bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 27
Ezekiel 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 28 →
1
Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti,
2
“Naawe, omwana w'omuntu, tandika okukungubagira Ttuulo,
3
ogambe Ttuulo ekiri ku mwalo gw'ennyanja, omusuubuzi w'abantu abokumbalama ennyingi nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Ggwe, Ttuulo oyogedde nti, ‘Nze nnatuukirira mu bulungi.’”
4
“Ensalo zo ziri wakati mu nnyanja, abazimbi bo batuukirizza obulungi bwo.
5
Baakola embaawo zo zonna mu miti emiberozi gye baggya e Seniri, ne baddira emivule okuva e Lebanooni ne bakolamu omulongooti.
6
Mu myera egya Basani mwe bakola enkasi zo, emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga by'e Kittimu.
7
Ettanga lyo lyali lya bafuta eriko omulimu ogw'eddalizi ogwava e Misiri, libeere gy'oli ebendera: engoye eza kaniki n'ez'effulungu ezaava ku bizinga by'e Erisa ze zaali ettandaluwa yo.
8
Abatuuze b'e Sidoni ne Aluvadi be baali abavuzi bo. Abakugu abaali mu ggwe, be baali abalunnyanja bo.
9
Abakadde ba Gebali n'abakugu baayo baali mu ggwe, nga be baddabiriza ekyombo kyo. Ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okusuubula eby'amaguzi byo.”
10
“Abaperusi, Abaludi n'Abaputi baali mu ggye lyo, nga abasajja bo abalwanyi: baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuffiira, ne bakuwa ekitiibwa.
11
Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo be baakuumanga bbugwe wo enjuyi zonna; abasajja b'e Gammanda baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, ne baatuukiriza obulungi bwo.”
12
“Talusiisi yasuubulanga naawe olw'obugagga obw'engeri zonna bwe walina, baawanyisanga ffeeza, ebyuma, amabaati n'amasasi bafune eby'amaguzi byo.
13
Ab'e Yavani, Tubali, ne Meseki, bakusuubulangako, nga bawanyisa abaddu n'ebintu eby'ebikomo okukufunako eby'obuguzi bwo.
14
Ab'e Togaluma baawanyisanga embalaasi ezaabulijjo, n'embalaasi ez'entalo n'ennyumbu olw'ebintu byo.
15
Abasajja ab'e Dedani baasuubulanga naawe, era n'abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baali katale ko, nga bawanyisa amasanga n'emitoogo.
16
Abasuuli baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye walina, baawanyisangamu amayinja aga nnawandagala n'engoye ez'effulungu, n'emidalizo, ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu.
17
Yuda ne Isiraeri baasuubulagananga naawe, nga bawanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi, eby'akaloosa, omubisi gw'enjuki, amafuta n'envumbo bafune eby'amaguzi byo.
18
Ddamasiko yasuubulanga naawe olw'ebintu ebingi byewalina, n'olw'obugagga bwo obw'engeri zonna, n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru.
19
Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa, ekyuma ekimasamasa, kasiya ne kalamo baabiwanyisangamu eby'amaguzi byo.
20
Dedani yakusuubulangako engoye ez'okwebagala embalasi.
21
Buwalabu n'abalangira bonna ab'e Kedali baakusuubulangako nnyo abaana b'endiga n'endiga ennume n'embuzi.
22
Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo, nga baakusuubulako ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu.
23
Kalani, Kanne ne Edeni n'abasuubuzi b'e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe.
24
Abo baasuubulanga engoye ennungi, eza bbululu, eza ddalizi, ebiwempe ebirungi ebiriko emigwa egyalukibwa obulungi.
25
Ebyombo by'e Talusiisi bye byatambuzanga eby'amaguzi byo.” “Wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene wakati mu nnyanja.
26
Abavuzi bo baakutuusiza awali amazzi amangi. Omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenyedde wakati mu nnyanja.
27
Obugagga bwo, by'okozesa n'eby'amaguzi byo, abalunnyanja bo, n'abagoba bo, abakozi bo n'abasuubuzi bo, n'abasajja bo bonna abalwanyi abaali mu ggwe, wamu n'ekibiina kyo kyonna ekiri mu ggwe wakati, baligwa wakati mu nnyanja ku lunaku olw'okugwa kwo.
28
Eddoboozi ly'okukaaba kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana.
29
N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu,
30
era baliyimusa amaloboozi gaabwe, nga bakukaabira, era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne beevulunga mu vvu.
31
Balikumwera emitwe gyabwe, nga bambadde ebibukutu, era balikukaabira nga emmeeme zaabwe zijjudde obuyinike, nga bakungubaga.
32
Awo balikuba ebiwoobe nga bakungubaga, ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja?
33
Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n'eby'obugagga byo ebingi, n'eby'amaguzi byo.
34
Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe.
35
Abo bonna abali ku bizinga baasamaaliridde, ne bakabaka baabwe batidde nnyo nnyini, amaaso gaabwe geeraliikiridde.
36
Abasuubuzi ab'omu mawanga bakusooza; ofuuse entiisa, so toobengawo nate ennaku zonna.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48