererwa eri ensi zonna.
5
Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala.
6
Laba, abakungu ba Isiraeri, buli omu nga akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi.
7
Mu ggwe mwe baanyoomeranga bakitaabwe ne bannyaabwe; mu ggwe mwe baajogeranga omugenyi, era mu ggwe mwe baalyazaamaanyizanga bamulekwa ne bannamwandu.
8
Munyooma ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoonanga Ssabbiiti zange.
9
Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba.
10
Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa bakitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira abakazi olw'empaka abali mu kweyawula kwabwe olw'obutaba balongoofu.
11
Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe.
12
Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba agasukkiridde era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba mu ngeri ey'obukumpanya, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
13
Kale nno ndikuba mu ngalo olw'amagoba go agatali ga mazima ge wafuna n'omusaayi ogwayibwa wakati mu ggwe.
14
Olowooza obuvumu bwo bulibeerawo oba emikono gyo giriba n'amaanyi, mu nnaku mwe ndikubonerereza? Nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.
15
Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu obutali bulongoofu bwo.
16
Awo oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g'amawanga, n'omanya nga nze Mukama.”
17
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
18
“Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; bo masengere ga ffeeza.
19
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋaanya mu Yerusaalemi wakati.
20
Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndikuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
21
Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo.
22
Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati mu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.”
23
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
24
“Omwana w'omuntu, kigambe nti Ggwe oli nsi eteri noongoose, era eteritonnyebwako nkuba ku lunaku olw'ekiruyi.
25
Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: balidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu.
26
Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange, era boonoonye ebintu byange ebitukuvu: tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu, tebayigiriza bantu kwawulamu birongoofu ku bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Ssabbiiti zange, ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa.
27
Abakungu baamu bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo, batta abantu ne babazikiriza, balyoke bafune amagoba agatali ga mazima.
28
Era bannabbi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikka ekisenge nga bakisiigako langi. Babalimba n'okwolesebwa okukyamu n'okuwa obunnabbi obw'obulimba, nga boogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde.
29
Abantu ab'omu nsi bajooga bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe, banyigiriza omwavu n'eyeetaaga, era bajooga munnaggwanga awatali kumusaasira.
30
Nnanoonya omusajja mu bo ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, naye ne ssiraba n'omu.
31
Kyenvudde mbayiwako ekiruyi kyange, era nja kubasaanyawo n'omuliro ogw'obusungu bwange, nga mbalanga bye bakoze. bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48